Numbers 2 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 “Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.” 3 Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 4 Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). 5 Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 6 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). 7 Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. 8 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). 9 Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga. 10 Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 11 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500). 12 Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 13 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300). 14 Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 15 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). 16 Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse. 17 Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye. 18 Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi. 19 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). 20 Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 21 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). 22 Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni. 23 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). 24 Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse. 25 Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 26 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). 27 Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 28 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). 29 Ab’ekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani. 30 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). 31 Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri. 32 Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). 33 Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bw’atyo MUKAMA bwe yalagira Musa. 34 Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna MUKAMA Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.

In Other Versions

Numbers 2 in the ANGEFD

Numbers 2 in the ANTPNG2D

Numbers 2 in the AS21

Numbers 2 in the BAGH

Numbers 2 in the BBPNG

Numbers 2 in the BBT1E

Numbers 2 in the BDS

Numbers 2 in the BEV

Numbers 2 in the BHAD

Numbers 2 in the BIB

Numbers 2 in the BLPT

Numbers 2 in the BNT

Numbers 2 in the BNTABOOT

Numbers 2 in the BNTLV

Numbers 2 in the BOATCB

Numbers 2 in the BOATCB2

Numbers 2 in the BOBCV

Numbers 2 in the BOCNT

Numbers 2 in the BOECS

Numbers 2 in the BOGWICC

Numbers 2 in the BOHCB

Numbers 2 in the BOHCV

Numbers 2 in the BOHLNT

Numbers 2 in the BOHNTLTAL

Numbers 2 in the BOICB

Numbers 2 in the BOILNTAP

Numbers 2 in the BOITCV

Numbers 2 in the BOKCV

Numbers 2 in the BOKCV2

Numbers 2 in the BOKHWOG

Numbers 2 in the BOKSSV

Numbers 2 in the BOLCB2

Numbers 2 in the BOMCV

Numbers 2 in the BONAV

Numbers 2 in the BONCB

Numbers 2 in the BONLT

Numbers 2 in the BONUT2

Numbers 2 in the BOPLNT

Numbers 2 in the BOSCB

Numbers 2 in the BOSNC

Numbers 2 in the BOTLNT

Numbers 2 in the BOVCB

Numbers 2 in the BOYCB

Numbers 2 in the BPBB

Numbers 2 in the BPH

Numbers 2 in the BSB

Numbers 2 in the CCB

Numbers 2 in the CUV

Numbers 2 in the CUVS

Numbers 2 in the DBT

Numbers 2 in the DGDNT

Numbers 2 in the DHNT

Numbers 2 in the DNT

Numbers 2 in the ELBE

Numbers 2 in the EMTV

Numbers 2 in the ESV

Numbers 2 in the FBV

Numbers 2 in the FEB

Numbers 2 in the GGMNT

Numbers 2 in the GNT

Numbers 2 in the HARY

Numbers 2 in the HNT

Numbers 2 in the IRVA

Numbers 2 in the IRVB

Numbers 2 in the IRVG

Numbers 2 in the IRVH

Numbers 2 in the IRVK

Numbers 2 in the IRVM

Numbers 2 in the IRVM2

Numbers 2 in the IRVO

Numbers 2 in the IRVP

Numbers 2 in the IRVT

Numbers 2 in the IRVT2

Numbers 2 in the IRVU

Numbers 2 in the ISVN

Numbers 2 in the JSNT

Numbers 2 in the KAPI

Numbers 2 in the KBT1ETNIK

Numbers 2 in the KBV

Numbers 2 in the KJV

Numbers 2 in the KNFD

Numbers 2 in the LBA

Numbers 2 in the LBLA

Numbers 2 in the LNT

Numbers 2 in the LSV

Numbers 2 in the MAAL

Numbers 2 in the MBV

Numbers 2 in the MBV2

Numbers 2 in the MHNT

Numbers 2 in the MKNFD

Numbers 2 in the MNG

Numbers 2 in the MNT

Numbers 2 in the MNT2

Numbers 2 in the MRS1T

Numbers 2 in the NAA

Numbers 2 in the NASB

Numbers 2 in the NBLA

Numbers 2 in the NBS

Numbers 2 in the NBVTP

Numbers 2 in the NET2

Numbers 2 in the NIV11

Numbers 2 in the NNT

Numbers 2 in the NNT2

Numbers 2 in the NNT3

Numbers 2 in the PDDPT

Numbers 2 in the PFNT

Numbers 2 in the RMNT

Numbers 2 in the SBIAS

Numbers 2 in the SBIBS

Numbers 2 in the SBIBS2

Numbers 2 in the SBICS

Numbers 2 in the SBIDS

Numbers 2 in the SBIGS

Numbers 2 in the SBIHS

Numbers 2 in the SBIIS

Numbers 2 in the SBIIS2

Numbers 2 in the SBIIS3

Numbers 2 in the SBIKS

Numbers 2 in the SBIKS2

Numbers 2 in the SBIMS

Numbers 2 in the SBIOS

Numbers 2 in the SBIPS

Numbers 2 in the SBISS

Numbers 2 in the SBITS

Numbers 2 in the SBITS2

Numbers 2 in the SBITS3

Numbers 2 in the SBITS4

Numbers 2 in the SBIUS

Numbers 2 in the SBIVS

Numbers 2 in the SBT

Numbers 2 in the SBT1E

Numbers 2 in the SCHL

Numbers 2 in the SNT

Numbers 2 in the SUSU

Numbers 2 in the SUSU2

Numbers 2 in the SYNO

Numbers 2 in the TBIAOTANT

Numbers 2 in the TBT1E

Numbers 2 in the TBT1E2

Numbers 2 in the TFTIP

Numbers 2 in the TFTU

Numbers 2 in the TGNTATF3T

Numbers 2 in the THAI

Numbers 2 in the TNFD

Numbers 2 in the TNT

Numbers 2 in the TNTIK

Numbers 2 in the TNTIL

Numbers 2 in the TNTIN

Numbers 2 in the TNTIP

Numbers 2 in the TNTIZ

Numbers 2 in the TOMA

Numbers 2 in the TTENT

Numbers 2 in the UBG

Numbers 2 in the UGV

Numbers 2 in the UGV2

Numbers 2 in the UGV3

Numbers 2 in the VBL

Numbers 2 in the VDCC

Numbers 2 in the YALU

Numbers 2 in the YAPE

Numbers 2 in the YBVTP

Numbers 2 in the ZBP