Proverbs 24 (BOLCB)
1 Teweegombanga bakozi ba bibiera tobeesemberezanga. 2 Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo. 3 Amagezi ge gazimba ennyumba,n’okutegeera kwe kugiggumiza. 4 Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi. 5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi. 6 Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi. 7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki. 8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,aliyitibwa mukujjukujju. 9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,abantu beetamwa omukudaazi. 10 Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,olwo ng’olina amaanyi matono! 11 Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage. 12 Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”oyo akebera emitima aba talaba?Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli? 13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera. 14 Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,n’essuubi lyo teririkoma. 15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,tonyaganga maka ge. 16 Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana. 17 Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza. 18 Si kulwa nga MUKAMA akiraba ne kitamusanyusa,n’amusunguwalira. 19 Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya. 20 Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa. 21 Mwana wange otyanga MUKAMA, ne kabaka,era teweetabanga na bajeemu. 22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemuera ani amaanyi akabi akalibatuukako? 23 Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi. 24 Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga. 25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,n’omukisa omulungi gulibatuukako. 26 Eky’okuddamu eky’amazima,kiri ng’okunywegerwa. 27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,oteeketeeke ennimiro zo,n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo. 28 Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,so akamwa ko tekalimbanga. 29 Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,era ndimusasuza nga bw’ampisizza.” 30 Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera. 31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde. 32 Ne neekaliriza ne ntegeerane nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba. 33 Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,n’okufunya emikono okuwummulako, 34 obwavu bulikutuukako ng’omutemu,era n’obwetaavu ng’omutemu.
In Other Versions
Proverbs 24 in the ANGEFD
Proverbs 24 in the ANTPNG2D
Proverbs 24 in the AS21
Proverbs 24 in the BAGH
Proverbs 24 in the BBPNG
Proverbs 24 in the BBT1E
Proverbs 24 in the BDS
Proverbs 24 in the BEV
Proverbs 24 in the BHAD
Proverbs 24 in the BIB
Proverbs 24 in the BLPT
Proverbs 24 in the BNT
Proverbs 24 in the BNTABOOT
Proverbs 24 in the BNTLV
Proverbs 24 in the BOATCB
Proverbs 24 in the BOATCB2
Proverbs 24 in the BOBCV
Proverbs 24 in the BOCNT
Proverbs 24 in the BOECS
Proverbs 24 in the BOGWICC
Proverbs 24 in the BOHCB
Proverbs 24 in the BOHCV
Proverbs 24 in the BOHLNT
Proverbs 24 in the BOHNTLTAL
Proverbs 24 in the BOICB
Proverbs 24 in the BOILNTAP
Proverbs 24 in the BOITCV
Proverbs 24 in the BOKCV
Proverbs 24 in the BOKCV2
