Proverbs 4 (BOLCB)
1 Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,era musseeyo omwoyo mufune okutegeera. 2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;temulekanga biragiro byange. 3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange, 4 yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,kuuma ebiragiro byange obeere mulamu. 5 Funa amagezi; funa okutegeera,teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange. 6 Togalekanga, nago ganaakukuumanga,gaagale nago ganaakulabiriranga. 7 Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera. 8 Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa. 9 Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.” 10 Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byangeolyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi. 11 Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu. 12 Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala. 13 Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo. 14 Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi. 15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,liveeko okwate ekkubo lyo. 16 Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe. 17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe. 18 Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala. 19 Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,tebamanyi kibaleetera kwesittala. 20 Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza; 21 ebigambo bino tebikuvangako,bikuumire ddala mu mutima gwo, 22 kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,era biwonya omubiri gwabwe gwonna. 23 Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,kubanga y’ensulo y’obulamu bwo. 24 Weewalire ddala eby’obubambavuera n’okwogera ebya swakaba. 25 Amaaso go gatunulenga butereevu,era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga. 26 Ttereeza bulungi amakubo go;okwate amakubo ageesigika gokka. 27 Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
In Other Versions
Proverbs 4 in the ANGEFD
Proverbs 4 in the ANTPNG2D
Proverbs 4 in the AS21
Proverbs 4 in the BAGH
Proverbs 4 in the BBPNG
Proverbs 4 in the BBT1E
Proverbs 4 in the BDS
Proverbs 4 in the BEV
Proverbs 4 in the BHAD
Proverbs 4 in the BIB
Proverbs 4 in the BLPT
Proverbs 4 in the BNT
Proverbs 4 in the BNTABOOT
Proverbs 4 in the BNTLV
Proverbs 4 in the BOATCB
Proverbs 4 in the BOATCB2
Proverbs 4 in the BOBCV
Proverbs 4 in the BOCNT
Proverbs 4 in the BOECS
Proverbs 4 in the BOGWICC
Proverbs 4 in the BOHCB
Proverbs 4 in the BOHCV
Proverbs 4 in the BOHLNT
Proverbs 4 in the BOHNTLTAL
Proverbs 4 in the BOICB
Proverbs 4 in the BOILNTAP
Proverbs 4 in the BOITCV
Proverbs 4 in the BOKCV
Proverbs 4 in the BOKCV2
Proverbs 4 in the BOKHWOG
Proverbs 4 in the BOKSSV
Proverbs 4 in the BOLCB2
Proverbs 4 in the BOMCV
Proverbs 4 in the BONAV
Proverbs 4 in the BONCB
Proverbs 4 in the BONLT
Proverbs 4 in the BONUT2
Proverbs 4 in the BOPLNT
Proverbs 4 in the BOSCB
Proverbs 4 in the BOSNC
Proverbs 4 in the BOTLNT
Proverbs 4 in the BOVCB
Proverbs 4 in the BOYCB
Proverbs 4 in the BPBB
Proverbs 4 in the BPH
Proverbs 4 in the BSB
Proverbs 4 in the CCB
Proverbs 4 in the CUV
Proverbs 4 in the CUVS
Proverbs 4 in the DBT
Proverbs 4 in the DGDNT
Proverbs 4 in the DHNT
Proverbs 4 in the DNT
Proverbs 4 in the ELBE
Proverbs 4 in the EMTV
Proverbs 4 in the ESV
Proverbs 4 in the FBV
Proverbs 4 in the FEB
Proverbs 4 in the GGMNT
Proverbs 4 in the GNT
Proverbs 4 in the HARY
Proverbs 4 in the HNT
Proverbs 4 in the IRVA
Proverbs 4 in the IRVB
Proverbs 4 in the IRVG
Proverbs 4 in the IRVH
Proverbs 4 in the IRVK
Proverbs 4 in the IRVM
Proverbs 4 in the IRVM2
Proverbs 4 in the IRVO
Proverbs 4 in the IRVP
Proverbs 4 in the IRVT
Proverbs 4 in the IRVT2
Proverbs 4 in the IRVU
Proverbs 4 in the ISVN
Proverbs 4 in the JSNT
Proverbs 4 in the KAPI
Proverbs 4 in the KBT1ETNIK
Proverbs 4 in the KBV
Proverbs 4 in the KJV
Proverbs 4 in the KNFD
Proverbs 4 in the LBA
Proverbs 4 in the LBLA
Proverbs 4 in the LNT
Proverbs 4 in the LSV
Proverbs 4 in the MAAL
Proverbs 4 in the MBV
Proverbs 4 in the MBV2
Proverbs 4 in the MHNT
Proverbs 4 in the MKNFD
Proverbs 4 in the MNG
Proverbs 4 in the MNT
Proverbs 4 in the MNT2
Proverbs 4 in the MRS1T
Proverbs 4 in the NAA
Proverbs 4 in the NASB
Proverbs 4 in the NBLA
Proverbs 4 in the NBS
Proverbs 4 in the NBVTP
Proverbs 4 in the NET2
Proverbs 4 in the NIV11
Proverbs 4 in the NNT
Proverbs 4 in the NNT2
Proverbs 4 in the NNT3
Proverbs 4 in the PDDPT
Proverbs 4 in the PFNT
Proverbs 4 in the RMNT
Proverbs 4 in the SBIAS
Proverbs 4 in the SBIBS
Proverbs 4 in the SBIBS2
Proverbs 4 in the SBICS
Proverbs 4 in the SBIDS
Proverbs 4 in the SBIGS
Proverbs 4 in the SBIHS
Proverbs 4 in the SBIIS
Proverbs 4 in the SBIIS2
Proverbs 4 in the SBIIS3
Proverbs 4 in the SBIKS
Proverbs 4 in the SBIKS2
Proverbs 4 in the SBIMS
Proverbs 4 in the SBIOS
Proverbs 4 in the SBIPS
Proverbs 4 in the SBISS
Proverbs 4 in the SBITS
Proverbs 4 in the SBITS2
Proverbs 4 in the SBITS3
Proverbs 4 in the SBITS4
Proverbs 4 in the SBIUS
Proverbs 4 in the SBIVS
Proverbs 4 in the SBT
Proverbs 4 in the SBT1E
Proverbs 4 in the SCHL
Proverbs 4 in the SNT
Proverbs 4 in the SUSU
Proverbs 4 in the SUSU2
Proverbs 4 in the SYNO
Proverbs 4 in the TBIAOTANT
Proverbs 4 in the TBT1E
Proverbs 4 in the TBT1E2
Proverbs 4 in the TFTIP
Proverbs 4 in the TFTU
Proverbs 4 in the TGNTATF3T
Proverbs 4 in the THAI
Proverbs 4 in the TNFD
Proverbs 4 in the TNT
Proverbs 4 in the TNTIK
Proverbs 4 in the TNTIL
Proverbs 4 in the TNTIN
Proverbs 4 in the TNTIP
Proverbs 4 in the TNTIZ
Proverbs 4 in the TOMA
Proverbs 4 in the TTENT
Proverbs 4 in the UBG
Proverbs 4 in the UGV
Proverbs 4 in the UGV2
Proverbs 4 in the UGV3
Proverbs 4 in the VBL
Proverbs 4 in the VDCC
Proverbs 4 in the YALU
Proverbs 4 in the YAPE
Proverbs 4 in the YBVTP
Proverbs 4 in the ZBP