Numbers 8 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ” 3 Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 4 Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako MUKAMA Katonda kye yalaga Musa bwe kyali. 5 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 6 “Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu. 7 Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu. 8 Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi. 9 Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya MUKAMA ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna. 10 Onooleeta Abaleevi mu maaso ga MUKAMA, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo. 11 Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri MUKAMA Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa MUKAMA. 12 “Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri MUKAMA Katonda, okutangiririra Abaleevi. 13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri MUKAMA Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 14 “Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. 15 “Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16 Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri. 17 Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange. 18 Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri. 19 Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.” 20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 21 Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri MUKAMA Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu. 22 Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa. 23 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 24 “Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; 25 naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza. 26 Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”

In Other Versions

Numbers 8 in the ANGEFD

Numbers 8 in the ANTPNG2D

Numbers 8 in the AS21

Numbers 8 in the BAGH

Numbers 8 in the BBPNG

Numbers 8 in the BBT1E

Numbers 8 in the BDS

Numbers 8 in the BEV

Numbers 8 in the BHAD

Numbers 8 in the BIB

Numbers 8 in the BLPT

Numbers 8 in the BNT

Numbers 8 in the BNTABOOT

Numbers 8 in the BNTLV

Numbers 8 in the BOATCB

Numbers 8 in the BOATCB2

Numbers 8 in the BOBCV

Numbers 8 in the BOCNT

Numbers 8 in the BOECS

Numbers 8 in the BOGWICC

Numbers 8 in the BOHCB

Numbers 8 in the BOHCV

Numbers 8 in the BOHLNT

Numbers 8 in the BOHNTLTAL

Numbers 8 in the BOICB

Numbers 8 in the BOILNTAP

Numbers 8 in the BOITCV

Numbers 8 in the BOKCV

Numbers 8 in the BOKCV2

Numbers 8 in the BOKHWOG

Numbers 8 in the BOKSSV

Numbers 8 in the BOLCB2

Numbers 8 in the BOMCV

Numbers 8 in the BONAV

Numbers 8 in the BONCB

Numbers 8 in the BONLT

Numbers 8 in the BONUT2

Numbers 8 in the BOPLNT

Numbers 8 in the BOSCB

Numbers 8 in the BOSNC

Numbers 8 in the BOTLNT

Numbers 8 in the BOVCB

Numbers 8 in the BOYCB

Numbers 8 in the BPBB

Numbers 8 in the BPH

Numbers 8 in the BSB

Numbers 8 in the CCB

Numbers 8 in the CUV

Numbers 8 in the CUVS

Numbers 8 in the DBT

Numbers 8 in the DGDNT

Numbers 8 in the DHNT

Numbers 8 in the DNT

Numbers 8 in the ELBE

Numbers 8 in the EMTV

Numbers 8 in the ESV

Numbers 8 in the FBV

Numbers 8 in the FEB

Numbers 8 in the GGMNT

Numbers 8 in the GNT

Numbers 8 in the HARY

Numbers 8 in the HNT

Numbers 8 in the IRVA

Numbers 8 in the IRVB

Numbers 8 in the IRVG

Numbers 8 in the IRVH

Numbers 8 in the IRVK

Numbers 8 in the IRVM

Numbers 8 in the IRVM2

Numbers 8 in the IRVO

Numbers 8 in the IRVP

Numbers 8 in the IRVT

Numbers 8 in the IRVT2

Numbers 8 in the IRVU

Numbers 8 in the ISVN

Numbers 8 in the JSNT

Numbers 8 in the KAPI

Numbers 8 in the KBT1ETNIK

Numbers 8 in the KBV

Numbers 8 in the KJV

Numbers 8 in the KNFD

Numbers 8 in the LBA

Numbers 8 in the LBLA

Numbers 8 in the LNT

Numbers 8 in the LSV

Numbers 8 in the MAAL

Numbers 8 in the MBV

Numbers 8 in the MBV2

Numbers 8 in the MHNT

Numbers 8 in the MKNFD

Numbers 8 in the MNG

Numbers 8 in the MNT

Numbers 8 in the MNT2

Numbers 8 in the MRS1T

Numbers 8 in the NAA

Numbers 8 in the NASB

Numbers 8 in the NBLA

Numbers 8 in the NBS

Numbers 8 in the NBVTP

Numbers 8 in the NET2

Numbers 8 in the NIV11

Numbers 8 in the NNT

Numbers 8 in the NNT2

Numbers 8 in the NNT3

Numbers 8 in the PDDPT

Numbers 8 in the PFNT

Numbers 8 in the RMNT

Numbers 8 in the SBIAS

Numbers 8 in the SBIBS

Numbers 8 in the SBIBS2

Numbers 8 in the SBICS

Numbers 8 in the SBIDS

Numbers 8 in the SBIGS

Numbers 8 in the SBIHS

Numbers 8 in the SBIIS

Numbers 8 in the SBIIS2

Numbers 8 in the SBIIS3

Numbers 8 in the SBIKS

Numbers 8 in the SBIKS2

Numbers 8 in the SBIMS

Numbers 8 in the SBIOS

Numbers 8 in the SBIPS

Numbers 8 in the SBISS

Numbers 8 in the SBITS

Numbers 8 in the SBITS2

Numbers 8 in the SBITS3

Numbers 8 in the SBITS4

Numbers 8 in the SBIUS

Numbers 8 in the SBIVS

Numbers 8 in the SBT

Numbers 8 in the SBT1E

Numbers 8 in the SCHL

Numbers 8 in the SNT

Numbers 8 in the SUSU

Numbers 8 in the SUSU2

Numbers 8 in the SYNO

Numbers 8 in the TBIAOTANT

Numbers 8 in the TBT1E

Numbers 8 in the TBT1E2

Numbers 8 in the TFTIP

Numbers 8 in the TFTU

Numbers 8 in the TGNTATF3T

Numbers 8 in the THAI

Numbers 8 in the TNFD

Numbers 8 in the TNT

Numbers 8 in the TNTIK

Numbers 8 in the TNTIL

Numbers 8 in the TNTIN

Numbers 8 in the TNTIP

Numbers 8 in the TNTIZ

Numbers 8 in the TOMA

Numbers 8 in the TTENT

Numbers 8 in the UBG

Numbers 8 in the UGV

Numbers 8 in the UGV2

Numbers 8 in the UGV3

Numbers 8 in the VBL

Numbers 8 in the VDCC

Numbers 8 in the YALU

Numbers 8 in the YAPE

Numbers 8 in the YBVTP

Numbers 8 in the ZBP