Matthew 21 (BOLCB)

1 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. 2 N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. 3 Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.” 4 Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti, 5 “Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,‘Laba Kabaka wammwe ajja gye mulinga muwombeefu,nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ” 6 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. 7 Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. 8 Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. 9 Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,“Ozaana Omwana wa Dawudi!” “Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” “Ozaana waggulu ennyo!” 10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?” 11 Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.” 12 Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’” 14 Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga. 16 Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, “ ‘Abaana abato n’abawere abayonka balimutendereza!’ ” 17 N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo. 18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka. 20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?” 21 Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.” 23 Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?” 24 Yesu n’addamu nti, “Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’  26 Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.” 27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.” 28 “Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’ 29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda. 30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda. 31 “Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.” 33 “Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu. 35 “Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’ 38 “Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?” 41 Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.” 42 Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Mukama era kya kyewuunyo.’ 43 “Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.” 45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

In Other Versions

Matthew 21 in the ANGEFD

Matthew 21 in the ANTPNG2D

Matthew 21 in the AS21

Matthew 21 in the BAGH

Matthew 21 in the BBPNG

Matthew 21 in the BBT1E

Matthew 21 in the BDS

Matthew 21 in the BEV

Matthew 21 in the BHAD

Matthew 21 in the BIB

Matthew 21 in the BLPT

Matthew 21 in the BNT

Matthew 21 in the BNTABOOT

Matthew 21 in the BNTLV

Matthew 21 in the BOATCB

Matthew 21 in the BOATCB2

Matthew 21 in the BOBCV

Matthew 21 in the BOCNT

Matthew 21 in the BOECS

Matthew 21 in the BOGWICC

Matthew 21 in the BOHCB

Matthew 21 in the BOHCV

Matthew 21 in the BOHLNT

Matthew 21 in the BOHNTLTAL

Matthew 21 in the BOICB

Matthew 21 in the BOILNTAP

Matthew 21 in the BOITCV

Matthew 21 in the BOKCV

Matthew 21 in the BOKCV2

Matthew 21 in the BOKHWOG

Matthew 21 in the BOKSSV

Matthew 21 in the BOLCB2

Matthew 21 in the BOMCV

Matthew 21 in the BONAV

Matthew 21 in the BONCB

Matthew 21 in the BONLT

Matthew 21 in the BONUT2

Matthew 21 in the BOPLNT

Matthew 21 in the BOSCB

Matthew 21 in the BOSNC

Matthew 21 in the BOTLNT

Matthew 21 in the BOVCB

Matthew 21 in the BOYCB

Matthew 21 in the BPBB

Matthew 21 in the BPH

Matthew 21 in the BSB

Matthew 21 in the CCB

Matthew 21 in the CUV

Matthew 21 in the CUVS

Matthew 21 in the DBT

Matthew 21 in the DGDNT

Matthew 21 in the DHNT

Matthew 21 in the DNT

Matthew 21 in the ELBE

Matthew 21 in the EMTV

Matthew 21 in the ESV

Matthew 21 in the FBV

Matthew 21 in the FEB

Matthew 21 in the GGMNT

Matthew 21 in the GNT

Matthew 21 in the HARY

Matthew 21 in the HNT

Matthew 21 in the IRVA

Matthew 21 in the IRVB

Matthew 21 in the IRVG

Matthew 21 in the IRVH

Matthew 21 in the IRVK

Matthew 21 in the IRVM

Matthew 21 in the IRVM2

Matthew 21 in the IRVO

Matthew 21 in the IRVP

Matthew 21 in the IRVT

Matthew 21 in the IRVT2

Matthew 21 in the IRVU

Matthew 21 in the ISVN

Matthew 21 in the JSNT

Matthew 21 in the KAPI

Matthew 21 in the KBT1ETNIK

Matthew 21 in the KBV

Matthew 21 in the KJV

Matthew 21 in the KNFD

Matthew 21 in the LBA

Matthew 21 in the LBLA

Matthew 21 in the LNT

Matthew 21 in the LSV

Matthew 21 in the MAAL

Matthew 21 in the MBV

Matthew 21 in the MBV2

Matthew 21 in the MHNT

Matthew 21 in the MKNFD

Matthew 21 in the MNG

Matthew 21 in the MNT

Matthew 21 in the MNT2

Matthew 21 in the MRS1T

Matthew 21 in the NAA

Matthew 21 in the NASB

Matthew 21 in the NBLA

Matthew 21 in the NBS

Matthew 21 in the NBVTP

Matthew 21 in the NET2

Matthew 21 in the NIV11

Matthew 21 in the NNT

Matthew 21 in the NNT2

Matthew 21 in the NNT3

Matthew 21 in the PDDPT

Matthew 21 in the PFNT

Matthew 21 in the RMNT

Matthew 21 in the SBIAS

Matthew 21 in the SBIBS

Matthew 21 in the SBIBS2

Matthew 21 in the SBICS

Matthew 21 in the SBIDS

Matthew 21 in the SBIGS

Matthew 21 in the SBIHS

Matthew 21 in the SBIIS

Matthew 21 in the SBIIS2

Matthew 21 in the SBIIS3

Matthew 21 in the SBIKS

Matthew 21 in the SBIKS2

Matthew 21 in the SBIMS

Matthew 21 in the SBIOS

Matthew 21 in the SBIPS

Matthew 21 in the SBISS

Matthew 21 in the SBITS

Matthew 21 in the SBITS2

Matthew 21 in the SBITS3

Matthew 21 in the SBITS4

Matthew 21 in the SBIUS

Matthew 21 in the SBIVS

Matthew 21 in the SBT

Matthew 21 in the SBT1E

Matthew 21 in the SCHL

Matthew 21 in the SNT

Matthew 21 in the SUSU

Matthew 21 in the SUSU2

Matthew 21 in the SYNO

Matthew 21 in the TBIAOTANT

Matthew 21 in the TBT1E

Matthew 21 in the TBT1E2

Matthew 21 in the TFTIP

Matthew 21 in the TFTU

Matthew 21 in the TGNTATF3T

Matthew 21 in the THAI

Matthew 21 in the TNFD

Matthew 21 in the TNT

Matthew 21 in the TNTIK

Matthew 21 in the TNTIL

Matthew 21 in the TNTIN

Matthew 21 in the TNTIP

Matthew 21 in the TNTIZ

Matthew 21 in the TOMA

Matthew 21 in the TTENT

Matthew 21 in the UBG

Matthew 21 in the UGV

Matthew 21 in the UGV2

Matthew 21 in the UGV3

Matthew 21 in the VBL

Matthew 21 in the VDCC

Matthew 21 in the YALU

Matthew 21 in the YAPE

Matthew 21 in the YBVTP

Matthew 21 in the ZBP