Psalms 106 (BOLCB)

1 Mumutendereze MUKAMA! Mwebaze MUKAMA kubanga mulungi,kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna. 2 Ani ayinza okwogera ku bikulu MUKAMA by’akola n’abimalayo,oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira? 3 Balina omukisa abalina obwenkanya,era abakola ebituufu bulijjo. 4 Onzijukiranga, Ayi MUKAMA, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;nange onnyambe bw’olibalokola, 5 ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,era ntendererezenga mu bantu bo. 6 Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;tukoze ebibi ne tusobya nnyo. 7 Bakadde baffetebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera. 8 Naye MUKAMA n’abalokola, olw’erinnya lye,alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi. 9 Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu. 10 Yabawonya abalabe baabwe;n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa. 11 Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;ne wataba n’omu awona. 12 Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;ne bayimba nga bamutendereza. 13 Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;ne batawulirizanga kubuulirira kwe. 14 Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo. 15 Bw’atyo n’abawa kye baasaba,kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi. 16 Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musane Alooni abalonde ba MUKAMA. 17 Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo. 18 Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi. 19 Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa. 20 Ekitiibwa kya Katondane bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo. 21 Ne beerabira Katonda eyabanunula,eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri, 22 ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu. 23 N’agamba nti,Ajja kubazikiriza.Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso gen’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza. 24 Baanyooma eby’ensi ennungi,kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige. 25 Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,ne batagondera ddoboozi lya MUKAMA. 26 Kyeyava yeerayiriranti alibazikiririza mu ddungu, 27 era nga n’abaana baabwebalisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo. 28 Baatandika okusinza Baali e Peoli;ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu. 29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;kawumpuli kyeyava abagwamu. 30 Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,kawumpuli n’agenda. 31 Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivuemirembe gyonna. 32 Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza MUKAMA,ne baleetera Musa emitawaana; 33 kubanga baajeemera ebiragiro bye,ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi. 34 Abantu be baalwanyisa tebaabazikirizanga MUKAMA bwe yali abalagidde, 35 naye beetabika n’abannaggwanga agone bayiga empisa zaabwe. 36 Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga agone bibafuukira omutego. 37 Baawaayo batabani baabwene bawala baabwe eri bakatonda abo. 38 Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabweabataliiko musango,be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe. 39 Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe. 40 MUKAMA kyeyava asunguwalira abantu be,n’akyawa ezzadde lye. 41 N’abawaayo eri amawanga amalala,abalabe ne babafuga. 42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,ne babatuntuza nnyo ddala. 43 Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,naye obujeemu ne bubalemeramu,ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo. 44 Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,n’abakwatirwa ekisa; 45 ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye. 46 N’abaleetera okusaasirwaabo abaabawambanga. 47 Ayi MUKAMA Katonda,otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,era tusanyukenga nga tukutendereza. 48 MUKAMA atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,emirembe n’emirembe. Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!” Mumutendereze MUKAMA.

