Numbers 1 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti: 2 “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 3 Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 4 Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe. 5 “Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako: “Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli; 6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi; 7 mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu; 8 mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali; 9 mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. 10 Okuva mu baana ba Yusufu:mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni; 12 mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi; 13 mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani; 14 mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri; 15 mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.” 16 Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri. 17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19 nga MUKAMA bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi: 20 Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). 22 Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300). 24 Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). 26 Ab’omu bazzukulu ba Yuda:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). 28 Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). 30 Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). 32 Okuva mu batabani ba Yusufu:Ab’omu bazzukulu ba EfulayimuAbasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). 34 Ab’omu bazzukulu ba Manase:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). 36 Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). 38 Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). 40 Ab’omu bazzukulu ba Aseri:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). 42 Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). 44 Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). 47 Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48 Kubanga MUKAMA Katonda yali agambye Musa nti, 49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa MUKAMA. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.” 54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa.

In Other Versions

Numbers 1 in the ANGEFD

Numbers 1 in the ANTPNG2D

Numbers 1 in the AS21

Numbers 1 in the BAGH

Numbers 1 in the BBPNG

Numbers 1 in the BBT1E

Numbers 1 in the BDS

Numbers 1 in the BEV

Numbers 1 in the BHAD

Numbers 1 in the BIB

Numbers 1 in the BLPT

Numbers 1 in the BNT

Numbers 1 in the BNTABOOT

Numbers 1 in the BNTLV

Numbers 1 in the BOATCB

Numbers 1 in the BOATCB2

Numbers 1 in the BOBCV

Numbers 1 in the BOCNT

Numbers 1 in the BOECS

Numbers 1 in the BOGWICC

Numbers 1 in the BOHCB

Numbers 1 in the BOHCV

Numbers 1 in the BOHLNT

Numbers 1 in the BOHNTLTAL

Numbers 1 in the BOICB

Numbers 1 in the BOILNTAP

Numbers 1 in the BOITCV

Numbers 1 in the BOKCV

Numbers 1 in the BOKCV2

Numbers 1 in the BOKHWOG

Numbers 1 in the BOKSSV

Numbers 1 in the BOLCB2

Numbers 1 in the BOMCV

Numbers 1 in the BONAV

Numbers 1 in the BONCB

Numbers 1 in the BONLT

Numbers 1 in the BONUT2

Numbers 1 in the BOPLNT

Numbers 1 in the BOSCB

Numbers 1 in the BOSNC

Numbers 1 in the BOTLNT

Numbers 1 in the BOVCB

Numbers 1 in the BOYCB

Numbers 1 in the BPBB

Numbers 1 in the BPH

Numbers 1 in the BSB

Numbers 1 in the CCB

Numbers 1 in the CUV

Numbers 1 in the CUVS

Numbers 1 in the DBT

Numbers 1 in the DGDNT

Numbers 1 in the DHNT

Numbers 1 in the DNT

Numbers 1 in the ELBE

Numbers 1 in the EMTV

Numbers 1 in the ESV

Numbers 1 in the FBV

Numbers 1 in the FEB

Numbers 1 in the GGMNT

Numbers 1 in the GNT

Numbers 1 in the HARY

Numbers 1 in the HNT

Numbers 1 in the IRVA

Numbers 1 in the IRVB

Numbers 1 in the IRVG

Numbers 1 in the IRVH

Numbers 1 in the IRVK

Numbers 1 in the IRVM

Numbers 1 in the IRVM2

Numbers 1 in the IRVO

Numbers 1 in the IRVP

Numbers 1 in the IRVT

Numbers 1 in the IRVT2

Numbers 1 in the IRVU

Numbers 1 in the ISVN

Numbers 1 in the JSNT

Numbers 1 in the KAPI

Numbers 1 in the KBT1ETNIK

Numbers 1 in the KBV

Numbers 1 in the KJV

Numbers 1 in the KNFD

Numbers 1 in the LBA

Numbers 1 in the LBLA

Numbers 1 in the LNT

Numbers 1 in the LSV

Numbers 1 in the MAAL

Numbers 1 in the MBV

Numbers 1 in the MBV2

Numbers 1 in the MHNT

Numbers 1 in the MKNFD

Numbers 1 in the MNG

Numbers 1 in the MNT

Numbers 1 in the MNT2

Numbers 1 in the MRS1T

Numbers 1 in the NAA

Numbers 1 in the NASB

Numbers 1 in the NBLA

Numbers 1 in the NBS

Numbers 1 in the NBVTP

Numbers 1 in the NET2

Numbers 1 in the NIV11

Numbers 1 in the NNT

Numbers 1 in the NNT2

Numbers 1 in the NNT3

Numbers 1 in the PDDPT

Numbers 1 in the PFNT

Numbers 1 in the RMNT

Numbers 1 in the SBIAS

Numbers 1 in the SBIBS

Numbers 1 in the SBIBS2

Numbers 1 in the SBICS

Numbers 1 in the SBIDS

Numbers 1 in the SBIGS

Numbers 1 in the SBIHS

Numbers 1 in the SBIIS

Numbers 1 in the SBIIS2

Numbers 1 in the SBIIS3

Numbers 1 in the SBIKS

Numbers 1 in the SBIKS2

Numbers 1 in the SBIMS

Numbers 1 in the SBIOS

Numbers 1 in the SBIPS

Numbers 1 in the SBISS

Numbers 1 in the SBITS

Numbers 1 in the SBITS2

Numbers 1 in the SBITS3

Numbers 1 in the SBITS4

Numbers 1 in the SBIUS

Numbers 1 in the SBIVS

Numbers 1 in the SBT

Numbers 1 in the SBT1E

Numbers 1 in the SCHL

Numbers 1 in the SNT

Numbers 1 in the SUSU

Numbers 1 in the SUSU2

Numbers 1 in the SYNO

Numbers 1 in the TBIAOTANT

Numbers 1 in the TBT1E

Numbers 1 in the TBT1E2

Numbers 1 in the TFTIP

Numbers 1 in the TFTU

Numbers 1 in the TGNTATF3T

Numbers 1 in the THAI

Numbers 1 in the TNFD

Numbers 1 in the TNT

Numbers 1 in the TNTIK

Numbers 1 in the TNTIL

Numbers 1 in the TNTIN

Numbers 1 in the TNTIP

Numbers 1 in the TNTIZ

Numbers 1 in the TOMA

Numbers 1 in the TTENT

Numbers 1 in the UBG

Numbers 1 in the UGV

Numbers 1 in the UGV2

Numbers 1 in the UGV3

Numbers 1 in the VBL

Numbers 1 in the VDCC

Numbers 1 in the YALU

Numbers 1 in the YAPE

Numbers 1 in the YBVTP

Numbers 1 in the ZBP