Joshua 2 (BOLCB)
1 Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko.” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo. 2 Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye. 3 Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.” 4 Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava. 5 Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.” 6 So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa. 7 Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani. 8 Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu 9 n’abagamba nti, “Nkimanyi nga MUKAMA abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 10 Twawulira MUKAMA bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 11 Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga MUKAMA Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” 12 N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya MUKAMA era mumpe n’obukakafu 13 nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” 14 Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya MUKAMA ng’atuwadde ensi eno; era MUKAMA atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.” 15 Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa. 16 Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.” 17 Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe 18 era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. 19 Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe. 20 Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.” 21 Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa. 22 Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa, 23 ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda. 24 Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo MUKAMA agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
In Other Versions
Joshua 2 in the ANGEFD
Joshua 2 in the ANTPNG2D
Joshua 2 in the AS21
Joshua 2 in the BAGH
Joshua 2 in the BBPNG
Joshua 2 in the BBT1E
Joshua 2 in the BDS
Joshua 2 in the BEV
Joshua 2 in the BHAD
Joshua 2 in the BIB
Joshua 2 in the BLPT
Joshua 2 in the BNT
Joshua 2 in the BNTABOOT
Joshua 2 in the BNTLV
Joshua 2 in the BOATCB
Joshua 2 in the BOATCB2
Joshua 2 in the BOBCV
Joshua 2 in the BOCNT
Joshua 2 in the BOECS
Joshua 2 in the BOGWICC
Joshua 2 in the BOHCB
Joshua 2 in the BOHCV
Joshua 2 in the BOHLNT
Joshua 2 in the BOHNTLTAL
Joshua 2 in the BOICB
Joshua 2 in the BOILNTAP
Joshua 2 in the BOITCV
Joshua 2 in the BOKCV
Joshua 2 in the BOKCV2
Joshua 2 in the BOKHWOG
Joshua 2 in the BOKSSV
Joshua 2 in the BOLCB2
Joshua 2 in the BOMCV
Joshua 2 in the BONAV
Joshua 2 in the BONCB
Joshua 2 in the BONLT
Joshua 2 in the BONUT2
Joshua 2 in the BOPLNT
Joshua 2 in the BOSCB
Joshua 2 in the BOSNC
Joshua 2 in the BOTLNT
Joshua 2 in the BOVCB
Joshua 2 in the BOYCB
Joshua 2 in the BPBB
Joshua 2 in the BPH
Joshua 2 in the BSB
Joshua 2 in the CCB
Joshua 2 in the CUV
Joshua 2 in the CUVS
Joshua 2 in the DBT
Joshua 2 in the DGDNT
Joshua 2 in the DHNT
Joshua 2 in the DNT
Joshua 2 in the ELBE
Joshua 2 in the EMTV
Joshua 2 in the ESV
Joshua 2 in the FBV
Joshua 2 in the FEB
Joshua 2 in the GGMNT
Joshua 2 in the GNT
Joshua 2 in the HARY
Joshua 2 in the HNT
Joshua 2 in the IRVA
Joshua 2 in the IRVB
Joshua 2 in the IRVG
Joshua 2 in the IRVH
Joshua 2 in the IRVK
Joshua 2 in the IRVM
Joshua 2 in the IRVM2
Joshua 2 in the IRVO
Joshua 2 in the IRVP
Joshua 2 in the IRVT
Joshua 2 in the IRVT2
Joshua 2 in the IRVU
Joshua 2 in the ISVN
Joshua 2 in the JSNT
Joshua 2 in the KAPI
Joshua 2 in the KBT1ETNIK
Joshua 2 in the KBV
Joshua 2 in the KJV
Joshua 2 in the KNFD
Joshua 2 in the LBA
Joshua 2 in the LBLA
Joshua 2 in the LNT
Joshua 2 in the LSV
Joshua 2 in the MAAL
Joshua 2 in the MBV
Joshua 2 in the MBV2
Joshua 2 in the MHNT
Joshua 2 in the MKNFD
Joshua 2 in the MNG
Joshua 2 in the MNT
Joshua 2 in the MNT2
Joshua 2 in the MRS1T
Joshua 2 in the NAA
Joshua 2 in the NASB
Joshua 2 in the NBLA
Joshua 2 in the NBS
Joshua 2 in the NBVTP
Joshua 2 in the NET2
Joshua 2 in the NIV11
Joshua 2 in the NNT
Joshua 2 in the NNT2
Joshua 2 in the NNT3
Joshua 2 in the PDDPT
Joshua 2 in the PFNT
Joshua 2 in the RMNT
Joshua 2 in the SBIAS
Joshua 2 in the SBIBS
Joshua 2 in the SBIBS2
Joshua 2 in the SBICS
Joshua 2 in the SBIDS
Joshua 2 in the SBIGS
Joshua 2 in the SBIHS
Joshua 2 in the SBIIS
Joshua 2 in the SBIIS2
Joshua 2 in the SBIIS3
Joshua 2 in the SBIKS
Joshua 2 in the SBIKS2
Joshua 2 in the SBIMS
Joshua 2 in the SBIOS
Joshua 2 in the SBIPS
Joshua 2 in the SBISS
Joshua 2 in the SBITS
Joshua 2 in the SBITS2
Joshua 2 in the SBITS3
Joshua 2 in the SBITS4
Joshua 2 in the SBIUS
Joshua 2 in the SBIVS
Joshua 2 in the SBT
Joshua 2 in the SBT1E
Joshua 2 in the SCHL
Joshua 2 in the SNT
Joshua 2 in the SUSU
Joshua 2 in the SUSU2
Joshua 2 in the SYNO
Joshua 2 in the TBIAOTANT
Joshua 2 in the TBT1E
Joshua 2 in the TBT1E2
Joshua 2 in the TFTIP
Joshua 2 in the TFTU
Joshua 2 in the TGNTATF3T
Joshua 2 in the THAI
Joshua 2 in the TNFD
Joshua 2 in the TNT
Joshua 2 in the TNTIK
Joshua 2 in the TNTIL
Joshua 2 in the TNTIN
Joshua 2 in the TNTIP
Joshua 2 in the TNTIZ
Joshua 2 in the TOMA
Joshua 2 in the TTENT
Joshua 2 in the UBG
Joshua 2 in the UGV
Joshua 2 in the UGV2
Joshua 2 in the UGV3
Joshua 2 in the VBL
Joshua 2 in the VDCC
Joshua 2 in the YALU
Joshua 2 in the YAPE
Joshua 2 in the YBVTP
Joshua 2 in the ZBP