Joshua 1 (BOLCB)
1 Awo Musa omuweereza wa MUKAMA bwe yamala okufa, MUKAMA n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti, 2 “Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri. 3 Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo. 4 Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba. 5 Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira. 6 “Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe. 7 Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga. 8 Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. 9 Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga MUKAMA Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.” 10 Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti, 11 “Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi MUKAMA Katonda wammwe gy’abawa.’ ” 12 Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti, 13 “Mujjukire omuweereza wa MUKAMA Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘MUKAMA Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ 14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, 15 okutuusa baganda bammwe abo nabo MUKAMA lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa MUKAMA kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.” 16 Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika. 17 Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; MUKAMA Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa. 18 Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
In Other Versions
Joshua 1 in the ANGEFD
Joshua 1 in the ANTPNG2D
Joshua 1 in the AS21
Joshua 1 in the BAGH
Joshua 1 in the BBPNG
Joshua 1 in the BBT1E
Joshua 1 in the BDS
Joshua 1 in the BEV
Joshua 1 in the BHAD
Joshua 1 in the BIB
Joshua 1 in the BLPT
Joshua 1 in the BNT
Joshua 1 in the BNTABOOT
Joshua 1 in the BNTLV
Joshua 1 in the BOATCB
Joshua 1 in the BOATCB2
Joshua 1 in the BOBCV
Joshua 1 in the BOCNT
Joshua 1 in the BOECS
Joshua 1 in the BOGWICC
Joshua 1 in the BOHCB
Joshua 1 in the BOHCV
Joshua 1 in the BOHLNT
Joshua 1 in the BOHNTLTAL
Joshua 1 in the BOICB
Joshua 1 in the BOILNTAP
Joshua 1 in the BOITCV
Joshua 1 in the BOKCV
Joshua 1 in the BOKCV2
Joshua 1 in the BOKHWOG
Joshua 1 in the BOKSSV
Joshua 1 in the BOLCB2
Joshua 1 in the BOMCV
Joshua 1 in the BONAV
Joshua 1 in the BONCB
Joshua 1 in the BONLT
Joshua 1 in the BONUT2
Joshua 1 in the BOPLNT
Joshua 1 in the BOSCB
Joshua 1 in the BOSNC
Joshua 1 in the BOTLNT
Joshua 1 in the BOVCB
Joshua 1 in the BOYCB
Joshua 1 in the BPBB
Joshua 1 in the BPH
Joshua 1 in the BSB
Joshua 1 in the CCB
Joshua 1 in the CUV
Joshua 1 in the CUVS
Joshua 1 in the DBT
Joshua 1 in the DGDNT
Joshua 1 in the DHNT
Joshua 1 in the DNT
Joshua 1 in the ELBE
Joshua 1 in the EMTV
Joshua 1 in the ESV
Joshua 1 in the FBV
Joshua 1 in the FEB
Joshua 1 in the GGMNT
Joshua 1 in the GNT
Joshua 1 in the HARY
Joshua 1 in the HNT
Joshua 1 in the IRVA
Joshua 1 in the IRVB
Joshua 1 in the IRVG
Joshua 1 in the IRVH
Joshua 1 in the IRVK
Joshua 1 in the IRVM
Joshua 1 in the IRVM2
Joshua 1 in the IRVO
Joshua 1 in the IRVP
Joshua 1 in the IRVT
Joshua 1 in the IRVT2
Joshua 1 in the IRVU
Joshua 1 in the ISVN
Joshua 1 in the JSNT
Joshua 1 in the KAPI
Joshua 1 in the KBT1ETNIK
Joshua 1 in the KBV
Joshua 1 in the KJV
Joshua 1 in the KNFD
Joshua 1 in the LBA
Joshua 1 in the LBLA
Joshua 1 in the LNT
Joshua 1 in the LSV
Joshua 1 in the MAAL
Joshua 1 in the MBV
Joshua 1 in the MBV2
Joshua 1 in the MHNT
Joshua 1 in the MKNFD
Joshua 1 in the MNG
Joshua 1 in the MNT
Joshua 1 in the MNT2
Joshua 1 in the MRS1T
Joshua 1 in the NAA
Joshua 1 in the NASB
Joshua 1 in the NBLA
Joshua 1 in the NBS
Joshua 1 in the NBVTP
Joshua 1 in the NET2
Joshua 1 in the NIV11
Joshua 1 in the NNT
Joshua 1 in the NNT2
Joshua 1 in the NNT3
Joshua 1 in the PDDPT
Joshua 1 in the PFNT
Joshua 1 in the RMNT
Joshua 1 in the SBIAS
Joshua 1 in the SBIBS
Joshua 1 in the SBIBS2
Joshua 1 in the SBICS
Joshua 1 in the SBIDS
Joshua 1 in the SBIGS
Joshua 1 in the SBIHS
Joshua 1 in the SBIIS
Joshua 1 in the SBIIS2
Joshua 1 in the SBIIS3
Joshua 1 in the SBIKS
Joshua 1 in the SBIKS2
Joshua 1 in the SBIMS
Joshua 1 in the SBIOS
Joshua 1 in the SBIPS
Joshua 1 in the SBISS
Joshua 1 in the SBITS
Joshua 1 in the SBITS2
Joshua 1 in the SBITS3
Joshua 1 in the SBITS4
Joshua 1 in the SBIUS
Joshua 1 in the SBIVS
Joshua 1 in the SBT
Joshua 1 in the SBT1E
Joshua 1 in the SCHL
Joshua 1 in the SNT
Joshua 1 in the SUSU
Joshua 1 in the SUSU2
Joshua 1 in the SYNO
Joshua 1 in the TBIAOTANT
Joshua 1 in the TBT1E
Joshua 1 in the TBT1E2
Joshua 1 in the TFTIP
Joshua 1 in the TFTU
Joshua 1 in the TGNTATF3T
Joshua 1 in the THAI
Joshua 1 in the TNFD
Joshua 1 in the TNT
Joshua 1 in the TNTIK
Joshua 1 in the TNTIL
Joshua 1 in the TNTIN
Joshua 1 in the TNTIP
Joshua 1 in the TNTIZ
Joshua 1 in the TOMA
Joshua 1 in the TTENT
Joshua 1 in the UBG
Joshua 1 in the UGV
Joshua 1 in the UGV2
Joshua 1 in the UGV3
Joshua 1 in the VBL
Joshua 1 in the VDCC
Joshua 1 in the YALU
Joshua 1 in the YAPE
Joshua 1 in the YBVTP
Joshua 1 in the ZBP