Numbers 9 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti, 2 “Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa. 3 Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.” 4 Bw’atyo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako; 5 era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga MUKAMA bwe yalagira Musa. 6 Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini, 7 ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera MUKAMA ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?” 8 Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya MUKAMA Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.” 9 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 10 “Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya MUKAMA Katonda. 11 Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa. 12 Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira. 13 Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya MUKAMA Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe. 14 “ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa MUKAMA Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ” 15 Ku lunaku Weema ya MUKAMA ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro. 16 Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro. 17 Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira. 18 MUKAMA bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; MUKAMA bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe. 19 Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya MUKAMA Katonda ne batasitula kutambula. 20 Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya MUKAMA Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya MUKAMA Katonda bwe kyabanga. 21 Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula. 22 Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula. 23 MUKAMA bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate MUKAMA bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya MUKAMA nga bwe yalagira Musa.

In Other Versions

Numbers 9 in the ANGEFD

Numbers 9 in the ANTPNG2D

Numbers 9 in the AS21

Numbers 9 in the BAGH

Numbers 9 in the BBPNG

Numbers 9 in the BBT1E

Numbers 9 in the BDS

Numbers 9 in the BEV

Numbers 9 in the BHAD

Numbers 9 in the BIB

Numbers 9 in the BLPT

Numbers 9 in the BNT

Numbers 9 in the BNTABOOT

Numbers 9 in the BNTLV

Numbers 9 in the BOATCB

Numbers 9 in the BOATCB2

Numbers 9 in the BOBCV

Numbers 9 in the BOCNT

Numbers 9 in the BOECS

Numbers 9 in the BOGWICC

Numbers 9 in the BOHCB

Numbers 9 in the BOHCV

Numbers 9 in the BOHLNT

Numbers 9 in the BOHNTLTAL

Numbers 9 in the BOICB

Numbers 9 in the BOILNTAP

Numbers 9 in the BOITCV

Numbers 9 in the BOKCV

Numbers 9 in the BOKCV2

Numbers 9 in the BOKHWOG

Numbers 9 in the BOKSSV

Numbers 9 in the BOLCB2

Numbers 9 in the BOMCV

Numbers 9 in the BONAV

Numbers 9 in the BONCB

Numbers 9 in the BONLT

Numbers 9 in the BONUT2

Numbers 9 in the BOPLNT

Numbers 9 in the BOSCB

Numbers 9 in the BOSNC

Numbers 9 in the BOTLNT

Numbers 9 in the BOVCB

Numbers 9 in the BOYCB

Numbers 9 in the BPBB

Numbers 9 in the BPH

Numbers 9 in the BSB

Numbers 9 in the CCB

Numbers 9 in the CUV

Numbers 9 in the CUVS

Numbers 9 in the DBT

Numbers 9 in the DGDNT

Numbers 9 in the DHNT

Numbers 9 in the DNT

Numbers 9 in the ELBE

Numbers 9 in the EMTV

Numbers 9 in the ESV

Numbers 9 in the FBV

Numbers 9 in the FEB

Numbers 9 in the GGMNT

Numbers 9 in the GNT

Numbers 9 in the HARY

Numbers 9 in the HNT

Numbers 9 in the IRVA

Numbers 9 in the IRVB

Numbers 9 in the IRVG

Numbers 9 in the IRVH

Numbers 9 in the IRVK

Numbers 9 in the IRVM

Numbers 9 in the IRVM2

Numbers 9 in the IRVO

Numbers 9 in the IRVP

Numbers 9 in the IRVT

Numbers 9 in the IRVT2

Numbers 9 in the IRVU

Numbers 9 in the ISVN

Numbers 9 in the JSNT

Numbers 9 in the KAPI

Numbers 9 in the KBT1ETNIK

Numbers 9 in the KBV

Numbers 9 in the KJV

Numbers 9 in the KNFD

Numbers 9 in the LBA

Numbers 9 in the LBLA

Numbers 9 in the LNT

Numbers 9 in the LSV

Numbers 9 in the MAAL

Numbers 9 in the MBV

Numbers 9 in the MBV2

Numbers 9 in the MHNT

Numbers 9 in the MKNFD

Numbers 9 in the MNG

Numbers 9 in the MNT

Numbers 9 in the MNT2

Numbers 9 in the MRS1T

Numbers 9 in the NAA

Numbers 9 in the NASB

Numbers 9 in the NBLA

Numbers 9 in the NBS

Numbers 9 in the NBVTP

Numbers 9 in the NET2

Numbers 9 in the NIV11

Numbers 9 in the NNT

Numbers 9 in the NNT2

Numbers 9 in the NNT3

Numbers 9 in the PDDPT

Numbers 9 in the PFNT

Numbers 9 in the RMNT

Numbers 9 in the SBIAS

Numbers 9 in the SBIBS

Numbers 9 in the SBIBS2

Numbers 9 in the SBICS

Numbers 9 in the SBIDS

Numbers 9 in the SBIGS

Numbers 9 in the SBIHS

Numbers 9 in the SBIIS

Numbers 9 in the SBIIS2

Numbers 9 in the SBIIS3

Numbers 9 in the SBIKS

Numbers 9 in the SBIKS2

Numbers 9 in the SBIMS

Numbers 9 in the SBIOS

Numbers 9 in the SBIPS

Numbers 9 in the SBISS

Numbers 9 in the SBITS

Numbers 9 in the SBITS2

Numbers 9 in the SBITS3

Numbers 9 in the SBITS4

Numbers 9 in the SBIUS

Numbers 9 in the SBIVS

Numbers 9 in the SBT

Numbers 9 in the SBT1E

Numbers 9 in the SCHL

Numbers 9 in the SNT

Numbers 9 in the SUSU

Numbers 9 in the SUSU2

Numbers 9 in the SYNO

Numbers 9 in the TBIAOTANT

Numbers 9 in the TBT1E

Numbers 9 in the TBT1E2

Numbers 9 in the TFTIP

Numbers 9 in the TFTU

Numbers 9 in the TGNTATF3T

Numbers 9 in the THAI

Numbers 9 in the TNFD

Numbers 9 in the TNT

Numbers 9 in the TNTIK

Numbers 9 in the TNTIL

Numbers 9 in the TNTIN

Numbers 9 in the TNTIP

Numbers 9 in the TNTIZ

Numbers 9 in the TOMA

Numbers 9 in the TTENT

Numbers 9 in the UBG

Numbers 9 in the UGV

Numbers 9 in the UGV2

Numbers 9 in the UGV3

Numbers 9 in the VBL

Numbers 9 in the VDCC

Numbers 9 in the YALU

Numbers 9 in the YAPE

Numbers 9 in the YBVTP

Numbers 9 in the ZBP