Joshua 3 (BOLCB)
1 Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka. 2 Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu 3 nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya MUKAMA Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera, 4 kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.” 5 Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya MUKAMA anaakola ebyamagero mu mmwe.” 6 Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira. 7 MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe. 8 Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.” 9 Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya MUKAMA Katonda wammwe. 10 Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba. 11 Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani. 12 Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu: 13 Bakabona abasitudde Essanduuko ya MUKAMA w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.” 14 Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko y’Endagaano. 15 Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. 16 Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. 17 Bakabona abasitudde Essanduuko ya MUKAMA ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
In Other Versions
Joshua 3 in the ANGEFD
Joshua 3 in the ANTPNG2D
Joshua 3 in the AS21
Joshua 3 in the BAGH
Joshua 3 in the BBPNG
Joshua 3 in the BBT1E
Joshua 3 in the BDS
Joshua 3 in the BEV
Joshua 3 in the BHAD
Joshua 3 in the BIB
Joshua 3 in the BLPT
Joshua 3 in the BNT
Joshua 3 in the BNTABOOT
Joshua 3 in the BNTLV
Joshua 3 in the BOATCB
Joshua 3 in the BOATCB2
Joshua 3 in the BOBCV
Joshua 3 in the BOCNT
Joshua 3 in the BOECS
Joshua 3 in the BOGWICC
Joshua 3 in the BOHCB
Joshua 3 in the BOHCV
Joshua 3 in the BOHLNT
Joshua 3 in the BOHNTLTAL
Joshua 3 in the BOICB
Joshua 3 in the BOILNTAP
Joshua 3 in the BOITCV
Joshua 3 in the BOKCV
Joshua 3 in the BOKCV2
Joshua 3 in the BOKHWOG
Joshua 3 in the BOKSSV
Joshua 3 in the BOLCB2
Joshua 3 in the BOMCV
Joshua 3 in the BONAV
Joshua 3 in the BONCB
Joshua 3 in the BONLT
Joshua 3 in the BONUT2
Joshua 3 in the BOPLNT
Joshua 3 in the BOSCB
Joshua 3 in the BOSNC
Joshua 3 in the BOTLNT
Joshua 3 in the BOVCB
Joshua 3 in the BOYCB
Joshua 3 in the BPBB
Joshua 3 in the BPH
Joshua 3 in the BSB
Joshua 3 in the CCB
Joshua 3 in the CUV
Joshua 3 in the CUVS
Joshua 3 in the DBT
Joshua 3 in the DGDNT
Joshua 3 in the DHNT
Joshua 3 in the DNT
Joshua 3 in the ELBE
Joshua 3 in the EMTV
Joshua 3 in the ESV
Joshua 3 in the FBV
Joshua 3 in the FEB
Joshua 3 in the GGMNT
Joshua 3 in the GNT
Joshua 3 in the HARY
Joshua 3 in the HNT
Joshua 3 in the IRVA
Joshua 3 in the IRVB
Joshua 3 in the IRVG
Joshua 3 in the IRVH
Joshua 3 in the IRVK
Joshua 3 in the IRVM
Joshua 3 in the IRVM2
Joshua 3 in the IRVO
Joshua 3 in the IRVP
Joshua 3 in the IRVT
Joshua 3 in the IRVT2
Joshua 3 in the IRVU
Joshua 3 in the ISVN
Joshua 3 in the JSNT
Joshua 3 in the KAPI
Joshua 3 in the KBT1ETNIK
Joshua 3 in the KBV
Joshua 3 in the KJV
Joshua 3 in the KNFD
Joshua 3 in the LBA
Joshua 3 in the LBLA
Joshua 3 in the LNT
Joshua 3 in the LSV
Joshua 3 in the MAAL
Joshua 3 in the MBV
Joshua 3 in the MBV2
Joshua 3 in the MHNT
Joshua 3 in the MKNFD
Joshua 3 in the MNG
Joshua 3 in the MNT
Joshua 3 in the MNT2
Joshua 3 in the MRS1T
Joshua 3 in the NAA
Joshua 3 in the NASB
Joshua 3 in the NBLA
Joshua 3 in the NBS
Joshua 3 in the NBVTP
Joshua 3 in the NET2
Joshua 3 in the NIV11
Joshua 3 in the NNT
Joshua 3 in the NNT2
Joshua 3 in the NNT3
Joshua 3 in the PDDPT
Joshua 3 in the PFNT
Joshua 3 in the RMNT
Joshua 3 in the SBIAS
Joshua 3 in the SBIBS
Joshua 3 in the SBIBS2
Joshua 3 in the SBICS
Joshua 3 in the SBIDS
Joshua 3 in the SBIGS
Joshua 3 in the SBIHS
Joshua 3 in the SBIIS
Joshua 3 in the SBIIS2
Joshua 3 in the SBIIS3
Joshua 3 in the SBIKS
Joshua 3 in the SBIKS2
Joshua 3 in the SBIMS
Joshua 3 in the SBIOS
Joshua 3 in the SBIPS
Joshua 3 in the SBISS
Joshua 3 in the SBITS
Joshua 3 in the SBITS2
Joshua 3 in the SBITS3
Joshua 3 in the SBITS4
Joshua 3 in the SBIUS
Joshua 3 in the SBIVS
Joshua 3 in the SBT
Joshua 3 in the SBT1E
Joshua 3 in the SCHL
Joshua 3 in the SNT
Joshua 3 in the SUSU
Joshua 3 in the SUSU2
Joshua 3 in the SYNO
Joshua 3 in the TBIAOTANT
Joshua 3 in the TBT1E
Joshua 3 in the TBT1E2
Joshua 3 in the TFTIP
Joshua 3 in the TFTU
Joshua 3 in the TGNTATF3T
Joshua 3 in the THAI
Joshua 3 in the TNFD
Joshua 3 in the TNT
Joshua 3 in the TNTIK
Joshua 3 in the TNTIL
Joshua 3 in the TNTIN
Joshua 3 in the TNTIP
Joshua 3 in the TNTIZ
Joshua 3 in the TOMA
Joshua 3 in the TTENT
Joshua 3 in the UBG
Joshua 3 in the UGV
Joshua 3 in the UGV2
Joshua 3 in the UGV3
Joshua 3 in the VBL
Joshua 3 in the VDCC
Joshua 3 in the YALU
Joshua 3 in the YAPE
Joshua 3 in the YBVTP
Joshua 3 in the ZBP