Proverbs 23 (BOLCB)
1 Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,weetegerezanga ebiri mu maaso go; 2 era weegenderezebw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya. 3 Tolulunkanira mmere ye ennungi,kubanga erimbalimba. 4 Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;weefuge obeere mukkakkamu. 5 Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,kubanga ddala bimera ebiwaawaatirone bibuuka mu bbanga ng’empungu. 6 Tolyanga mmere ya muntu mukodo,wadde okwegomba ebirungi by’alya. 7 Kubanga ye muntuabalirira ensimbi z’asaasaanyizza,n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”naye ng’omutima gwe tegukusanyukira. 8 Akatono k’onooba olidde onookasesema,ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere. 9 Totegana kubuulirira musirusiru,kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi. 10 Tojjululanga nsalo ey’edda,so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa, 11 kubanga abalwanirira w’amaanyi,alikuggulako omusango. 12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera. 13 Tolekangayo kukangavvula mwana,bw’omubonereza n’akaggo tekimutta. 14 Mubonerezenga n’akaggo,kiwonye emmeeme ye okufa. 15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,kinsanyusa. 16 Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,bw’onooyogeranga ebituufu. 17 Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,kyokka nyiikira okutya MUKAMA ebbanga lyonna. 18 Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,n’essuubi lyo eryo teririggwaawo. 19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu. 20 Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,n’abalulunkanira ennyama: 21 Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,n’okubongoota olutata kubambaza enziina. 22 Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,so togayanga nnyoko ng’akaddiye. 23 Gula amazima so togatunda,ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera. 24 Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu. 25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,omukazi eyakuzaala ajaguzenga. 26 Mwana wange mpa omutima gwo,n’amaaso go geekalirize amakubo gange, 27 kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda. 28 Ateega ng’omutemu,n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe. 29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso? 30 Abo abatava ku mwenge,nga bagenda baloza ku mwenge omutabule. 31 Totunuulira wayini ng’amyuse,bw’atemaganira mu ggiraasing’akka empolampola; 32 ku nkomerero aluma ng’omusota,wa busagwa ng’essalambwa. 33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka. 34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti. 35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.Nnaazuukuka ddi,neeyongere okunywa?”
In Other Versions
Proverbs 23 in the ANGEFD
Proverbs 23 in the ANTPNG2D
Proverbs 23 in the AS21
Proverbs 23 in the BAGH
Proverbs 23 in the BBPNG
Proverbs 23 in the BBT1E
Proverbs 23 in the BDS
Proverbs 23 in the BEV
Proverbs 23 in the BHAD
Proverbs 23 in the BIB
Proverbs 23 in the BLPT
Proverbs 23 in the BNT
Proverbs 23 in the BNTABOOT
Proverbs 23 in the BNTLV
Proverbs 23 in the BOATCB
Proverbs 23 in the BOATCB2
Proverbs 23 in the BOBCV
Proverbs 23 in the BOCNT
Proverbs 23 in the BOECS
Proverbs 23 in the BOGWICC
Proverbs 23 in the BOHCB
Proverbs 23 in the BOHCV
Proverbs 23 in the BOHLNT
Proverbs 23 in the BOHNTLTAL
