Jeremiah 27 (BOLCB)
1 Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri MUKAMA: 2 Bw’ati MUKAMA bwe yaŋŋamba nti: “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo, 3 oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda. 4 Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe. 5 N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala. 6 Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we. 7 Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula. 8 “ ‘ “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera MUKAMA, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange. 9 Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’ 10 Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira. 11 Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera MUKAMA.” ’ ” 12 Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu. 13 Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli MUKAMA by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni? 14 Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba. 15 ‘Sibatumanga,’ bw’ayogera MUKAMA. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ” 16 Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino MUKAMA ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya MUKAMA bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba. 17 Temubawuliriza. Muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo? 18 Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya MUKAMA, leka bakaabirire MUKAMA Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya MUKAMA ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni. 19 Kubanga bw’ati MUKAMA Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino, 20 kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi. 21 Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya MUKAMA ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti, 22 ‘Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,’ ” bw’ayogera MUKAMA.
In Other Versions
Jeremiah 27 in the ANGEFD
Jeremiah 27 in the ANTPNG2D
Jeremiah 27 in the AS21
Jeremiah 27 in the BAGH
Jeremiah 27 in the BBPNG
Jeremiah 27 in the BBT1E
Jeremiah 27 in the BDS
Jeremiah 27 in the BEV
Jeremiah 27 in the BHAD
Jeremiah 27 in the BIB
Jeremiah 27 in the BLPT
Jeremiah 27 in the BNT
Jeremiah 27 in the BNTABOOT
Jeremiah 27 in the BNTLV
Jeremiah 27 in the BOATCB
Jeremiah 27 in the BOATCB2
Jeremiah 27 in the BOBCV
Jeremiah 27 in the BOCNT
Jeremiah 27 in the BOECS
Jeremiah 27 in the BOGWICC
Jeremiah 27 in the BOHCB
Jeremiah 27 in the BOHCV
Jeremiah 27 in the BOHLNT
Jeremiah 27 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 27 in the BOICB
Jeremiah 27 in the BOILNTAP
Jeremiah 27 in the BOITCV
Jeremiah 27 in the BOKCV
Jeremiah 27 in the BOKCV2
Jeremiah 27 in the BOKHWOG
Jeremiah 27 in the BOKSSV
Jeremiah 27 in the BOLCB2
Jeremiah 27 in the BOMCV
Jeremiah 27 in the BONAV
Jeremiah 27 in the BONCB
Jeremiah 27 in the BONLT
Jeremiah 27 in the BONUT2
Jeremiah 27 in the BOPLNT
Jeremiah 27 in the BOSCB
Jeremiah 27 in the BOSNC
Jeremiah 27 in the BOTLNT
Jeremiah 27 in the BOVCB
Jeremiah 27 in the BOYCB
Jeremiah 27 in the BPBB
Jeremiah 27 in the BPH
Jeremiah 27 in the BSB
Jeremiah 27 in the CCB
Jeremiah 27 in the CUV
Jeremiah 27 in the CUVS
Jeremiah 27 in the DBT
Jeremiah 27 in the DGDNT
Jeremiah 27 in the DHNT
Jeremiah 27 in the DNT
Jeremiah 27 in the ELBE
Jeremiah 27 in the EMTV
Jeremiah 27 in the ESV
Jeremiah 27 in the FBV
Jeremiah 27 in the FEB
Jeremiah 27 in the GGMNT
Jeremiah 27 in the GNT
Jeremiah 27 in the HARY
Jeremiah 27 in the HNT
Jeremiah 27 in the IRVA
Jeremiah 27 in the IRVB
Jeremiah 27 in the IRVG
Jeremiah 27 in the IRVH
Jeremiah 27 in the IRVK
Jeremiah 27 in the IRVM
Jeremiah 27 in the IRVM2
Jeremiah 27 in the IRVO
Jeremiah 27 in the IRVP
Jeremiah 27 in the IRVT
Jeremiah 27 in the IRVT2
Jeremiah 27 in the IRVU
Jeremiah 27 in the ISVN
Jeremiah 27 in the JSNT
Jeremiah 27 in the KAPI
Jeremiah 27 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 27 in the KBV
Jeremiah 27 in the KJV
Jeremiah 27 in the KNFD
Jeremiah 27 in the LBA
Jeremiah 27 in the LBLA
Jeremiah 27 in the LNT
Jeremiah 27 in the LSV
Jeremiah 27 in the MAAL
Jeremiah 27 in the MBV
Jeremiah 27 in the MBV2
Jeremiah 27 in the MHNT
Jeremiah 27 in the MKNFD
Jeremiah 27 in the MNG
Jeremiah 27 in the MNT
Jeremiah 27 in the MNT2
Jeremiah 27 in the MRS1T
Jeremiah 27 in the NAA
Jeremiah 27 in the NASB
Jeremiah 27 in the NBLA
Jeremiah 27 in the NBS
Jeremiah 27 in the NBVTP
Jeremiah 27 in the NET2
Jeremiah 27 in the NIV11
Jeremiah 27 in the NNT
Jeremiah 27 in the NNT2
Jeremiah 27 in the NNT3
Jeremiah 27 in the PDDPT
Jeremiah 27 in the PFNT
Jeremiah 27 in the RMNT
Jeremiah 27 in the SBIAS
Jeremiah 27 in the SBIBS
Jeremiah 27 in the SBIBS2
Jeremiah 27 in the SBICS
Jeremiah 27 in the SBIDS
Jeremiah 27 in the SBIGS
Jeremiah 27 in the SBIHS
Jeremiah 27 in the SBIIS
Jeremiah 27 in the SBIIS2
Jeremiah 27 in the SBIIS3
Jeremiah 27 in the SBIKS
Jeremiah 27 in the SBIKS2
Jeremiah 27 in the SBIMS
Jeremiah 27 in the SBIOS
Jeremiah 27 in the SBIPS
Jeremiah 27 in the SBISS
Jeremiah 27 in the SBITS
Jeremiah 27 in the SBITS2
Jeremiah 27 in the SBITS3
Jeremiah 27 in the SBITS4
Jeremiah 27 in the SBIUS
Jeremiah 27 in the SBIVS
Jeremiah 27 in the SBT
Jeremiah 27 in the SBT1E
Jeremiah 27 in the SCHL
Jeremiah 27 in the SNT
Jeremiah 27 in the SUSU
Jeremiah 27 in the SUSU2
Jeremiah 27 in the SYNO
Jeremiah 27 in the TBIAOTANT
Jeremiah 27 in the TBT1E
Jeremiah 27 in the TBT1E2
Jeremiah 27 in the TFTIP
Jeremiah 27 in the TFTU
Jeremiah 27 in the TGNTATF3T
Jeremiah 27 in the THAI
Jeremiah 27 in the TNFD
Jeremiah 27 in the TNT
Jeremiah 27 in the TNTIK
Jeremiah 27 in the TNTIL
Jeremiah 27 in the TNTIN
Jeremiah 27 in the TNTIP
Jeremiah 27 in the TNTIZ
Jeremiah 27 in the TOMA
Jeremiah 27 in the TTENT
Jeremiah 27 in the UBG
Jeremiah 27 in the UGV
Jeremiah 27 in the UGV2
Jeremiah 27 in the UGV3
Jeremiah 27 in the VBL
Jeremiah 27 in the VDCC
Jeremiah 27 in the YALU
Jeremiah 27 in the YAPE
Jeremiah 27 in the YBVTP
Jeremiah 27 in the ZBP