Jeremiah 18 (BOLCB)
1 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri MUKAMA nti, 2 “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3 Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4 Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima. 5 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira nga kigamba nti, 6 “Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera MUKAMA. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 7 Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera. 11 “Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino MUKAMA ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ” 13 Noolwekyo bw’ati MUKAMA ng’agamba nti,“Mwebuuzeeko mu mawanga.Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?Muwala wange Isirayiriakoze ekintu eky’ekivve. 14 Omuzira oguli ku Lebanoonigwali guwedde ku njazi zaakwo?Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewalagaali galeseeyoko okukulukuta? 15 Naye ate abantu bange banneerabidde,banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,abaleetera okwesittala mu makubo gaabweera ne mu makubo ag’eddaera ne balaga mu bukubokubo. 16 Ensi yaabwe ya kusigala matongo,ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,abo bonna abayise balyewuunyaera ne banyeenya emitwe gyabwe. 17 Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabweng’empewo eva ebuvanjuba;ndibalaga mabegaso si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.” 18 Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.” 19 Ompulirize, Ayi MUKAMA,owulirize abampakanya kye bagamba. 20 Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?Bansimidde obunnya.Ojjukire nga nayimirira mu maaso gone nkaaba ku lwabwe,nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira. 21 Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,obaweeyo battibwe n’ekitala.Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;abasajja baabwe battibwe;abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo. 22 Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,kubanga bansimidde ekinnya bankwateera bateze ebigere byange emitego. 23 Naye Ayi MUKAMA, gw’omanyi byonna,bye bateesa banzite.Tobasonyiwa byonoono byabwewadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.Obawangulire ddala,era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
In Other Versions
Jeremiah 18 in the ANGEFD
Jeremiah 18 in the ANTPNG2D
Jeremiah 18 in the AS21
Jeremiah 18 in the BAGH
Jeremiah 18 in the BBPNG
Jeremiah 18 in the BBT1E
Jeremiah 18 in the BDS
Jeremiah 18 in the BEV
Jeremiah 18 in the BHAD
Jeremiah 18 in the BIB
Jeremiah 18 in the BLPT
Jeremiah 18 in the BNT
Jeremiah 18 in the BNTABOOT
Jeremiah 18 in the BNTLV
Jeremiah 18 in the BOATCB
Jeremiah 18 in the BOATCB2
Jeremiah 18 in the BOBCV
Jeremiah 18 in the BOCNT
Jeremiah 18 in the BOECS
Jeremiah 18 in the BOGWICC
Jeremiah 18 in the BOHCB
Jeremiah 18 in the BOHCV
Jeremiah 18 in the BOHLNT
Jeremiah 18 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 18 in the BOICB
Jeremiah 18 in the BOILNTAP
Jeremiah 18 in the BOITCV
Jeremiah 18 in the BOKCV
Jeremiah 18 in the BOKCV2
Jeremiah 18 in the BOKHWOG
Jeremiah 18 in the BOKSSV
Jeremiah 18 in the BOLCB2
