Luke 4 (BOLCB)

1 Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 2 n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma. 3 Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” 4 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ” 5 Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.” 8 Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ” 9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,“ ‘Katonda aliragira bamalayika bebakukuume. 11 Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ” 12 Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” 13 Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala. 14 Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 15 N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza. 16 Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti, 18 “Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe, 19 n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.” 20 N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!” 22 Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?” 23 Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ” 24 Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.” 28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira. 31 Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti. 32 Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza. 33 Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti, 34 “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.” 35 Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza. 36 Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” 37 Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo. 38 Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. 39 Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza! 40 Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya. 41 Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako. 42 Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako. 43 Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.” 44 Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.

In Other Versions

Luke 4 in the ANGEFD

Luke 4 in the ANTPNG2D

Luke 4 in the AS21

Luke 4 in the BAGH

Luke 4 in the BBPNG

Luke 4 in the BBT1E

Luke 4 in the BDS

Luke 4 in the BEV

Luke 4 in the BHAD

Luke 4 in the BIB

Luke 4 in the BLPT

Luke 4 in the BNT

Luke 4 in the BNTABOOT

Luke 4 in the BNTLV

Luke 4 in the BOATCB

Luke 4 in the BOATCB2

Luke 4 in the BOBCV

Luke 4 in the BOCNT

Luke 4 in the BOECS

Luke 4 in the BOGWICC

Luke 4 in the BOHCB

Luke 4 in the BOHCV

Luke 4 in the BOHLNT

Luke 4 in the BOHNTLTAL

Luke 4 in the BOICB

Luke 4 in the BOILNTAP

Luke 4 in the BOITCV

Luke 4 in the BOKCV

Luke 4 in the BOKCV2

Luke 4 in the BOKHWOG

Luke 4 in the BOKSSV

Luke 4 in the BOLCB2

Luke 4 in the BOMCV

Luke 4 in the BONAV

Luke 4 in the BONCB

Luke 4 in the BONLT

Luke 4 in the BONUT2

Luke 4 in the BOPLNT

Luke 4 in the BOSCB

Luke 4 in the BOSNC

Luke 4 in the BOTLNT

Luke 4 in the BOVCB

Luke 4 in the BOYCB

Luke 4 in the BPBB

Luke 4 in the BPH

Luke 4 in the BSB

Luke 4 in the CCB

Luke 4 in the CUV

Luke 4 in the CUVS

Luke 4 in the DBT

Luke 4 in the DGDNT

Luke 4 in the DHNT

Luke 4 in the DNT

Luke 4 in the ELBE

Luke 4 in the EMTV

Luke 4 in the ESV

Luke 4 in the FBV

Luke 4 in the FEB

Luke 4 in the GGMNT

Luke 4 in the GNT

Luke 4 in the HARY

Luke 4 in the HNT

Luke 4 in the IRVA

Luke 4 in the IRVB

Luke 4 in the IRVG

Luke 4 in the IRVH

Luke 4 in the IRVK

Luke 4 in the IRVM

Luke 4 in the IRVM2

Luke 4 in the IRVO

Luke 4 in the IRVP

Luke 4 in the IRVT

Luke 4 in the IRVT2

Luke 4 in the IRVU

Luke 4 in the ISVN

Luke 4 in the JSNT

Luke 4 in the KAPI

Luke 4 in the KBT1ETNIK

Luke 4 in the KBV

Luke 4 in the KJV

Luke 4 in the KNFD

Luke 4 in the LBA

Luke 4 in the LBLA

Luke 4 in the LNT

Luke 4 in the LSV

Luke 4 in the MAAL

Luke 4 in the MBV

Luke 4 in the MBV2

Luke 4 in the MHNT

Luke 4 in the MKNFD

Luke 4 in the MNG

Luke 4 in the MNT

Luke 4 in the MNT2

Luke 4 in the MRS1T

Luke 4 in the NAA

Luke 4 in the NASB

Luke 4 in the NBLA

Luke 4 in the NBS

Luke 4 in the NBVTP

Luke 4 in the NET2

Luke 4 in the NIV11

Luke 4 in the NNT

Luke 4 in the NNT2

Luke 4 in the NNT3

Luke 4 in the PDDPT

Luke 4 in the PFNT

Luke 4 in the RMNT

Luke 4 in the SBIAS

Luke 4 in the SBIBS

Luke 4 in the SBIBS2

Luke 4 in the SBICS

Luke 4 in the SBIDS

Luke 4 in the SBIGS

Luke 4 in the SBIHS

Luke 4 in the SBIIS

Luke 4 in the SBIIS2

Luke 4 in the SBIIS3

Luke 4 in the SBIKS

Luke 4 in the SBIKS2

Luke 4 in the SBIMS

Luke 4 in the SBIOS

Luke 4 in the SBIPS

Luke 4 in the SBISS

Luke 4 in the SBITS

Luke 4 in the SBITS2

Luke 4 in the SBITS3

Luke 4 in the SBITS4

Luke 4 in the SBIUS

Luke 4 in the SBIVS

Luke 4 in the SBT

Luke 4 in the SBT1E

Luke 4 in the SCHL

Luke 4 in the SNT

Luke 4 in the SUSU

Luke 4 in the SUSU2

Luke 4 in the SYNO

Luke 4 in the TBIAOTANT

Luke 4 in the TBT1E

Luke 4 in the TBT1E2

Luke 4 in the TFTIP

Luke 4 in the TFTU

Luke 4 in the TGNTATF3T

Luke 4 in the THAI

Luke 4 in the TNFD

Luke 4 in the TNT

Luke 4 in the TNTIK

Luke 4 in the TNTIL

Luke 4 in the TNTIN

Luke 4 in the TNTIP

Luke 4 in the TNTIZ

Luke 4 in the TOMA

Luke 4 in the TTENT

Luke 4 in the UBG

Luke 4 in the UGV

Luke 4 in the UGV2

Luke 4 in the UGV3

Luke 4 in the VBL

Luke 4 in the VDCC

Luke 4 in the YALU

Luke 4 in the YAPE

Luke 4 in the YBVTP

Luke 4 in the ZBP