Psalms 111 (BOLCB)
1 Mutendereze MUKAMA! Nneebazanga MUKAMA n’omutima gwange gwonna,mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana. 2 MUKAMA by’akola bikulu;bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira. 3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna. 4 Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, MUKAMA wa kisa era ajjudde okusaasira. 5 Agabira abamutya emmere;era ajjukira endagaano ye buli kiseera. 6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga. 7 By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;n’amateeka ge gonna ga bwesigwa, 8 manywevu emirembe gyonna;era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima. 9 Yanunula abantu be;n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa! 10 Mu kutya MUKAMA amagezi mwe gasookeraera abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. MUKAMA atenderezebwenga emirembe gyonna.