Leviticus 21 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be, 2 wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we, 3 oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu. 4 Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be. 5 Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe. 6 Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri MUKAMA, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu. 7 Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe. 8 Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze MUKAMA atukuza mmwe, ndi mutukuvu. 9 Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro. 10 “Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye. 11 Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina. 12 Era n’ekifo kya Katonda we ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze MUKAMA Katonda. 13 Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. 14 Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be; 15 aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze MUKAMA Katonda amutukuza.” 16 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, 17 “Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we. 18 Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu; 19 oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala, 20 oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi. 21 Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri MUKAMA Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we. 22 Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we; 23 naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze MUKAMA Katonda abitukuza.” 24 Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.
In Other Versions
Leviticus 21 in the ANGEFD
Leviticus 21 in the ANTPNG2D
Leviticus 21 in the AS21
Leviticus 21 in the BAGH
Leviticus 21 in the BBPNG
Leviticus 21 in the BBT1E
Leviticus 21 in the BDS
Leviticus 21 in the BEV
Leviticus 21 in the BHAD
Leviticus 21 in the BIB
Leviticus 21 in the BLPT
Leviticus 21 in the BNT
Leviticus 21 in the BNTABOOT
Leviticus 21 in the BNTLV
Leviticus 21 in the BOATCB
Leviticus 21 in the BOATCB2
Leviticus 21 in the BOBCV
Leviticus 21 in the BOCNT
Leviticus 21 in the BOECS
Leviticus 21 in the BOGWICC
Leviticus 21 in the BOHCB
Leviticus 21 in the BOHCV
Leviticus 21 in the BOHLNT
Leviticus 21 in the BOHNTLTAL
Leviticus 21 in the BOICB
Leviticus 21 in the BOILNTAP
Leviticus 21 in the BOITCV
Leviticus 21 in the BOKCV
Leviticus 21 in the BOKCV2
Leviticus 21 in the BOKHWOG
Leviticus 21 in the BOKSSV
Leviticus 21 in the BOLCB2
Leviticus 21 in the BOMCV
Leviticus 21 in the BONAV
Leviticus 21 in the BONCB
Leviticus 21 in the BONLT
Leviticus 21 in the BONUT2
Leviticus 21 in the BOPLNT
Leviticus 21 in the BOSCB
Leviticus 21 in the BOSNC
Leviticus 21 in the BOTLNT
Leviticus 21 in the BOVCB
Leviticus 21 in the BOYCB
Leviticus 21 in the BPBB
Leviticus 21 in the BPH
Leviticus 21 in the BSB
Leviticus 21 in the CCB
Leviticus 21 in the CUV
Leviticus 21 in the CUVS
Leviticus 21 in the DBT
Leviticus 21 in the DGDNT
Leviticus 21 in the DHNT
Leviticus 21 in the DNT
Leviticus 21 in the ELBE
Leviticus 21 in the EMTV
Leviticus 21 in the ESV
Leviticus 21 in the FBV
Leviticus 21 in the FEB
Leviticus 21 in the GGMNT
Leviticus 21 in the GNT
Leviticus 21 in the HARY
Leviticus 21 in the HNT
Leviticus 21 in the IRVA
Leviticus 21 in the IRVB
Leviticus 21 in the IRVG
Leviticus 21 in the IRVH
Leviticus 21 in the IRVK
Leviticus 21 in the IRVM
Leviticus 21 in the IRVM2
Leviticus 21 in the IRVO
Leviticus 21 in the IRVP
Leviticus 21 in the IRVT
Leviticus 21 in the IRVT2
Leviticus 21 in the IRVU
Leviticus 21 in the ISVN
Leviticus 21 in the JSNT
Leviticus 21 in the KAPI
Leviticus 21 in the KBT1ETNIK
Leviticus 21 in the KBV
Leviticus 21 in the KJV
Leviticus 21 in the KNFD
Leviticus 21 in the LBA
Leviticus 21 in the LBLA
Leviticus 21 in the LNT
Leviticus 21 in the LSV
Leviticus 21 in the MAAL
Leviticus 21 in the MBV
Leviticus 21 in the MBV2
Leviticus 21 in the MHNT
Leviticus 21 in the MKNFD
Leviticus 21 in the MNG
Leviticus 21 in the MNT
Leviticus 21 in the MNT2
Leviticus 21 in the MRS1T
Leviticus 21 in the NAA
Leviticus 21 in the NASB
Leviticus 21 in the NBLA
Leviticus 21 in the NBS
Leviticus 21 in the NBVTP
Leviticus 21 in the NET2
Leviticus 21 in the NIV11
Leviticus 21 in the NNT
Leviticus 21 in the NNT2
Leviticus 21 in the NNT3
Leviticus 21 in the PDDPT
Leviticus 21 in the PFNT
Leviticus 21 in the RMNT
Leviticus 21 in the SBIAS
Leviticus 21 in the SBIBS
Leviticus 21 in the SBIBS2
Leviticus 21 in the SBICS
Leviticus 21 in the SBIDS
Leviticus 21 in the SBIGS
Leviticus 21 in the SBIHS
Leviticus 21 in the SBIIS
Leviticus 21 in the SBIIS2
Leviticus 21 in the SBIIS3
Leviticus 21 in the SBIKS
Leviticus 21 in the SBIKS2
Leviticus 21 in the SBIMS
Leviticus 21 in the SBIOS
Leviticus 21 in the SBIPS
Leviticus 21 in the SBISS
Leviticus 21 in the SBITS
Leviticus 21 in the SBITS2
Leviticus 21 in the SBITS3
Leviticus 21 in the SBITS4
Leviticus 21 in the SBIUS
Leviticus 21 in the SBIVS
Leviticus 21 in the SBT
Leviticus 21 in the SBT1E
Leviticus 21 in the SCHL
Leviticus 21 in the SNT
Leviticus 21 in the SUSU
Leviticus 21 in the SUSU2
Leviticus 21 in the SYNO
Leviticus 21 in the TBIAOTANT
Leviticus 21 in the TBT1E
Leviticus 21 in the TBT1E2
Leviticus 21 in the TFTIP
Leviticus 21 in the TFTU
Leviticus 21 in the TGNTATF3T
Leviticus 21 in the THAI
Leviticus 21 in the TNFD
Leviticus 21 in the TNT
Leviticus 21 in the TNTIK
Leviticus 21 in the TNTIL
Leviticus 21 in the TNTIN
Leviticus 21 in the TNTIP
Leviticus 21 in the TNTIZ
Leviticus 21 in the TOMA
Leviticus 21 in the TTENT
Leviticus 21 in the UBG
Leviticus 21 in the UGV
Leviticus 21 in the UGV2
Leviticus 21 in the UGV3
Leviticus 21 in the VBL
Leviticus 21 in the VDCC
Leviticus 21 in the YALU
Leviticus 21 in the YAPE
Leviticus 21 in the YBVTP
Leviticus 21 in the ZBP