Matthew 16 (BOLCB)

1 Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu. 2 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo. 3 Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro? 4 Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda. 5 Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati. 6 Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.” 7 Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.” 8 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’ 9 Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 10 Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? 11 Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.” 12 Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo. 13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?” 14 Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.” 15 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?” 16 Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” 17 Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.” 20 Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo. 21 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire. 22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.” 23 Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.” 24 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere. 25 Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya. 26 Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe? 27 Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali. 28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”

In Other Versions

Matthew 16 in the ANGEFD

Matthew 16 in the ANTPNG2D

Matthew 16 in the AS21

Matthew 16 in the BAGH

Matthew 16 in the BBPNG

Matthew 16 in the BBT1E

Matthew 16 in the BDS

Matthew 16 in the BEV

Matthew 16 in the BHAD

Matthew 16 in the BIB

Matthew 16 in the BLPT

Matthew 16 in the BNT

Matthew 16 in the BNTABOOT

Matthew 16 in the BNTLV

Matthew 16 in the BOATCB

Matthew 16 in the BOATCB2

Matthew 16 in the BOBCV

Matthew 16 in the BOCNT

Matthew 16 in the BOECS

Matthew 16 in the BOGWICC

Matthew 16 in the BOHCB

Matthew 16 in the BOHCV

Matthew 16 in the BOHLNT

Matthew 16 in the BOHNTLTAL

Matthew 16 in the BOICB

Matthew 16 in the BOILNTAP

Matthew 16 in the BOITCV

Matthew 16 in the BOKCV

Matthew 16 in the BOKCV2

Matthew 16 in the BOKHWOG

Matthew 16 in the BOKSSV

Matthew 16 in the BOLCB2

Matthew 16 in the BOMCV

Matthew 16 in the BONAV

Matthew 16 in the BONCB

Matthew 16 in the BONLT

Matthew 16 in the BONUT2

Matthew 16 in the BOPLNT

Matthew 16 in the BOSCB

Matthew 16 in the BOSNC

Matthew 16 in the BOTLNT

Matthew 16 in the BOVCB

Matthew 16 in the BOYCB

Matthew 16 in the BPBB

Matthew 16 in the BPH

Matthew 16 in the BSB

Matthew 16 in the CCB

Matthew 16 in the CUV

Matthew 16 in the CUVS

Matthew 16 in the DBT

Matthew 16 in the DGDNT

Matthew 16 in the DHNT

Matthew 16 in the DNT

Matthew 16 in the ELBE

Matthew 16 in the EMTV

Matthew 16 in the ESV

Matthew 16 in the FBV

Matthew 16 in the FEB

Matthew 16 in the GGMNT

Matthew 16 in the GNT

Matthew 16 in the HARY

Matthew 16 in the HNT

Matthew 16 in the IRVA

Matthew 16 in the IRVB

Matthew 16 in the IRVG

Matthew 16 in the IRVH

Matthew 16 in the IRVK

Matthew 16 in the IRVM

Matthew 16 in the IRVM2

Matthew 16 in the IRVO

Matthew 16 in the IRVP

Matthew 16 in the IRVT

Matthew 16 in the IRVT2

Matthew 16 in the IRVU

Matthew 16 in the ISVN

Matthew 16 in the JSNT

Matthew 16 in the KAPI

Matthew 16 in the KBT1ETNIK

Matthew 16 in the KBV

Matthew 16 in the KJV

Matthew 16 in the KNFD

Matthew 16 in the LBA

Matthew 16 in the LBLA

Matthew 16 in the LNT

Matthew 16 in the LSV

Matthew 16 in the MAAL

Matthew 16 in the MBV

Matthew 16 in the MBV2

Matthew 16 in the MHNT

Matthew 16 in the MKNFD

Matthew 16 in the MNG

Matthew 16 in the MNT

Matthew 16 in the MNT2

Matthew 16 in the MRS1T

Matthew 16 in the NAA

Matthew 16 in the NASB

Matthew 16 in the NBLA

Matthew 16 in the NBS

Matthew 16 in the NBVTP

Matthew 16 in the NET2

Matthew 16 in the NIV11

Matthew 16 in the NNT

Matthew 16 in the NNT2

Matthew 16 in the NNT3

Matthew 16 in the PDDPT

Matthew 16 in the PFNT

Matthew 16 in the RMNT

Matthew 16 in the SBIAS

Matthew 16 in the SBIBS

Matthew 16 in the SBIBS2

Matthew 16 in the SBICS

Matthew 16 in the SBIDS

Matthew 16 in the SBIGS

Matthew 16 in the SBIHS

Matthew 16 in the SBIIS

Matthew 16 in the SBIIS2

Matthew 16 in the SBIIS3

Matthew 16 in the SBIKS

Matthew 16 in the SBIKS2

Matthew 16 in the SBIMS

Matthew 16 in the SBIOS

Matthew 16 in the SBIPS

Matthew 16 in the SBISS

Matthew 16 in the SBITS

Matthew 16 in the SBITS2

Matthew 16 in the SBITS3

Matthew 16 in the SBITS4

Matthew 16 in the SBIUS

Matthew 16 in the SBIVS

Matthew 16 in the SBT

Matthew 16 in the SBT1E

Matthew 16 in the SCHL

Matthew 16 in the SNT

Matthew 16 in the SUSU

Matthew 16 in the SUSU2

Matthew 16 in the SYNO

Matthew 16 in the TBIAOTANT

Matthew 16 in the TBT1E

Matthew 16 in the TBT1E2

Matthew 16 in the TFTIP

Matthew 16 in the TFTU

Matthew 16 in the TGNTATF3T

Matthew 16 in the THAI

Matthew 16 in the TNFD

Matthew 16 in the TNT

Matthew 16 in the TNTIK

Matthew 16 in the TNTIL

Matthew 16 in the TNTIN

Matthew 16 in the TNTIP

Matthew 16 in the TNTIZ

Matthew 16 in the TOMA

Matthew 16 in the TTENT

Matthew 16 in the UBG

Matthew 16 in the UGV

Matthew 16 in the UGV2

Matthew 16 in the UGV3

Matthew 16 in the VBL

Matthew 16 in the VDCC

Matthew 16 in the YALU

Matthew 16 in the YAPE

Matthew 16 in the YBVTP

Matthew 16 in the ZBP