Malachi 2 (BOLCB)
1 “Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. 2 Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo. 3 “Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange. 4 Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 5 “Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange. 6 Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi. 7 “Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba MUKAMA ow’Eggye. 8 Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 9 “Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.” 10 Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe? 11 Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya MUKAMA ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. 12 Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, MUKAMA alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri MUKAMA ow’Eggye! 13 Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya MUKAMA mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako. 14 Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga MUKAMA yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano. 15 Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe. 16 “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye.Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa. 17 MUKAMA mumukooyezza n’ebigambo byammwe.Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?”Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga MUKAMA, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”
In Other Versions
Malachi 2 in the ANGEFD
Malachi 2 in the ANTPNG2D
Malachi 2 in the AS21
Malachi 2 in the BAGH
Malachi 2 in the BBPNG
Malachi 2 in the BBT1E
Malachi 2 in the BDS
Malachi 2 in the BEV
Malachi 2 in the BHAD
Malachi 2 in the BIB
Malachi 2 in the BLPT
Malachi 2 in the BNT
Malachi 2 in the BNTABOOT
Malachi 2 in the BNTLV
Malachi 2 in the BOATCB
Malachi 2 in the BOATCB2
Malachi 2 in the BOBCV
Malachi 2 in the BOCNT
Malachi 2 in the BOECS
Malachi 2 in the BOGWICC
Malachi 2 in the BOHCB
Malachi 2 in the BOHCV
Malachi 2 in the BOHLNT
Malachi 2 in the BOHNTLTAL
Malachi 2 in the BOICB
Malachi 2 in the BOILNTAP
Malachi 2 in the BOITCV
Malachi 2 in the BOKCV
Malachi 2 in the BOKCV2
Malachi 2 in the BOKHWOG
Malachi 2 in the BOKSSV
Malachi 2 in the BOLCB2
Malachi 2 in the BOMCV
Malachi 2 in the BONAV
Malachi 2 in the BONCB
Malachi 2 in the BONLT
Malachi 2 in the BONUT2
Malachi 2 in the BOPLNT
Malachi 2 in the BOSCB
Malachi 2 in the BOSNC
Malachi 2 in the BOTLNT
Malachi 2 in the BOVCB
Malachi 2 in the BOYCB
Malachi 2 in the BPBB
Malachi 2 in the BPH
Malachi 2 in the BSB
Malachi 2 in the CCB
Malachi 2 in the CUV
Malachi 2 in the CUVS
Malachi 2 in the DBT
Malachi 2 in the DGDNT
Malachi 2 in the DHNT
Malachi 2 in the DNT
Malachi 2 in the ELBE
Malachi 2 in the EMTV
Malachi 2 in the ESV
Malachi 2 in the FBV
Malachi 2 in the FEB
Malachi 2 in the GGMNT
Malachi 2 in the GNT
Malachi 2 in the HARY
Malachi 2 in the HNT
Malachi 2 in the IRVA
Malachi 2 in the IRVB
Malachi 2 in the IRVG
Malachi 2 in the IRVH
Malachi 2 in the IRVK
Malachi 2 in the IRVM
Malachi 2 in the IRVM2
Malachi 2 in the IRVO
Malachi 2 in the IRVP
Malachi 2 in the IRVT
Malachi 2 in the IRVT2
Malachi 2 in the IRVU
Malachi 2 in the ISVN
Malachi 2 in the JSNT
Malachi 2 in the KAPI
Malachi 2 in the KBT1ETNIK
Malachi 2 in the KBV
Malachi 2 in the KJV
Malachi 2 in the KNFD
Malachi 2 in the LBA
Malachi 2 in the LBLA
Malachi 2 in the LNT
Malachi 2 in the LSV
Malachi 2 in the MAAL
Malachi 2 in the MBV
Malachi 2 in the MBV2
Malachi 2 in the MHNT
Malachi 2 in the MKNFD
Malachi 2 in the MNG
Malachi 2 in the MNT
Malachi 2 in the MNT2
Malachi 2 in the MRS1T
Malachi 2 in the NAA
Malachi 2 in the NASB
Malachi 2 in the NBLA
Malachi 2 in the NBS
Malachi 2 in the NBVTP
Malachi 2 in the NET2
Malachi 2 in the NIV11
Malachi 2 in the NNT
Malachi 2 in the NNT2
Malachi 2 in the NNT3
Malachi 2 in the PDDPT
Malachi 2 in the PFNT
Malachi 2 in the RMNT
Malachi 2 in the SBIAS
Malachi 2 in the SBIBS
Malachi 2 in the SBIBS2
Malachi 2 in the SBICS
Malachi 2 in the SBIDS
Malachi 2 in the SBIGS
Malachi 2 in the SBIHS
Malachi 2 in the SBIIS
Malachi 2 in the SBIIS2
Malachi 2 in the SBIIS3
Malachi 2 in the SBIKS
Malachi 2 in the SBIKS2
Malachi 2 in the SBIMS
Malachi 2 in the SBIOS
Malachi 2 in the SBIPS
Malachi 2 in the SBISS
Malachi 2 in the SBITS
Malachi 2 in the SBITS2
Malachi 2 in the SBITS3
Malachi 2 in the SBITS4
Malachi 2 in the SBIUS
Malachi 2 in the SBIVS
Malachi 2 in the SBT
Malachi 2 in the SBT1E
Malachi 2 in the SCHL
Malachi 2 in the SNT
Malachi 2 in the SUSU
Malachi 2 in the SUSU2
Malachi 2 in the SYNO
Malachi 2 in the TBIAOTANT
Malachi 2 in the TBT1E
Malachi 2 in the TBT1E2
Malachi 2 in the TFTIP
Malachi 2 in the TFTU
Malachi 2 in the TGNTATF3T
Malachi 2 in the THAI
Malachi 2 in the TNFD
Malachi 2 in the TNT
Malachi 2 in the TNTIK
Malachi 2 in the TNTIL
Malachi 2 in the TNTIN
Malachi 2 in the TNTIP
Malachi 2 in the TNTIZ
Malachi 2 in the TOMA
Malachi 2 in the TTENT
Malachi 2 in the UBG
Malachi 2 in the UGV
Malachi 2 in the UGV2
Malachi 2 in the UGV3
Malachi 2 in the VBL
Malachi 2 in the VDCC
Malachi 2 in the YALU
Malachi 2 in the YAPE
Malachi 2 in the YBVTP
Malachi 2 in the ZBP