Nehemiah 2 (BOLCB)
1 Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi, nga bamuleetedde wayini, ne nzirira wayini ne muwa kabaka. Nnali sinakuwalirangako mu maaso ge. 2 Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ng’omulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima.”Ne ntya nnyo, 3 naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?” 4 Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” Awo ne nsaba eri Katonda w’eggulu, 5 n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.” 6 Awo kabaka, ne mukyala we ng’amuli ku lusegere, n’ambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka n’asiima okuntuma, ne neegerera ekiseera. 7 Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bw’anaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala w’omugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda. 8 Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ez’okubajjamu enzigi za yeekaalu, n’eza wankaaki wa bbugwe w’ekibuga, n’ekifo we nnaabeeranga.” Olw’omukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka n’ampa bye namusaba. 9 Awo ne ndaga eri abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati ne mbakwasa ebbaluwa eziva ewa kabaka. Kabaka yampa abakungu b’eggye n’abeebagala embalaasi okumperekerako. 10 Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omukungu Omwamoni bwe baakiwulira, ne banyiiga nnyo bwe baamanya nga waliwo omuntu afuddeyo ku mbeera y’abaana ba Isirayiri. 11 Ne ntuuka e Yerusaalemi, ne mbeerayo ennaku ssatu, 12 ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula n’abamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu n’omu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda n’ensolo emu yokka gye nnali neebagadde. 13 Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa, ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro. 14 N’oluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogw’Oluzzi n’eri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange n’eteyinza kuyitawo. 15 Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu. 16 Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, n’abalala abaali bateekwa okukola omulimu. 17 Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.” 18 Ne mbategeeza omukono gwa Katonda ogw’ekisa bye gwali gunkoledde, ne kabaka bye yaŋŋamba. Ne baddamu nti, “Tugolokoke tutandike okuzimba.”Era ne batandika omulimu. 19 Naye Sanubalaati Omukoloni, ne Tobiya omukungu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batunyooma n’okutusekerera ne batusekerera. Ne batubuuza nti, “Kiki kye mukola? Mwagala kujeemera kabaka?” 20 Ne mbaddamu nti, “Katonda w’eggulu alituyamba okukituukiriza, era ffe abaddu be tulitandika okuzimba, naye mmwe temulina mugabo newaakubadde obusika newaakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”
In Other Versions
Nehemiah 2 in the ANGEFD
Nehemiah 2 in the ANTPNG2D
Nehemiah 2 in the AS21
Nehemiah 2 in the BAGH
Nehemiah 2 in the BBPNG
Nehemiah 2 in the BBT1E
Nehemiah 2 in the BDS
Nehemiah 2 in the BEV
Nehemiah 2 in the BHAD
Nehemiah 2 in the BIB
Nehemiah 2 in the BLPT
Nehemiah 2 in the BNT
Nehemiah 2 in the BNTABOOT
Nehemiah 2 in the BNTLV
Nehemiah 2 in the BOATCB
Nehemiah 2 in the BOATCB2
Nehemiah 2 in the BOBCV
Nehemiah 2 in the BOCNT
Nehemiah 2 in the BOECS
Nehemiah 2 in the BOGWICC
Nehemiah 2 in the BOHCB