In Other Versions

Psalms 106 in the ANGEFD

Psalms 106 in the ANTPNG2D

Psalms 106 in the AS21

Psalms 106 in the BAGH

Psalms 106 in the BBPNG

Psalms 106 in the BBT1E

Psalms 106 in the BDS

Psalms 106 in the BEV

Psalms 106 in the BHAD

Psalms 106 in the BIB

Psalms 106 in the BLPT

Psalms 106 in the BNT

Psalms 106 in the BNTABOOT

Psalms 106 in the BNTLV

Psalms 106 in the BOATCB

Psalms 106 in the BOATCB2

Psalms 106 in the BOBCV

Psalms 106 in the BOCNT

Psalms 106 in the BOECS

Psalms 106 in the BOGWICC

Psalms 106 in the BOHCB

Psalms 106 in the BOHCV

Psalms 106 in the BOHLNT

Psalms 106 in the BOHNTLTAL

Psalms 106 in the BOICB

Psalms 106 in the BOILNTAP

Psalms 106 in the BOITCV

Psalms 106 in the BOKCV

Psalms 106 in the BOKCV2

Psalms 106 in the BOKHWOG

Psalms 106 in the BOKSSV

Psalms 106 in the BOLCB2

Psalms 106 in the BOMCV

Psalms 106 in the BONAV

Psalms 106 in the BONCB

Psalms 106 in the BONLT

Psalms 106 in the BONUT2

Psalms 106 in the BOPLNT

Psalms 106 in the BOSCB

Psalms 106 in the BOSNC

Psalms 106 in the BOTLNT

Psalms 106 in the BOVCB

Psalms 106 in the BOYCB

Psalms 106 in the BPBB

Psalms 106 in the BPH

Psalms 106 in the BSB

Psalms 106 in the CCB

Psalms 106 in the CUV

Psalms 106 in the CUVS

Psalms 106 in the DBT

Psalms 106 in the DGDNT

Psalms 106 in the DHNT

Psalms 106 in the DNT

Psalms 106 in the ELBE

Psalms 106 in the EMTV

Psalms 106 in the ESV

Psalms 106 in the FBV

Psalms 106 in the FEB

Psalms 106 in the GGMNT

Psalms 106 in the GNT

Psalms 106 in the HARY

Psalms 106 in the HNT

Psalms 106 in the IRVA

Psalms 106 in the IRVB

Psalms 106 in the IRVG

Psalms 106 in the IRVH

Psalms 106 in the IRVK

Psalms 106 in the IRVM

Psalms 106 in the IRVM2

Psalms 106 in the IRVO

Psalms 106 in the IRVP

Psalms 106 in the IRVT

Psalms 106 in the IRVT2

Psalms 106 in the IRVU

Psalms 106 in the ISVN

Psalms 106 in the JSNT

Psalms 106 in the KAPI

Psalms 106 in the KBT1ETNIK

Psalms 106 in the KBV

Psalms 106 in the KJV

Psalms 106 in the KNFD

Psalms 106 in the LBA

Psalms 106 in the LBLA

Psalms 106 in the LNT

Psalms 106 in the LSV

Psalms 106 in the MAAL

Psalms 106 in the MBV

Psalms 106 in the MBV2

Psalms 106 in the MHNT

Psalms 106 in the MKNFD

Psalms 106 in the MNG

Psalms 106 in the MNT

Psalms 106 in the MNT2

Psalms 106 in the MRS1T

Psalms 106 in the NAA

Psalms 106 in the NASB

Psalms 106 in the NBLA

Psalms 106 in the NBS

Psalms 106 in the NBVTP

Psalms 106 in the NET2

Psalms 106 in the NIV11

Psalms 106 in the NNT

Psalms 106 in the NNT2

Psalms 106 in the NNT3

Psalms 106 in the PDDPT

Psalms 106 in the PFNT

Psalms 106 in the RMNT

Psalms 106 in the SBIAS

Psalms 106 in the SBIBS

Psalms 106 in the SBIBS2

Psalms 106 in the SBICS

Psalms 106 in the SBIDS

Psalms 106 in the SBIGS

Psalms 106 in the SBIHS

Psalms 106 in the SBIIS

Psalms 106 in the SBIIS2

Psalms 106 in the SBIIS3

Psalms 106 in the SBIKS

Psalms 106 in the SBIKS2

Psalms 106 in the SBIMS

Psalms 106 in the SBIOS

Psalms 106 in the SBIPS

Psalms 106 in the SBISS

Psalms 106 in the SBITS

Psalms 106 in the SBITS2

Psalms 106 in the SBITS3

Psalms 106 in the SBITS4

Psalms 106 in the SBIUS

Psalms 106 in the SBIVS

Psalms 106 in the SBT

Psalms 106 in the SBT1E

Psalms 106 in the SCHL

Psalms 106 in the SNT

Psalms 106 in the SUSU

Psalms 106 in the SUSU2

Psalms 106 in the SYNO

Psalms 106 in the TBIAOTANT

Psalms 106 in the TBT1E

Psalms 106 in the TBT1E2

Psalms 106 in the TFTIP

Psalms 106 in the TFTU

Psalms 106 in the TGNTATF3T

Psalms 106 in the THAI

Psalms 106 in the TNFD

Psalms 106 in the TNT

Psalms 106 in the TNTIK

Psalms 106 in the TNTIL

Psalms 106 in the TNTIN

Psalms 106 in the TNTIP

Psalms 106 in the TNTIZ

Psalms 106 in the TOMA

Psalms 106 in the TTENT

Psalms 106 in the UBG

Psalms 106 in the UGV

Psalms 106 in the UGV2

Psalms 106 in the UGV3

Psalms 106 in the VBL

Psalms 106 in the VDCC

Psalms 106 in the YALU

Psalms 106 in the YAPE

Psalms 106 in the YBVTP

Psalms 106 in the ZBP