Proverbs 24 in the BOKHWOG
Proverbs 24 in the BOKSSV
Proverbs 24 in the BOLCB2
Proverbs 24 in the BOMCV
Proverbs 24 in the BONAV
Proverbs 24 in the BONCB
Proverbs 24 in the BONLT
Proverbs 24 in the BONUT2
Proverbs 24 in the BOPLNT
Proverbs 24 in the BOSCB
Proverbs 24 in the BOSNC
Proverbs 24 in the BOTLNT
Proverbs 24 in the BOVCB
Proverbs 24 in the BOYCB
Proverbs 24 in the BPBB
Proverbs 24 in the BPH
Proverbs 24 in the BSB
Proverbs 24 in the CCB
Proverbs 24 in the CUV
Proverbs 24 in the CUVS
Proverbs 24 in the DBT
Proverbs 24 in the DGDNT
Proverbs 24 in the DHNT
Proverbs 24 in the DNT
Proverbs 24 in the ELBE
Proverbs 24 in the EMTV
Proverbs 24 in the ESV
Proverbs 24 in the FBV
Proverbs 24 in the FEB
Proverbs 24 in the GGMNT
Proverbs 24 in the GNT
Proverbs 24 in the HARY
Proverbs 24 in the HNT
Proverbs 24 in the IRVA
Proverbs 24 in the IRVB
Proverbs 24 in the IRVG
Proverbs 24 in the IRVH
Proverbs 24 in the IRVK
Proverbs 24 in the IRVM
Proverbs 24 in the IRVM2
Proverbs 24 in the IRVO
Proverbs 24 in the IRVP
Proverbs 24 in the IRVT
Proverbs 24 in the IRVT2
Proverbs 24 in the IRVU
Proverbs 24 in the ISVN
Proverbs 24 in the JSNT
Proverbs 24 in the KAPI
Proverbs 24 in the KBT1ETNIK
Proverbs 24 in the KBV
Proverbs 24 in the KJV
Proverbs 24 in the KNFD
Proverbs 24 in the LBA
Proverbs 24 in the LBLA
Proverbs 24 in the LNT
Proverbs 24 in the LSV
Proverbs 24 in the MAAL
Proverbs 24 in the MBV
Proverbs 24 in the MBV2
Proverbs 24 in the MHNT
Proverbs 24 in the MKNFD
Proverbs 24 in the MNG
Proverbs 24 in the MNT
Proverbs 24 in the MNT2
Proverbs 24 in the MRS1T
Proverbs 24 in the NAA
Proverbs 24 in the NASB
Proverbs 24 in the NBLA
Proverbs 24 in the NBS
Proverbs 24 in the NBVTP
Proverbs 24 in the NET2
Proverbs 24 in the NIV11
Proverbs 24 in the NNT
Proverbs 24 in the NNT2
Proverbs 24 in the NNT3
Proverbs 24 in the PDDPT
Proverbs 24 in the PFNT
Proverbs 24 in the RMNT
Proverbs 24 in the SBIAS
Proverbs 24 in the SBIBS
Proverbs 24 in the SBIBS2
Proverbs 24 in the SBICS
Proverbs 24 in the SBIDS
Proverbs 24 in the SBIGS
Proverbs 24 in the SBIHS
Proverbs 24 in the SBIIS
Proverbs 24 in the SBIIS2
Proverbs 24 in the SBIIS3
Proverbs 24 in the SBIKS
Proverbs 24 in the SBIKS2
Proverbs 24 in the SBIMS
Proverbs 24 in the SBIOS
Proverbs 24 in the SBIPS
Proverbs 24 in the SBISS
Proverbs 24 in the SBITS
Proverbs 24 in the SBITS2
Proverbs 24 in the SBITS3
Proverbs 24 in the SBITS4
Proverbs 24 in the SBIUS
Proverbs 24 in the SBIVS
Proverbs 24 in the SBT
Proverbs 24 in the SBT1E
Proverbs 24 in the SCHL
Proverbs 24 in the SNT
Proverbs 24 in the SUSU
Proverbs 24 in the SUSU2
Proverbs 24 in the SYNO
Proverbs 24 in the TBIAOTANT
Proverbs 24 in the TBT1E
Proverbs 24 in the TBT1E2
Proverbs 24 in the TFTIP
Proverbs 24 in the TFTU
Proverbs 24 in the TGNTATF3T
Proverbs 24 in the THAI
Proverbs 24 in the TNFD
Proverbs 24 in the TNT
Proverbs 24 in the TNTIK
Proverbs 24 in the TNTIL
Proverbs 24 in the TNTIN
Proverbs 24 in the TNTIP
Proverbs 24 in the TNTIZ
Proverbs 24 in the TOMA
Proverbs 24 in the TTENT
Proverbs 24 in the UBG
Proverbs 24 in the UGV
Proverbs 24 in the UGV2
Proverbs 24 in the UGV3
Proverbs 24 in the VBL
Proverbs 24 in the VDCC
Proverbs 24 in the YALU
Proverbs 24 in the YAPE
Proverbs 24 in the YBVTP
Proverbs 24 in the ZBP