Psalms 100 (BOLCB)
undefined Zabbuli ey’okwebaza. 1 Muleetere MUKAMA eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna. 2 Muweereze MUKAMA n’essanyu;mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu. 3 Mumanye nga MUKAMA ye Katonda;ye yatutonda, tuli babe,tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye. 4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,ne mu mpya ze n’okutendereza;mumwebaze mutendereze erinnya lye. 5 Kubanga MUKAMA mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.