Joshua 17 (BOLCB)

1 Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira. 2 Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gw’abaana ba Abiyezeeri, n’ogw’abaana ba Kereki n’abaana ba Asuliyeri n’ogw’abaana ba Sekemu, n’ogw’abaana ba Keferi, n’ogw’abaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng’amaka mwe baazaalibwa bwe gaali. 3 Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. 4 Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu ne babagamba nti, “MUKAMA yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga MUKAMA bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe. 5 Bw’atyo Manase n’afuna ebitundu kkumi ng’oggyeko ensi ya Gireyaadi ne Basani ebiri emitala wa Yoludaani, 6 kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ng’abaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala. 7 N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua. 8 Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana. 9 Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja. 10 Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali. 11 Mu nsi ya Isakaali n’eya Aseri, Manase n’atwala Besuseani n’ebibuga byakyo ne Ibuleamu n’ebibuga byakyo n’abaali mu Endoli n’ebibuga byakyo n’abaali mu Doli n’abaali mu Taanaki n’ebibuga byakyo, n’abaali mu Megiddo n’ebibuga byakyo z’ensozi essatu. 12 Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo. 13 Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala. 14 Abaana ba Yusufu ne boogera ne Yoswa nti, “Lwaki ffe otuwadde omugabo gumu n’ekitundu kimu ate nga tuli kika kinene? MUKAMA atuwadde nnyo omukisa.” 15 Yoswa n’abagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi y’Abaperezi n’ey’Abalefa mwesaayire ekibira, ensi ey’ensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.” 16 Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi ey’ensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi ey’ekiwonvu n’abali mu Besuseani n’ebibuga byakyo era n’abali mu kiwonvu eky’e Yezuleeri balina amagaali ag’ebyuma.” 17 Yoswa n’ayogera eri ennyumba ya Yusufu, n’eya Efulayimu n’eya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka, 18 naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.”