Nehemiah 2 in the BOHCV
Nehemiah 2 in the BOHLNT
Nehemiah 2 in the BOHNTLTAL
Nehemiah 2 in the BOICB
Nehemiah 2 in the BOILNTAP
Nehemiah 2 in the BOITCV
Nehemiah 2 in the BOKCV
Nehemiah 2 in the BOKCV2
Nehemiah 2 in the BOKHWOG
Nehemiah 2 in the BOKSSV
Nehemiah 2 in the BOLCB2
Nehemiah 2 in the BOMCV
Nehemiah 2 in the BONAV
Nehemiah 2 in the BONCB
Nehemiah 2 in the BONLT
Nehemiah 2 in the BONUT2
Nehemiah 2 in the BOPLNT
Nehemiah 2 in the BOSCB
Nehemiah 2 in the BOSNC
Nehemiah 2 in the BOTLNT
Nehemiah 2 in the BOVCB
Nehemiah 2 in the BOYCB
Nehemiah 2 in the BPBB
Nehemiah 2 in the BPH
Nehemiah 2 in the BSB
Nehemiah 2 in the CCB
Nehemiah 2 in the CUV
Nehemiah 2 in the CUVS
Nehemiah 2 in the DBT
Nehemiah 2 in the DGDNT
Nehemiah 2 in the DHNT
Nehemiah 2 in the DNT
Nehemiah 2 in the ELBE
Nehemiah 2 in the EMTV
Nehemiah 2 in the ESV
Nehemiah 2 in the FBV
Nehemiah 2 in the FEB
Nehemiah 2 in the GGMNT
Nehemiah 2 in the GNT
Nehemiah 2 in the HARY
Nehemiah 2 in the HNT
Nehemiah 2 in the IRVA
Nehemiah 2 in the IRVB
Nehemiah 2 in the IRVG
Nehemiah 2 in the IRVH
Nehemiah 2 in the IRVK
Nehemiah 2 in the IRVM
Nehemiah 2 in the IRVM2
Nehemiah 2 in the IRVO
Nehemiah 2 in the IRVP
Nehemiah 2 in the IRVT
Nehemiah 2 in the IRVT2
Nehemiah 2 in the IRVU
Nehemiah 2 in the ISVN
Nehemiah 2 in the JSNT
Nehemiah 2 in the KAPI
Nehemiah 2 in the KBT1ETNIK
Nehemiah 2 in the KBV
Nehemiah 2 in the KJV
Nehemiah 2 in the KNFD
Nehemiah 2 in the LBA
Nehemiah 2 in the LBLA
Nehemiah 2 in the LNT
Nehemiah 2 in the LSV
Nehemiah 2 in the MAAL
Nehemiah 2 in the MBV
Nehemiah 2 in the MBV2
Nehemiah 2 in the MHNT
Nehemiah 2 in the MKNFD
Nehemiah 2 in the MNG
Nehemiah 2 in the MNT
Nehemiah 2 in the MNT2
Nehemiah 2 in the MRS1T
Nehemiah 2 in the NAA
Nehemiah 2 in the NASB
Nehemiah 2 in the NBLA
Nehemiah 2 in the NBS
Nehemiah 2 in the NBVTP
Nehemiah 2 in the NET2
Nehemiah 2 in the NIV11
Nehemiah 2 in the NNT
Nehemiah 2 in the NNT2
Nehemiah 2 in the NNT3
Nehemiah 2 in the PDDPT
Nehemiah 2 in the PFNT
Nehemiah 2 in the RMNT
Nehemiah 2 in the SBIAS
Nehemiah 2 in the SBIBS
Nehemiah 2 in the SBIBS2
Nehemiah 2 in the SBICS
Nehemiah 2 in the SBIDS
Nehemiah 2 in the SBIGS
Nehemiah 2 in the SBIHS
Nehemiah 2 in the SBIIS
Nehemiah 2 in the SBIIS2
Nehemiah 2 in the SBIIS3
Nehemiah 2 in the SBIKS
Nehemiah 2 in the SBIKS2
Nehemiah 2 in the SBIMS
Nehemiah 2 in the SBIOS
Nehemiah 2 in the SBIPS
Nehemiah 2 in the SBISS
Nehemiah 2 in the SBITS
Nehemiah 2 in the SBITS2
Nehemiah 2 in the SBITS3
Nehemiah 2 in the SBITS4
Nehemiah 2 in the SBIUS
Nehemiah 2 in the SBIVS
Nehemiah 2 in the SBT
Nehemiah 2 in the SBT1E
Nehemiah 2 in the SCHL
Nehemiah 2 in the SNT
Nehemiah 2 in the SUSU
Nehemiah 2 in the SUSU2
Nehemiah 2 in the SYNO
Nehemiah 2 in the TBIAOTANT
Nehemiah 2 in the TBT1E
Nehemiah 2 in the TBT1E2
Nehemiah 2 in the TFTIP
Nehemiah 2 in the TFTU
Nehemiah 2 in the TGNTATF3T
Nehemiah 2 in the THAI
Nehemiah 2 in the TNFD
Nehemiah 2 in the TNT
Nehemiah 2 in the TNTIK
Nehemiah 2 in the TNTIL
Nehemiah 2 in the TNTIN
Nehemiah 2 in the TNTIP
Nehemiah 2 in the TNTIZ
Nehemiah 2 in the TOMA
Nehemiah 2 in the TTENT
Nehemiah 2 in the UBG
Nehemiah 2 in the UGV
Nehemiah 2 in the UGV2
Nehemiah 2 in the UGV3
Nehemiah 2 in the VBL
Nehemiah 2 in the VDCC
Nehemiah 2 in the YALU
Nehemiah 2 in the YAPE
Nehemiah 2 in the YBVTP
Nehemiah 2 in the ZBP