Proverbs 28 (BOLCB)
1 Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma. 2 Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi. 3 Omufuzi anyigiriza abaavu,afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime. 4 Abo abava ku mateeka ga MUKAMA batendereza aboonoonyi,naye abo abagakuuma babawakanya. 5 Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,naye abo abanoonya MUKAMA babutegeerera ddala bulungi. 6 Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,asinga omugagga ow’amakubo amakyamu. 7 Oyo akuuma amateeka ga MUKAMA mwana eyeegendereza,naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi. 8 Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu. 9 Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga MUKAMA,n’okusaba kwe tekukkirizibwa. 10 Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,aligwa mu katego ke ye,naye abatuukirivu balisikira ebirungi. 11 Omugagga alowooza nti mugezi,naye omwavu alina okutegeera, amunyooma. 12 Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka. 13 Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa. 14 Alina omukisa omuntu atya MUKAMA ebbanga lyonna,naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona. 15 Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola. 16 Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi. 17 Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,alibeera mu kutegana okutuusa okufa,tewabanga n’omu amuyamba. 18 Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo. 19 Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu. 20 Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa. 21 Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango. 22 Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde. 23 Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,okusinga oyo awaaniriza n’olulimi. 24 Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza. 25 Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,naye oyo eyeesiga MUKAMA aligaggawazibwa. 26 Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe. 27 Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi. 28 Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.
In Other Versions
Proverbs 28 in the ANGEFD
Proverbs 28 in the ANTPNG2D
Proverbs 28 in the AS21
Proverbs 28 in the BAGH
Proverbs 28 in the BBPNG
Proverbs 28 in the BBT1E
Proverbs 28 in the BDS
Proverbs 28 in the BEV
Proverbs 28 in the BHAD
Proverbs 28 in the BIB
Proverbs 28 in the BLPT
Proverbs 28 in the BNT
Proverbs 28 in the BNTABOOT
Proverbs 28 in the BNTLV
Proverbs 28 in the BOATCB
Proverbs 28 in the BOATCB2
Proverbs 28 in the BOBCV
Proverbs 28 in the BOCNT
Proverbs 28 in the BOECS
Proverbs 28 in the BOGWICC
Proverbs 28 in the BOHCB
Proverbs 28 in the BOHCV
Proverbs 28 in the BOHLNT
Proverbs 28 in the BOHNTLTAL
Proverbs 28 in the BOICB
Proverbs 28 in the BOILNTAP
Proverbs 28 in the BOITCV
Proverbs 28 in the BOKCV
Proverbs 28 in the BOKCV2
Proverbs 28 in the BOKHWOG
Proverbs 28 in the BOKSSV
Proverbs 28 in the BOLCB2
Proverbs 28 in the BOMCV
Proverbs 28 in the BONAV
Proverbs 28 in the BONCB
Proverbs 28 in the BONLT
Proverbs 28 in the BONUT2
Proverbs 28 in the BOPLNT
Proverbs 28 in the BOSCB
Proverbs 28 in the BOSNC
Proverbs 28 in the BOTLNT
Proverbs 28 in the BOVCB
Proverbs 28 in the BOYCB
Proverbs 28 in the BPBB
Proverbs 28 in the BPH
Proverbs 28 in the BSB
Proverbs 28 in the CCB
Proverbs 28 in the CUV
Proverbs 28 in the CUVS
Proverbs 28 in the DBT
Proverbs 28 in the DGDNT
Proverbs 28 in the DHNT
Proverbs 28 in the DNT
Proverbs 28 in the ELBE
Proverbs 28 in the EMTV
Proverbs 28 in the ESV
Proverbs 28 in the FBV
Proverbs 28 in the FEB
Proverbs 28 in the GGMNT
Proverbs 28 in the GNT
Proverbs 28 in the HARY
Proverbs 28 in the HNT
Proverbs 28 in the IRVA
Proverbs 28 in the IRVB
Proverbs 28 in the IRVG
Proverbs 28 in the IRVH
Proverbs 28 in the IRVK
Proverbs 28 in the IRVM
Proverbs 28 in the IRVM2
Proverbs 28 in the IRVO
Proverbs 28 in the IRVP
Proverbs 28 in the IRVT
Proverbs 28 in the IRVT2
Proverbs 28 in the IRVU
Proverbs 28 in the ISVN
Proverbs 28 in the JSNT
Proverbs 28 in the KAPI
Proverbs 28 in the KBT1ETNIK
Proverbs 28 in the KBV
Proverbs 28 in the KJV
Proverbs 28 in the KNFD
Proverbs 28 in the LBA
Proverbs 28 in the LBLA
Proverbs 28 in the LNT
Proverbs 28 in the LSV
Proverbs 28 in the MAAL
Proverbs 28 in the MBV
Proverbs 28 in the MBV2
Proverbs 28 in the MHNT
Proverbs 28 in the MKNFD
Proverbs 28 in the MNG
Proverbs 28 in the MNT
Proverbs 28 in the MNT2
Proverbs 28 in the MRS1T
Proverbs 28 in the NAA
Proverbs 28 in the NASB
Proverbs 28 in the NBLA
Proverbs 28 in the NBS
Proverbs 28 in the NBVTP
Proverbs 28 in the NET2
Proverbs 28 in the NIV11
Proverbs 28 in the NNT
Proverbs 28 in the NNT2
Proverbs 28 in the NNT3
Proverbs 28 in the PDDPT
Proverbs 28 in the PFNT
Proverbs 28 in the RMNT
Proverbs 28 in the SBIAS
Proverbs 28 in the SBIBS
Proverbs 28 in the SBIBS2
Proverbs 28 in the SBICS
Proverbs 28 in the SBIDS
Proverbs 28 in the SBIGS
Proverbs 28 in the SBIHS
Proverbs 28 in the SBIIS
Proverbs 28 in the SBIIS2
Proverbs 28 in the SBIIS3
Proverbs 28 in the SBIKS
Proverbs 28 in the SBIKS2
Proverbs 28 in the SBIMS
Proverbs 28 in the SBIOS
Proverbs 28 in the SBIPS
Proverbs 28 in the SBISS
Proverbs 28 in the SBITS
Proverbs 28 in the SBITS2
Proverbs 28 in the SBITS3
Proverbs 28 in the SBITS4
Proverbs 28 in the SBIUS
Proverbs 28 in the SBIVS
Proverbs 28 in the SBT
Proverbs 28 in the SBT1E
Proverbs 28 in the SCHL
Proverbs 28 in the SNT
Proverbs 28 in the SUSU
Proverbs 28 in the SUSU2
Proverbs 28 in the SYNO
Proverbs 28 in the TBIAOTANT
Proverbs 28 in the TBT1E
Proverbs 28 in the TBT1E2
Proverbs 28 in the TFTIP
Proverbs 28 in the TFTU
Proverbs 28 in the TGNTATF3T
Proverbs 28 in the THAI
Proverbs 28 in the TNFD
Proverbs 28 in the TNT
Proverbs 28 in the TNTIK
Proverbs 28 in the TNTIL
Proverbs 28 in the TNTIN
Proverbs 28 in the TNTIP
Proverbs 28 in the TNTIZ
Proverbs 28 in the TOMA
Proverbs 28 in the TTENT
Proverbs 28 in the UBG
Proverbs 28 in the UGV
Proverbs 28 in the UGV2
Proverbs 28 in the UGV3
Proverbs 28 in the VBL
Proverbs 28 in the VDCC
Proverbs 28 in the YALU
Proverbs 28 in the YAPE
Proverbs 28 in the YBVTP
Proverbs 28 in the ZBP