Luke 14 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. 2 Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. 3 Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” 4 Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire. 5 N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?” 6 Era ne batamuddamu. 7 Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti, 8 “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, 9 eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. 10 Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. 11 Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” 12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.” 15 Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.” 16 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. 17 Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’ 18 “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’ 19 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’ 20 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’ 21 “Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe. 22 “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’ 23 “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. 24 Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ” 25 Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti, 26 “Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. 27 Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange. 28 “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza? 29 Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera, 30 nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’ 31 “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri? 32 Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe. 33 Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange. 34 “Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo? 35 Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”

In Other Versions

Luke 14 in the ANGEFD

Luke 14 in the ANTPNG2D

Luke 14 in the AS21

Luke 14 in the BAGH

Luke 14 in the BBPNG

Luke 14 in the BBT1E

Luke 14 in the BDS

Luke 14 in the BEV

Luke 14 in the BHAD

Luke 14 in the BIB

Luke 14 in the BLPT

Luke 14 in the BNT

Luke 14 in the BNTABOOT

Luke 14 in the BNTLV

Luke 14 in the BOATCB

Luke 14 in the BOATCB2

Luke 14 in the BOBCV

Luke 14 in the BOCNT

Luke 14 in the BOECS

Luke 14 in the BOGWICC

Luke 14 in the BOHCB

Luke 14 in the BOHCV

Luke 14 in the BOHLNT

Luke 14 in the BOHNTLTAL

Luke 14 in the BOICB

Luke 14 in the BOILNTAP

Luke 14 in the BOITCV

Luke 14 in the BOKCV

Luke 14 in the BOKCV2

Luke 14 in the BOKHWOG

Luke 14 in the BOKSSV

Luke 14 in the BOLCB2

Luke 14 in the BOMCV

Luke 14 in the BONAV

Luke 14 in the BONCB

Luke 14 in the BONLT

Luke 14 in the BONUT2

Luke 14 in the BOPLNT

Luke 14 in the BOSCB

Luke 14 in the BOSNC

Luke 14 in the BOTLNT

Luke 14 in the BOVCB

Luke 14 in the BOYCB

Luke 14 in the BPBB

Luke 14 in the BPH

Luke 14 in the BSB

Luke 14 in the CCB

Luke 14 in the CUV

Luke 14 in the CUVS

Luke 14 in the DBT

Luke 14 in the DGDNT

Luke 14 in the DHNT

Luke 14 in the DNT

Luke 14 in the ELBE

Luke 14 in the EMTV

Luke 14 in the ESV

Luke 14 in the FBV

Luke 14 in the FEB

Luke 14 in the GGMNT

Luke 14 in the GNT

Luke 14 in the HARY

Luke 14 in the HNT

Luke 14 in the IRVA

Luke 14 in the IRVB

Luke 14 in the IRVG

Luke 14 in the IRVH

Luke 14 in the IRVK

Luke 14 in the IRVM

Luke 14 in the IRVM2

Luke 14 in the IRVO

Luke 14 in the IRVP

Luke 14 in the IRVT

Luke 14 in the IRVT2

Luke 14 in the IRVU

Luke 14 in the ISVN

Luke 14 in the JSNT

Luke 14 in the KAPI

Luke 14 in the KBT1ETNIK

Luke 14 in the KBV

Luke 14 in the KJV

Luke 14 in the KNFD

Luke 14 in the LBA

Luke 14 in the LBLA

Luke 14 in the LNT

Luke 14 in the LSV

Luke 14 in the MAAL

Luke 14 in the MBV

Luke 14 in the MBV2

Luke 14 in the MHNT

Luke 14 in the MKNFD

Luke 14 in the MNG

Luke 14 in the MNT

Luke 14 in the MNT2

Luke 14 in the MRS1T

Luke 14 in the NAA

Luke 14 in the NASB

Luke 14 in the NBLA

Luke 14 in the NBS

Luke 14 in the NBVTP

Luke 14 in the NET2

Luke 14 in the NIV11

Luke 14 in the NNT

Luke 14 in the NNT2

Luke 14 in the NNT3

Luke 14 in the PDDPT

Luke 14 in the PFNT

Luke 14 in the RMNT

Luke 14 in the SBIAS

Luke 14 in the SBIBS

Luke 14 in the SBIBS2

Luke 14 in the SBICS

Luke 14 in the SBIDS

Luke 14 in the SBIGS

Luke 14 in the SBIHS

Luke 14 in the SBIIS

Luke 14 in the SBIIS2

Luke 14 in the SBIIS3

Luke 14 in the SBIKS

Luke 14 in the SBIKS2

Luke 14 in the SBIMS

Luke 14 in the SBIOS

Luke 14 in the SBIPS

Luke 14 in the SBISS

Luke 14 in the SBITS

Luke 14 in the SBITS2

Luke 14 in the SBITS3

Luke 14 in the SBITS4

Luke 14 in the SBIUS

Luke 14 in the SBIVS

Luke 14 in the SBT

Luke 14 in the SBT1E

Luke 14 in the SCHL

Luke 14 in the SNT

Luke 14 in the SUSU

Luke 14 in the SUSU2

Luke 14 in the SYNO

Luke 14 in the TBIAOTANT

Luke 14 in the TBT1E

Luke 14 in the TBT1E2

Luke 14 in the TFTIP

Luke 14 in the TFTU

Luke 14 in the TGNTATF3T

Luke 14 in the THAI

Luke 14 in the TNFD

Luke 14 in the TNT

Luke 14 in the TNTIK

Luke 14 in the TNTIL

Luke 14 in the TNTIN

Luke 14 in the TNTIP

Luke 14 in the TNTIZ

Luke 14 in the TOMA

Luke 14 in the TTENT

Luke 14 in the UBG

Luke 14 in the UGV

Luke 14 in the UGV2

Luke 14 in the UGV3

Luke 14 in the VBL

Luke 14 in the VDCC

Luke 14 in the YALU

Luke 14 in the YAPE

Luke 14 in the YBVTP

Luke 14 in the ZBP