In Other Versions

Joshua 17 in the ANGEFD

Joshua 17 in the ANTPNG2D

Joshua 17 in the AS21

Joshua 17 in the BAGH

Joshua 17 in the BBPNG

Joshua 17 in the BBT1E

Joshua 17 in the BDS

Joshua 17 in the BEV

Joshua 17 in the BHAD

Joshua 17 in the BIB

Joshua 17 in the BLPT

Joshua 17 in the BNT

Joshua 17 in the BNTABOOT

Joshua 17 in the BNTLV

Joshua 17 in the BOATCB

Joshua 17 in the BOATCB2

Joshua 17 in the BOBCV

Joshua 17 in the BOCNT

Joshua 17 in the BOECS

Joshua 17 in the BOGWICC

Joshua 17 in the BOHCB

Joshua 17 in the BOHCV

Joshua 17 in the BOHLNT

Joshua 17 in the BOHNTLTAL

Joshua 17 in the BOICB

Joshua 17 in the BOILNTAP

Joshua 17 in the BOITCV

Joshua 17 in the BOKCV

Joshua 17 in the BOKCV2

Joshua 17 in the BOKHWOG

Joshua 17 in the BOKSSV

Joshua 17 in the BOLCB2

Joshua 17 in the BOMCV

Joshua 17 in the BONAV

Joshua 17 in the BONCB

Joshua 17 in the BONLT

Joshua 17 in the BONUT2

Joshua 17 in the BOPLNT

Joshua 17 in the BOSCB

Joshua 17 in the BOSNC

Joshua 17 in the BOTLNT

Joshua 17 in the BOVCB

Joshua 17 in the BOYCB

Joshua 17 in the BPBB

Joshua 17 in the BPH

Joshua 17 in the BSB

Joshua 17 in the CCB

Joshua 17 in the CUV

Joshua 17 in the CUVS

Joshua 17 in the DBT

Joshua 17 in the DGDNT

Joshua 17 in the DHNT

Joshua 17 in the DNT

Joshua 17 in the ELBE

Joshua 17 in the EMTV

Joshua 17 in the ESV

Joshua 17 in the FBV

Joshua 17 in the FEB

Joshua 17 in the GGMNT

Joshua 17 in the GNT

Joshua 17 in the HARY

Joshua 17 in the HNT

Joshua 17 in the IRVA

Joshua 17 in the IRVB

Joshua 17 in the IRVG

Joshua 17 in the IRVH

Joshua 17 in the IRVK

Joshua 17 in the IRVM

Joshua 17 in the IRVM2

Joshua 17 in the IRVO

Joshua 17 in the IRVP

Joshua 17 in the IRVT

Joshua 17 in the IRVT2

Joshua 17 in the IRVU

Joshua 17 in the ISVN

Joshua 17 in the JSNT

Joshua 17 in the KAPI

Joshua 17 in the KBT1ETNIK

Joshua 17 in the KBV

Joshua 17 in the KJV

Joshua 17 in the KNFD

Joshua 17 in the LBA

Joshua 17 in the LBLA

Joshua 17 in the LNT

Joshua 17 in the LSV

Joshua 17 in the MAAL

Joshua 17 in the MBV

Joshua 17 in the MBV2

Joshua 17 in the MHNT

Joshua 17 in the MKNFD

Joshua 17 in the MNG

Joshua 17 in the MNT

Joshua 17 in the MNT2

Joshua 17 in the MRS1T

Joshua 17 in the NAA

Joshua 17 in the NASB

Joshua 17 in the NBLA

Joshua 17 in the NBS

Joshua 17 in the NBVTP

Joshua 17 in the NET2

Joshua 17 in the NIV11

Joshua 17 in the NNT

Joshua 17 in the NNT2

Joshua 17 in the NNT3

Joshua 17 in the PDDPT

Joshua 17 in the PFNT

Joshua 17 in the RMNT

Joshua 17 in the SBIAS

Joshua 17 in the SBIBS

Joshua 17 in the SBIBS2

Joshua 17 in the SBICS

Joshua 17 in the SBIDS

Joshua 17 in the SBIGS

Joshua 17 in the SBIHS

Joshua 17 in the SBIIS

Joshua 17 in the SBIIS2

Joshua 17 in the SBIIS3

Joshua 17 in the SBIKS

Joshua 17 in the SBIKS2

Joshua 17 in the SBIMS

Joshua 17 in the SBIOS

Joshua 17 in the SBIPS

Joshua 17 in the SBISS

Joshua 17 in the SBITS

Joshua 17 in the SBITS2

Joshua 17 in the SBITS3

Joshua 17 in the SBITS4

Joshua 17 in the SBIUS

Joshua 17 in the SBIVS

Joshua 17 in the SBT

Joshua 17 in the SBT1E

Joshua 17 in the SCHL

Joshua 17 in the SNT

Joshua 17 in the SUSU

Joshua 17 in the SUSU2

Joshua 17 in the SYNO

Joshua 17 in the TBIAOTANT

Joshua 17 in the TBT1E

Joshua 17 in the TBT1E2

Joshua 17 in the TFTIP

Joshua 17 in the TFTU

Joshua 17 in the TGNTATF3T

Joshua 17 in the THAI

Joshua 17 in the TNFD

Joshua 17 in the TNT

Joshua 17 in the TNTIK

Joshua 17 in the TNTIL

Joshua 17 in the TNTIN

Joshua 17 in the TNTIP

Joshua 17 in the TNTIZ

Joshua 17 in the TOMA

Joshua 17 in the TTENT

Joshua 17 in the UBG

Joshua 17 in the UGV

Joshua 17 in the UGV2

Joshua 17 in the UGV3

Joshua 17 in the VBL

Joshua 17 in the VDCC

Joshua 17 in the YALU

Joshua 17 in the YAPE

Joshua 17 in the YBVTP

Joshua 17 in the ZBP