Nehemiah 3 (BOLCB)

1 Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri MUKAMA, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri MUKAMA. 2 Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde. 3 Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo. 4 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo. 5 Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe. 6 Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo. 7 Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati. 8 Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi. 9 Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 10 Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza. 11 Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi. 12 Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be. 13 Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa. 14 Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo. 15 Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16 Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira. 17 Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye. 18 Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 19 Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa. 20 Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 21 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo. 22 Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 23 Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye. 24 Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe, 25 Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi 26 n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa. 27 Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi. 28 Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye. 29 Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge. 31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda. 32 Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.

In Other Versions

Nehemiah 3 in the ANGEFD

Nehemiah 3 in the ANTPNG2D

Nehemiah 3 in the AS21

Nehemiah 3 in the BAGH

Nehemiah 3 in the BBPNG

Nehemiah 3 in the BBT1E

Nehemiah 3 in the BDS

Nehemiah 3 in the BEV

Nehemiah 3 in the BHAD

Nehemiah 3 in the BIB

Nehemiah 3 in the BLPT

Nehemiah 3 in the BNT

Nehemiah 3 in the BNTABOOT

Nehemiah 3 in the BNTLV

Nehemiah 3 in the BOATCB

Nehemiah 3 in the BOATCB2

Nehemiah 3 in the BOBCV

Nehemiah 3 in the BOCNT

Nehemiah 3 in the BOECS

Nehemiah 3 in the BOGWICC

Nehemiah 3 in the BOHCB

Nehemiah 3 in the BOHCV

Nehemiah 3 in the BOHLNT

Nehemiah 3 in the BOHNTLTAL

Nehemiah 3 in the BOICB

Nehemiah 3 in the BOILNTAP

Nehemiah 3 in the BOITCV

Nehemiah 3 in the BOKCV

Nehemiah 3 in the BOKCV2

Nehemiah 3 in the BOKHWOG

Nehemiah 3 in the BOKSSV

Nehemiah 3 in the BOLCB2

Nehemiah 3 in the BOMCV

Nehemiah 3 in the BONAV

Nehemiah 3 in the BONCB

Nehemiah 3 in the BONLT

Nehemiah 3 in the BONUT2

Nehemiah 3 in the BOPLNT

Nehemiah 3 in the BOSCB

Nehemiah 3 in the BOSNC

Nehemiah 3 in the BOTLNT

Nehemiah 3 in the BOVCB

Nehemiah 3 in the BOYCB

Nehemiah 3 in the BPBB

Nehemiah 3 in the BPH

Nehemiah 3 in the BSB

Nehemiah 3 in the CCB

Nehemiah 3 in the CUV

Nehemiah 3 in the CUVS

Nehemiah 3 in the DBT

Nehemiah 3 in the DGDNT

Nehemiah 3 in the DHNT

Nehemiah 3 in the DNT

Nehemiah 3 in the ELBE

Nehemiah 3 in the EMTV

Nehemiah 3 in the ESV

Nehemiah 3 in the FBV

Nehemiah 3 in the FEB

Nehemiah 3 in the GGMNT

Nehemiah 3 in the GNT

Nehemiah 3 in the HARY

Nehemiah 3 in the HNT

Nehemiah 3 in the IRVA

Nehemiah 3 in the IRVB

Nehemiah 3 in the IRVG

Nehemiah 3 in the IRVH

Nehemiah 3 in the IRVK

Nehemiah 3 in the IRVM

Nehemiah 3 in the IRVM2

Nehemiah 3 in the IRVO

Nehemiah 3 in the IRVP

Nehemiah 3 in the IRVT

Nehemiah 3 in the IRVT2

Nehemiah 3 in the IRVU

Nehemiah 3 in the ISVN

Nehemiah 3 in the JSNT

Nehemiah 3 in the KAPI

Nehemiah 3 in the KBT1ETNIK

Nehemiah 3 in the KBV

Nehemiah 3 in the KJV

Nehemiah 3 in the KNFD

Nehemiah 3 in the LBA

Nehemiah 3 in the LBLA

Nehemiah 3 in the LNT

Nehemiah 3 in the LSV

Nehemiah 3 in the MAAL

Nehemiah 3 in the MBV

Nehemiah 3 in the MBV2

Nehemiah 3 in the MHNT

Nehemiah 3 in the MKNFD

Nehemiah 3 in the MNG

Nehemiah 3 in the MNT

Nehemiah 3 in the MNT2

Nehemiah 3 in the MRS1T

Nehemiah 3 in the NAA

Nehemiah 3 in the NASB

Nehemiah 3 in the NBLA

Nehemiah 3 in the NBS

Nehemiah 3 in the NBVTP

Nehemiah 3 in the NET2

Nehemiah 3 in the NIV11

Nehemiah 3 in the NNT

Nehemiah 3 in the NNT2

Nehemiah 3 in the NNT3

Nehemiah 3 in the PDDPT

Nehemiah 3 in the PFNT

Nehemiah 3 in the RMNT

Nehemiah 3 in the SBIAS

Nehemiah 3 in the SBIBS

Nehemiah 3 in the SBIBS2

Nehemiah 3 in the SBICS

Nehemiah 3 in the SBIDS

Nehemiah 3 in the SBIGS

Nehemiah 3 in the SBIHS

Nehemiah 3 in the SBIIS

Nehemiah 3 in the SBIIS2

Nehemiah 3 in the SBIIS3

Nehemiah 3 in the SBIKS

Nehemiah 3 in the SBIKS2

Nehemiah 3 in the SBIMS

Nehemiah 3 in the SBIOS

Nehemiah 3 in the SBIPS

Nehemiah 3 in the SBISS

Nehemiah 3 in the SBITS

Nehemiah 3 in the SBITS2

Nehemiah 3 in the SBITS3

Nehemiah 3 in the SBITS4

Nehemiah 3 in the SBIUS

Nehemiah 3 in the SBIVS

Nehemiah 3 in the SBT

Nehemiah 3 in the SBT1E

Nehemiah 3 in the SCHL

Nehemiah 3 in the SNT

Nehemiah 3 in the SUSU

Nehemiah 3 in the SUSU2

Nehemiah 3 in the SYNO

Nehemiah 3 in the TBIAOTANT

Nehemiah 3 in the TBT1E

Nehemiah 3 in the TBT1E2

Nehemiah 3 in the TFTIP

Nehemiah 3 in the TFTU

Nehemiah 3 in the TGNTATF3T

Nehemiah 3 in the THAI

Nehemiah 3 in the TNFD

Nehemiah 3 in the TNT

Nehemiah 3 in the TNTIK

Nehemiah 3 in the TNTIL

Nehemiah 3 in the TNTIN

Nehemiah 3 in the TNTIP

Nehemiah 3 in the TNTIZ

Nehemiah 3 in the TOMA

Nehemiah 3 in the TTENT

Nehemiah 3 in the UBG

Nehemiah 3 in the UGV

Nehemiah 3 in the UGV2

Nehemiah 3 in the UGV3

Nehemiah 3 in the VBL

Nehemiah 3 in the VDCC

Nehemiah 3 in the YALU

Nehemiah 3 in the YAPE

Nehemiah 3 in the YBVTP

Nehemiah 3 in the ZBP