Leviticus 9 (BOLCB)
1 Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. 2 N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda. 3 Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; 4 era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri MUKAMA Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero MUKAMA Katonda ajja kubalabikira.’ ” 5 Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali MUKAMA Katonda. 6 Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo MUKAMA Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya MUKAMA kijja kubalabikira.” 7 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga MUKAMA Katonda bwe yalagidde.” 8 Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. 9 Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10 N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 11 Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira. 12 Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 13 Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14 N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 15 Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 16 N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 17 N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya. 18 Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19 Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20 ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 21 naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga MUKAMA Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa, nga Musa bwe yalagira. 22 Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 23 Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya MUKAMA Katonda ne kirabikira abantu bonna. 24 Omuliro ne gujja nga guva eri MUKAMA Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.
In Other Versions
Leviticus 9 in the ANGEFD
Leviticus 9 in the ANTPNG2D
Leviticus 9 in the AS21
Leviticus 9 in the BAGH
Leviticus 9 in the BBPNG
Leviticus 9 in the BBT1E
Leviticus 9 in the BDS
Leviticus 9 in the BEV
Leviticus 9 in the BHAD
Leviticus 9 in the BIB
Leviticus 9 in the BLPT
Leviticus 9 in the BNT
Leviticus 9 in the BNTABOOT
Leviticus 9 in the BNTLV
Leviticus 9 in the BOATCB
Leviticus 9 in the BOATCB2
Leviticus 9 in the BOBCV
Leviticus 9 in the BOCNT
Leviticus 9 in the BOECS
Leviticus 9 in the BOGWICC
Leviticus 9 in the BOHCB
Leviticus 9 in the BOHCV
Leviticus 9 in the BOHLNT
Leviticus 9 in the BOHNTLTAL
Leviticus 9 in the BOICB
Leviticus 9 in the BOILNTAP
Leviticus 9 in the BOITCV
Leviticus 9 in the BOKCV
Leviticus 9 in the BOKCV2
Leviticus 9 in the BOKHWOG
Leviticus 9 in the BOKSSV
Leviticus 9 in the BOLCB2
Leviticus 9 in the BOMCV
Leviticus 9 in the BONAV
Leviticus 9 in the BONCB
Leviticus 9 in the BONLT
Leviticus 9 in the BONUT2
Leviticus 9 in the BOPLNT
Leviticus 9 in the BOSCB
Leviticus 9 in the BOSNC
Leviticus 9 in the BOTLNT
Leviticus 9 in the BOVCB
Leviticus 9 in the BOYCB
Leviticus 9 in the BPBB
Leviticus 9 in the BPH
Leviticus 9 in the BSB
Leviticus 9 in the CCB
Leviticus 9 in the CUV
Leviticus 9 in the CUVS
Leviticus 9 in the DBT
Leviticus 9 in the DGDNT
Leviticus 9 in the DHNT
Leviticus 9 in the DNT
Leviticus 9 in the ELBE
Leviticus 9 in the EMTV
Leviticus 9 in the ESV
Leviticus 9 in the FBV
Leviticus 9 in the FEB
Leviticus 9 in the GGMNT
Leviticus 9 in the GNT
Leviticus 9 in the HARY
Leviticus 9 in the HNT
Leviticus 9 in the IRVA
Leviticus 9 in the IRVB
Leviticus 9 in the IRVG
Leviticus 9 in the IRVH
Leviticus 9 in the IRVK
Leviticus 9 in the IRVM
Leviticus 9 in the IRVM2
Leviticus 9 in the IRVO
Leviticus 9 in the IRVP
Leviticus 9 in the IRVT
Leviticus 9 in the IRVT2
Leviticus 9 in the IRVU
Leviticus 9 in the ISVN
Leviticus 9 in the JSNT
Leviticus 9 in the KAPI
Leviticus 9 in the KBT1ETNIK
Leviticus 9 in the KBV
Leviticus 9 in the KJV
Leviticus 9 in the KNFD
Leviticus 9 in the LBA
Leviticus 9 in the LBLA
Leviticus 9 in the LNT
Leviticus 9 in the LSV
Leviticus 9 in the MAAL
Leviticus 9 in the MBV
Leviticus 9 in the MBV2
Leviticus 9 in the MHNT
Leviticus 9 in the MKNFD
Leviticus 9 in the MNG
Leviticus 9 in the MNT
Leviticus 9 in the MNT2
Leviticus 9 in the MRS1T
Leviticus 9 in the NAA
Leviticus 9 in the NASB
Leviticus 9 in the NBLA
Leviticus 9 in the NBS
Leviticus 9 in the NBVTP
Leviticus 9 in the NET2
Leviticus 9 in the NIV11
Leviticus 9 in the NNT
Leviticus 9 in the NNT2
Leviticus 9 in the NNT3
Leviticus 9 in the PDDPT
Leviticus 9 in the PFNT
Leviticus 9 in the RMNT
Leviticus 9 in the SBIAS
Leviticus 9 in the SBIBS
Leviticus 9 in the SBIBS2
Leviticus 9 in the SBICS
Leviticus 9 in the SBIDS
Leviticus 9 in the SBIGS
Leviticus 9 in the SBIHS
Leviticus 9 in the SBIIS
Leviticus 9 in the SBIIS2
Leviticus 9 in the SBIIS3
Leviticus 9 in the SBIKS
Leviticus 9 in the SBIKS2
Leviticus 9 in the SBIMS
Leviticus 9 in the SBIOS
Leviticus 9 in the SBIPS
Leviticus 9 in the SBISS
Leviticus 9 in the SBITS
Leviticus 9 in the SBITS2
Leviticus 9 in the SBITS3
Leviticus 9 in the SBITS4
Leviticus 9 in the SBIUS
Leviticus 9 in the SBIVS
Leviticus 9 in the SBT
Leviticus 9 in the SBT1E
Leviticus 9 in the SCHL
Leviticus 9 in the SNT
Leviticus 9 in the SUSU
Leviticus 9 in the SUSU2
Leviticus 9 in the SYNO
Leviticus 9 in the TBIAOTANT
Leviticus 9 in the TBT1E
Leviticus 9 in the TBT1E2
Leviticus 9 in the TFTIP
Leviticus 9 in the TFTU
Leviticus 9 in the TGNTATF3T
Leviticus 9 in the THAI
Leviticus 9 in the TNFD
Leviticus 9 in the TNT
Leviticus 9 in the TNTIK
Leviticus 9 in the TNTIL
Leviticus 9 in the TNTIN
Leviticus 9 in the TNTIP
Leviticus 9 in the TNTIZ
Leviticus 9 in the TOMA
Leviticus 9 in the TTENT
Leviticus 9 in the UBG
Leviticus 9 in the UGV
Leviticus 9 in the UGV2
Leviticus 9 in the UGV3
Leviticus 9 in the VBL
Leviticus 9 in the VDCC
Leviticus 9 in the YALU
Leviticus 9 in the YAPE
Leviticus 9 in the YBVTP
Leviticus 9 in the ZBP