Jeremiah 18 in the BOMCV
Jeremiah 18 in the BONAV
Jeremiah 18 in the BONCB
Jeremiah 18 in the BONLT
Jeremiah 18 in the BONUT2
Jeremiah 18 in the BOPLNT
Jeremiah 18 in the BOSCB
Jeremiah 18 in the BOSNC
Jeremiah 18 in the BOTLNT
Jeremiah 18 in the BOVCB
Jeremiah 18 in the BOYCB
Jeremiah 18 in the BPBB
Jeremiah 18 in the BPH
Jeremiah 18 in the BSB
Jeremiah 18 in the CCB
Jeremiah 18 in the CUV
Jeremiah 18 in the CUVS
Jeremiah 18 in the DBT
Jeremiah 18 in the DGDNT
Jeremiah 18 in the DHNT
Jeremiah 18 in the DNT
Jeremiah 18 in the ELBE
Jeremiah 18 in the EMTV
Jeremiah 18 in the ESV
Jeremiah 18 in the FBV
Jeremiah 18 in the FEB
Jeremiah 18 in the GGMNT
Jeremiah 18 in the GNT
Jeremiah 18 in the HARY
Jeremiah 18 in the HNT
Jeremiah 18 in the IRVA
Jeremiah 18 in the IRVB
Jeremiah 18 in the IRVG
Jeremiah 18 in the IRVH
Jeremiah 18 in the IRVK
Jeremiah 18 in the IRVM
Jeremiah 18 in the IRVM2
Jeremiah 18 in the IRVO
Jeremiah 18 in the IRVP
Jeremiah 18 in the IRVT
Jeremiah 18 in the IRVT2
Jeremiah 18 in the IRVU
Jeremiah 18 in the ISVN
Jeremiah 18 in the JSNT
Jeremiah 18 in the KAPI
Jeremiah 18 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 18 in the KBV
Jeremiah 18 in the KJV
Jeremiah 18 in the KNFD
Jeremiah 18 in the LBA
Jeremiah 18 in the LBLA
Jeremiah 18 in the LNT
Jeremiah 18 in the LSV
Jeremiah 18 in the MAAL
Jeremiah 18 in the MBV
Jeremiah 18 in the MBV2
Jeremiah 18 in the MHNT
Jeremiah 18 in the MKNFD
Jeremiah 18 in the MNG
Jeremiah 18 in the MNT
Jeremiah 18 in the MNT2
Jeremiah 18 in the MRS1T
Jeremiah 18 in the NAA
Jeremiah 18 in the NASB
Jeremiah 18 in the NBLA
Jeremiah 18 in the NBS
Jeremiah 18 in the NBVTP
Jeremiah 18 in the NET2
Jeremiah 18 in the NIV11
Jeremiah 18 in the NNT
Jeremiah 18 in the NNT2
Jeremiah 18 in the NNT3
Jeremiah 18 in the PDDPT
Jeremiah 18 in the PFNT
Jeremiah 18 in the RMNT
Jeremiah 18 in the SBIAS
Jeremiah 18 in the SBIBS
Jeremiah 18 in the SBIBS2
Jeremiah 18 in the SBICS
Jeremiah 18 in the SBIDS
Jeremiah 18 in the SBIGS
Jeremiah 18 in the SBIHS
Jeremiah 18 in the SBIIS
Jeremiah 18 in the SBIIS2
Jeremiah 18 in the SBIIS3
Jeremiah 18 in the SBIKS
Jeremiah 18 in the SBIKS2
Jeremiah 18 in the SBIMS
Jeremiah 18 in the SBIOS
Jeremiah 18 in the SBIPS
Jeremiah 18 in the SBISS
Jeremiah 18 in the SBITS
Jeremiah 18 in the SBITS2
Jeremiah 18 in the SBITS3
Jeremiah 18 in the SBITS4
Jeremiah 18 in the SBIUS
Jeremiah 18 in the SBIVS
Jeremiah 18 in the SBT
Jeremiah 18 in the SBT1E
Jeremiah 18 in the SCHL
Jeremiah 18 in the SNT
Jeremiah 18 in the SUSU
Jeremiah 18 in the SUSU2
Jeremiah 18 in the SYNO
Jeremiah 18 in the TBIAOTANT
Jeremiah 18 in the TBT1E
Jeremiah 18 in the TBT1E2
Jeremiah 18 in the TFTIP
Jeremiah 18 in the TFTU
Jeremiah 18 in the TGNTATF3T
Jeremiah 18 in the THAI
Jeremiah 18 in the TNFD
Jeremiah 18 in the TNT
Jeremiah 18 in the TNTIK
Jeremiah 18 in the TNTIL
Jeremiah 18 in the TNTIN
Jeremiah 18 in the TNTIP
Jeremiah 18 in the TNTIZ
Jeremiah 18 in the TOMA
Jeremiah 18 in the TTENT
Jeremiah 18 in the UBG
Jeremiah 18 in the UGV
Jeremiah 18 in the UGV2
Jeremiah 18 in the UGV3
Jeremiah 18 in the VBL
Jeremiah 18 in the VDCC
Jeremiah 18 in the YALU
Jeremiah 18 in the YAPE
Jeremiah 18 in the YBVTP
Jeremiah 18 in the ZBP