Leviticus 1 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, 2 “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri MUKAMA, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’ 3 “Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya MUKAMA ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri MUKAMA. 4 Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. 5 Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga MUKAMA; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri MUKAMA nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya MUKAMA ey’Okukuŋŋaanirangamu. 6 Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. 7 Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. 8 Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 9 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA. 10 “Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. 11 Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga MUKAMA, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 12 Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA. 14 “Ekiweebwayo ekyokebwa eri MUKAMA bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa MUKAMA.
In Other Versions
Leviticus 1 in the ANGEFD
Leviticus 1 in the ANTPNG2D
Leviticus 1 in the AS21
Leviticus 1 in the BAGH
Leviticus 1 in the BBPNG
Leviticus 1 in the BBT1E
Leviticus 1 in the BDS
Leviticus 1 in the BEV
Leviticus 1 in the BHAD
Leviticus 1 in the BIB
Leviticus 1 in the BLPT
Leviticus 1 in the BNT
Leviticus 1 in the BNTABOOT
Leviticus 1 in the BNTLV
Leviticus 1 in the BOATCB
Leviticus 1 in the BOATCB2
Leviticus 1 in the BOBCV
Leviticus 1 in the BOCNT
Leviticus 1 in the BOECS
Leviticus 1 in the BOGWICC
Leviticus 1 in the BOHCB
Leviticus 1 in the BOHCV
Leviticus 1 in the BOHLNT
Leviticus 1 in the BOHNTLTAL
Leviticus 1 in the BOICB
Leviticus 1 in the BOILNTAP
Leviticus 1 in the BOITCV
Leviticus 1 in the BOKCV
Leviticus 1 in the BOKCV2
Leviticus 1 in the BOKHWOG
Leviticus 1 in the BOKSSV
Leviticus 1 in the BOLCB2
Leviticus 1 in the BOMCV
Leviticus 1 in the BONAV
Leviticus 1 in the BONCB
Leviticus 1 in the BONLT
Leviticus 1 in the BONUT2
Leviticus 1 in the BOPLNT
Leviticus 1 in the BOSCB
Leviticus 1 in the BOSNC
Leviticus 1 in the BOTLNT
Leviticus 1 in the BOVCB
Leviticus 1 in the BOYCB
Leviticus 1 in the BPBB
Leviticus 1 in the BPH
Leviticus 1 in the BSB
Leviticus 1 in the CCB
Leviticus 1 in the CUV
Leviticus 1 in the CUVS
Leviticus 1 in the DBT
Leviticus 1 in the DGDNT
Leviticus 1 in the DHNT
Leviticus 1 in the DNT
Leviticus 1 in the ELBE
Leviticus 1 in the EMTV
Leviticus 1 in the ESV
Leviticus 1 in the FBV
Leviticus 1 in the FEB
Leviticus 1 in the GGMNT
Leviticus 1 in the GNT
Leviticus 1 in the HARY
Leviticus 1 in the HNT
Leviticus 1 in the IRVA
Leviticus 1 in the IRVB
Leviticus 1 in the IRVG
Leviticus 1 in the IRVH
Leviticus 1 in the IRVK
Leviticus 1 in the IRVM
Leviticus 1 in the IRVM2
Leviticus 1 in the IRVO
Leviticus 1 in the IRVP
Leviticus 1 in the IRVT
Leviticus 1 in the IRVT2
Leviticus 1 in the IRVU
Leviticus 1 in the ISVN
Leviticus 1 in the JSNT
Leviticus 1 in the KAPI
Leviticus 1 in the KBT1ETNIK
Leviticus 1 in the KBV
Leviticus 1 in the KJV
Leviticus 1 in the KNFD
Leviticus 1 in the LBA
Leviticus 1 in the LBLA
Leviticus 1 in the LNT
Leviticus 1 in the LSV
Leviticus 1 in the MAAL
Leviticus 1 in the MBV
Leviticus 1 in the MBV2
Leviticus 1 in the MHNT
Leviticus 1 in the MKNFD
Leviticus 1 in the MNG
Leviticus 1 in the MNT
Leviticus 1 in the MNT2
Leviticus 1 in the MRS1T
Leviticus 1 in the NAA
Leviticus 1 in the NASB
Leviticus 1 in the NBLA
Leviticus 1 in the NBS
Leviticus 1 in the NBVTP
Leviticus 1 in the NET2
Leviticus 1 in the NIV11
Leviticus 1 in the NNT
Leviticus 1 in the NNT2
Leviticus 1 in the NNT3
Leviticus 1 in the PDDPT
Leviticus 1 in the PFNT
Leviticus 1 in the RMNT
Leviticus 1 in the SBIAS
Leviticus 1 in the SBIBS
Leviticus 1 in the SBIBS2
Leviticus 1 in the SBICS
Leviticus 1 in the SBIDS
Leviticus 1 in the SBIGS
Leviticus 1 in the SBIHS
Leviticus 1 in the SBIIS
Leviticus 1 in the SBIIS2
Leviticus 1 in the SBIIS3
Leviticus 1 in the SBIKS
Leviticus 1 in the SBIKS2
Leviticus 1 in the SBIMS
Leviticus 1 in the SBIOS
Leviticus 1 in the SBIPS
Leviticus 1 in the SBISS
Leviticus 1 in the SBITS
Leviticus 1 in the SBITS2
Leviticus 1 in the SBITS3
Leviticus 1 in the SBITS4
Leviticus 1 in the SBIUS
Leviticus 1 in the SBIVS
Leviticus 1 in the SBT
Leviticus 1 in the SBT1E
Leviticus 1 in the SCHL
Leviticus 1 in the SNT
Leviticus 1 in the SUSU
Leviticus 1 in the SUSU2
Leviticus 1 in the SYNO
Leviticus 1 in the TBIAOTANT
Leviticus 1 in the TBT1E
Leviticus 1 in the TBT1E2
Leviticus 1 in the TFTIP
Leviticus 1 in the TFTU
Leviticus 1 in the TGNTATF3T
Leviticus 1 in the THAI
Leviticus 1 in the TNFD
Leviticus 1 in the TNT
Leviticus 1 in the TNTIK
Leviticus 1 in the TNTIL
Leviticus 1 in the TNTIN
Leviticus 1 in the TNTIP
Leviticus 1 in the TNTIZ
Leviticus 1 in the TOMA
Leviticus 1 in the TTENT
Leviticus 1 in the UBG
Leviticus 1 in the UGV
Leviticus 1 in the UGV2
Leviticus 1 in the UGV3
Leviticus 1 in the VBL
Leviticus 1 in the VDCC
Leviticus 1 in the YALU
Leviticus 1 in the YAPE
Leviticus 1 in the YBVTP
Leviticus 1 in the ZBP