Matthew 24 (BOLCB)

1 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu, 2 naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.” 3 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?” 4 Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. 5 Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. 6 Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. 7 Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. 8 Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.” 9 “Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange. 10 Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana. 11 Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. 12 Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. 13 Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. 14 Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.” 15 “Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!” 26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.” 29 “Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa “kw’omu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era n’omwezi teguliyaka, n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ” 30 “Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.” 32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 33 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 34 Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.” 36 “Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka. 37 Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba. 38 Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato, 39 abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera. 40 Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa. 41 Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.” 42 “Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi. 43 Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira. 44 Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.” 45 “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

In Other Versions

Matthew 24 in the ANGEFD

Matthew 24 in the ANTPNG2D

Matthew 24 in the AS21

Matthew 24 in the BAGH

Matthew 24 in the BBPNG

Matthew 24 in the BBT1E

Matthew 24 in the BDS

Matthew 24 in the BEV

Matthew 24 in the BHAD

Matthew 24 in the BIB

Matthew 24 in the BLPT

Matthew 24 in the BNT

Matthew 24 in the BNTABOOT

Matthew 24 in the BNTLV

Matthew 24 in the BOATCB

Matthew 24 in the BOATCB2

Matthew 24 in the BOBCV

Matthew 24 in the BOCNT

Matthew 24 in the BOECS

Matthew 24 in the BOGWICC

Matthew 24 in the BOHCB

Matthew 24 in the BOHCV

Matthew 24 in the BOHLNT

Matthew 24 in the BOHNTLTAL

Matthew 24 in the BOICB

Matthew 24 in the BOILNTAP

Matthew 24 in the BOITCV

Matthew 24 in the BOKCV

Matthew 24 in the BOKCV2

Matthew 24 in the BOKHWOG

Matthew 24 in the BOKSSV

Matthew 24 in the BOLCB2

Matthew 24 in the BOMCV

Matthew 24 in the BONAV

Matthew 24 in the BONCB

Matthew 24 in the BONLT

Matthew 24 in the BONUT2

Matthew 24 in the BOPLNT

Matthew 24 in the BOSCB

Matthew 24 in the BOSNC

Matthew 24 in the BOTLNT

Matthew 24 in the BOVCB

Matthew 24 in the BOYCB

Matthew 24 in the BPBB

Matthew 24 in the BPH

Matthew 24 in the BSB

Matthew 24 in the CCB

Matthew 24 in the CUV

Matthew 24 in the CUVS

Matthew 24 in the DBT

Matthew 24 in the DGDNT

Matthew 24 in the DHNT

Matthew 24 in the DNT

Matthew 24 in the ELBE

Matthew 24 in the EMTV

Matthew 24 in the ESV

Matthew 24 in the FBV

Matthew 24 in the FEB

Matthew 24 in the GGMNT

Matthew 24 in the GNT

Matthew 24 in the HARY

Matthew 24 in the HNT

Matthew 24 in the IRVA

Matthew 24 in the IRVB

Matthew 24 in the IRVG

Matthew 24 in the IRVH

Matthew 24 in the IRVK

Matthew 24 in the IRVM

Matthew 24 in the IRVM2

Matthew 24 in the IRVO

Matthew 24 in the IRVP

Matthew 24 in the IRVT

Matthew 24 in the IRVT2

Matthew 24 in the IRVU

Matthew 24 in the ISVN

Matthew 24 in the JSNT

Matthew 24 in the KAPI

Matthew 24 in the KBT1ETNIK

Matthew 24 in the KBV

Matthew 24 in the KJV

Matthew 24 in the KNFD

Matthew 24 in the LBA

Matthew 24 in the LBLA

Matthew 24 in the LNT

Matthew 24 in the LSV

Matthew 24 in the MAAL

Matthew 24 in the MBV

Matthew 24 in the MBV2

Matthew 24 in the MHNT

Matthew 24 in the MKNFD

Matthew 24 in the MNG

Matthew 24 in the MNT

Matthew 24 in the MNT2

Matthew 24 in the MRS1T

Matthew 24 in the NAA

Matthew 24 in the NASB

Matthew 24 in the NBLA

Matthew 24 in the NBS

Matthew 24 in the NBVTP

Matthew 24 in the NET2

Matthew 24 in the NIV11

Matthew 24 in the NNT

Matthew 24 in the NNT2

Matthew 24 in the NNT3

Matthew 24 in the PDDPT

Matthew 24 in the PFNT

Matthew 24 in the RMNT

Matthew 24 in the SBIAS

Matthew 24 in the SBIBS

Matthew 24 in the SBIBS2

Matthew 24 in the SBICS

Matthew 24 in the SBIDS

Matthew 24 in the SBIGS

Matthew 24 in the SBIHS

Matthew 24 in the SBIIS

Matthew 24 in the SBIIS2

Matthew 24 in the SBIIS3

Matthew 24 in the SBIKS

Matthew 24 in the SBIKS2

Matthew 24 in the SBIMS

Matthew 24 in the SBIOS

Matthew 24 in the SBIPS

Matthew 24 in the SBISS

Matthew 24 in the SBITS

Matthew 24 in the SBITS2

Matthew 24 in the SBITS3

Matthew 24 in the SBITS4

Matthew 24 in the SBIUS

Matthew 24 in the SBIVS

Matthew 24 in the SBT

Matthew 24 in the SBT1E

Matthew 24 in the SCHL

Matthew 24 in the SNT

Matthew 24 in the SUSU

Matthew 24 in the SUSU2

Matthew 24 in the SYNO

Matthew 24 in the TBIAOTANT

Matthew 24 in the TBT1E

Matthew 24 in the TBT1E2

Matthew 24 in the TFTIP

Matthew 24 in the TFTU

Matthew 24 in the TGNTATF3T

Matthew 24 in the THAI

Matthew 24 in the TNFD

Matthew 24 in the TNT

Matthew 24 in the TNTIK

Matthew 24 in the TNTIL

Matthew 24 in the TNTIN

Matthew 24 in the TNTIP

Matthew 24 in the TNTIZ

Matthew 24 in the TOMA

Matthew 24 in the TTENT

Matthew 24 in the UBG

Matthew 24 in the UGV

Matthew 24 in the UGV2

Matthew 24 in the UGV3

Matthew 24 in the VBL

Matthew 24 in the VDCC

Matthew 24 in the YALU

Matthew 24 in the YAPE

Matthew 24 in the YBVTP

Matthew 24 in the ZBP