Proverbs 23 in the BOICB
Proverbs 23 in the BOILNTAP
Proverbs 23 in the BOITCV
Proverbs 23 in the BOKCV
Proverbs 23 in the BOKCV2
Proverbs 23 in the BOKHWOG
Proverbs 23 in the BOKSSV
Proverbs 23 in the BOLCB2
Proverbs 23 in the BOMCV
Proverbs 23 in the BONAV
Proverbs 23 in the BONCB
Proverbs 23 in the BONLT
Proverbs 23 in the BONUT2
Proverbs 23 in the BOPLNT
Proverbs 23 in the BOSCB
Proverbs 23 in the BOSNC
Proverbs 23 in the BOTLNT
Proverbs 23 in the BOVCB
Proverbs 23 in the BOYCB
Proverbs 23 in the BPBB
Proverbs 23 in the BPH
Proverbs 23 in the BSB
Proverbs 23 in the CCB
Proverbs 23 in the CUV
Proverbs 23 in the CUVS
Proverbs 23 in the DBT
Proverbs 23 in the DGDNT
Proverbs 23 in the DHNT
Proverbs 23 in the DNT
Proverbs 23 in the ELBE
Proverbs 23 in the EMTV
Proverbs 23 in the ESV
Proverbs 23 in the FBV
Proverbs 23 in the FEB
Proverbs 23 in the GGMNT
Proverbs 23 in the GNT
Proverbs 23 in the HARY
Proverbs 23 in the HNT
Proverbs 23 in the IRVA
Proverbs 23 in the IRVB
Proverbs 23 in the IRVG
Proverbs 23 in the IRVH
Proverbs 23 in the IRVK
Proverbs 23 in the IRVM
Proverbs 23 in the IRVM2
Proverbs 23 in the IRVO
Proverbs 23 in the IRVP
Proverbs 23 in the IRVT
Proverbs 23 in the IRVT2
Proverbs 23 in the IRVU
Proverbs 23 in the ISVN
Proverbs 23 in the JSNT
Proverbs 23 in the KAPI
Proverbs 23 in the KBT1ETNIK
Proverbs 23 in the KBV
Proverbs 23 in the KJV
Proverbs 23 in the KNFD
Proverbs 23 in the LBA
Proverbs 23 in the LBLA
Proverbs 23 in the LNT
Proverbs 23 in the LSV
Proverbs 23 in the MAAL
Proverbs 23 in the MBV
Proverbs 23 in the MBV2
Proverbs 23 in the MHNT
Proverbs 23 in the MKNFD
Proverbs 23 in the MNG
Proverbs 23 in the MNT
Proverbs 23 in the MNT2
Proverbs 23 in the MRS1T
Proverbs 23 in the NAA
Proverbs 23 in the NASB
Proverbs 23 in the NBLA
Proverbs 23 in the NBS
Proverbs 23 in the NBVTP
Proverbs 23 in the NET2
Proverbs 23 in the NIV11
Proverbs 23 in the NNT
Proverbs 23 in the NNT2
Proverbs 23 in the NNT3
Proverbs 23 in the PDDPT
Proverbs 23 in the PFNT
Proverbs 23 in the RMNT
Proverbs 23 in the SBIAS
Proverbs 23 in the SBIBS
Proverbs 23 in the SBIBS2
Proverbs 23 in the SBICS
Proverbs 23 in the SBIDS
Proverbs 23 in the SBIGS
Proverbs 23 in the SBIHS
Proverbs 23 in the SBIIS
Proverbs 23 in the SBIIS2
Proverbs 23 in the SBIIS3
Proverbs 23 in the SBIKS
Proverbs 23 in the SBIKS2
Proverbs 23 in the SBIMS
Proverbs 23 in the SBIOS
Proverbs 23 in the SBIPS
Proverbs 23 in the SBISS
Proverbs 23 in the SBITS
Proverbs 23 in the SBITS2
Proverbs 23 in the SBITS3
Proverbs 23 in the SBITS4
Proverbs 23 in the SBIUS
Proverbs 23 in the SBIVS
Proverbs 23 in the SBT
Proverbs 23 in the SBT1E
Proverbs 23 in the SCHL
Proverbs 23 in the SNT
Proverbs 23 in the SUSU
Proverbs 23 in the SUSU2
Proverbs 23 in the SYNO
Proverbs 23 in the TBIAOTANT
Proverbs 23 in the TBT1E
Proverbs 23 in the TBT1E2
Proverbs 23 in the TFTIP
Proverbs 23 in the TFTU
Proverbs 23 in the TGNTATF3T
Proverbs 23 in the THAI
Proverbs 23 in the TNFD
Proverbs 23 in the TNT
Proverbs 23 in the TNTIK
Proverbs 23 in the TNTIL
Proverbs 23 in the TNTIN
Proverbs 23 in the TNTIP
Proverbs 23 in the TNTIZ
Proverbs 23 in the TOMA
Proverbs 23 in the TTENT
Proverbs 23 in the UBG
Proverbs 23 in the UGV
Proverbs 23 in the UGV2
Proverbs 23 in the UGV3
Proverbs 23 in the VBL
Proverbs 23 in the VDCC
Proverbs 23 in the YALU
Proverbs 23 in the YAPE
Proverbs 23 in the YBVTP
Proverbs 23 in the ZBP