Psalms 18 (BOLCB)

undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira MUKAMA bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. 1 Nkwagala Ayi MUKAMA kubanga ggwe maanyi gange. 2 MUKAMA lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu. 3 Nkoowoola MUKAMA asaana okutenderezebwa,era amponya eri abalabe bange. 4 Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira. 5 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. 6 Mu nnaku yange nakoowoola MUKAMA;ne nkaabirira Katonda wange annyambe.Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge. 7 Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,kubanga yali asunguwadde. 8 Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.Omuliro ne guva mu kamwa ke,ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka. 9 Yayabuluza eggulu n’akka wansi;ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye. 10 Yeebagala kerubi n’abuuka,n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo. 11 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolangaokuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi. 12 Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira. 13 MUKAMA yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu. 14 Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula. 15 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwan’emisingi gy’ensi ne gyeyerulaolw’okunenya kwo Ayi MUKAMAn’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo. 16 MUKAMA yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi. 17 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi. 18 Bannumba nga ndi mu buzibu,naye MUKAMA n’annyamba. 19 N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,kubanga yansanyukira nnyo. 20 MUKAMA ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri. 21 Kubanga ntambulidde mu makubo ga MUKAMA,ne sikola kibi eri Katonda wange. 22 Ddala ddala amateeka ga MUKAMA gonna ngagondedde,era ne siva ku biragiro bye. 23 Sisobyanga mu maaso geera nneekuuma obutayonoona. 24 Noolwekyo, MUKAMA ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba. 25 Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango. 26 Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi. 27 Owonya abawombeefu,naye abeegulumiza obakkakkanya. 28 Okoleezezza ettaala yange;Ayi MUKAMA Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza. 29 Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe. 30 Katonda byonna by’akola bigolokofu; MUKAMA ky’asuubiza akituukiriza;era bwe buddukirobw’abo bonna abamwekwekamu. 31 Kale, ani Katonda, wabula MUKAMA?Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe? 32 Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange. 33 Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi. 34 Anjigiriza okulwana entalo,ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo. 35 Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;weetoowazizza n’ongulumiza. 36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,obukongovvule bwange ne butanuuka. 37 Nagoba abalabe bange embiro,ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza. 38 Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,ne mbalinnyako ebigere byange. 39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;abalabe bange ne banvuunamira. 40 Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa. 41 Baalaajana naye tewaali yabawonya;ne bakaabirira MUKAMA, naye n’atabaddamu. 42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo. 43 Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;n’onfuula omufuzi w’amawanga.Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange. 44 Olumpulira ne baŋŋondera,bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange. 45 Bannamawanga baggwaamu omutimane bava mu bigo byabwe nga bakankana. 46 MUKAMA mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange. 47 Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubiera akakkanya amawanga ne ngafuga.Amponyeza abalabe bange. 48 Ayi MUKAMA, ongulumizizza okusinga abalabe bange,n’onkuuma abakambwe ne batankwatako. 49 Noolwekyo, Ayi MUKAMA, nnaakutenderezanga mu mawanga,era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo. 50 Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,eri Dawudi n’eri ezzadde lye.

In Other Versions

Psalms 18 in the ANGEFD

Psalms 18 in the ANTPNG2D

Psalms 18 in the AS21

Psalms 18 in the BAGH

Psalms 18 in the BBPNG

Psalms 18 in the BBT1E

Psalms 18 in the BDS

Psalms 18 in the BEV

Psalms 18 in the BHAD

Psalms 18 in the BIB

Psalms 18 in the BLPT

Psalms 18 in the BNT

Psalms 18 in the BNTABOOT

Psalms 18 in the BNTLV

Psalms 18 in the BOATCB

Psalms 18 in the BOATCB2

Psalms 18 in the BOBCV

Psalms 18 in the BOCNT

Psalms 18 in the BOECS

Psalms 18 in the BOGWICC

Psalms 18 in the BOHCB

Psalms 18 in the BOHCV

Psalms 18 in the BOHLNT

Psalms 18 in the BOHNTLTAL

Psalms 18 in the BOICB

Psalms 18 in the BOILNTAP

Psalms 18 in the BOITCV

Psalms 18 in the BOKCV

Psalms 18 in the BOKCV2

Psalms 18 in the BOKHWOG

Psalms 18 in the BOKSSV

Psalms 18 in the BOLCB2

Psalms 18 in the BOMCV

Psalms 18 in the BONAV

Psalms 18 in the BONCB

Psalms 18 in the BONLT

Psalms 18 in the BONUT2

Psalms 18 in the BOPLNT

Psalms 18 in the BOSCB

Psalms 18 in the BOSNC

Psalms 18 in the BOTLNT

Psalms 18 in the BOVCB

Psalms 18 in the BOYCB

Psalms 18 in the BPBB

Psalms 18 in the BPH

Psalms 18 in the BSB

Psalms 18 in the CCB

Psalms 18 in the CUV

Psalms 18 in the CUVS

Psalms 18 in the DBT

Psalms 18 in the DGDNT

Psalms 18 in the DHNT

Psalms 18 in the DNT

Psalms 18 in the ELBE

Psalms 18 in the EMTV

Psalms 18 in the ESV

Psalms 18 in the FBV

Psalms 18 in the FEB

Psalms 18 in the GGMNT

Psalms 18 in the GNT

Psalms 18 in the HARY

Psalms 18 in the HNT

Psalms 18 in the IRVA

Psalms 18 in the IRVB

Psalms 18 in the IRVG

Psalms 18 in the IRVH

Psalms 18 in the IRVK

Psalms 18 in the IRVM

Psalms 18 in the IRVM2

Psalms 18 in the IRVO

Psalms 18 in the IRVP

Psalms 18 in the IRVT

Psalms 18 in the IRVT2

Psalms 18 in the IRVU

Psalms 18 in the ISVN

Psalms 18 in the JSNT

Psalms 18 in the KAPI

Psalms 18 in the KBT1ETNIK

Psalms 18 in the KBV

Psalms 18 in the KJV

Psalms 18 in the KNFD

Psalms 18 in the LBA

Psalms 18 in the LBLA

Psalms 18 in the LNT

Psalms 18 in the LSV

Psalms 18 in the MAAL

Psalms 18 in the MBV

Psalms 18 in the MBV2

Psalms 18 in the MHNT

Psalms 18 in the MKNFD

Psalms 18 in the MNG

Psalms 18 in the MNT

Psalms 18 in the MNT2

Psalms 18 in the MRS1T

Psalms 18 in the NAA

Psalms 18 in the NASB

Psalms 18 in the NBLA

Psalms 18 in the NBS

Psalms 18 in the NBVTP

Psalms 18 in the NET2

Psalms 18 in the NIV11

Psalms 18 in the NNT

Psalms 18 in the NNT2

Psalms 18 in the NNT3

Psalms 18 in the PDDPT

Psalms 18 in the PFNT

Psalms 18 in the RMNT

Psalms 18 in the SBIAS

Psalms 18 in the SBIBS

Psalms 18 in the SBIBS2

Psalms 18 in the SBICS

Psalms 18 in the SBIDS

Psalms 18 in the SBIGS

Psalms 18 in the SBIHS

Psalms 18 in the SBIIS

Psalms 18 in the SBIIS2

Psalms 18 in the SBIIS3

Psalms 18 in the SBIKS

Psalms 18 in the SBIKS2

Psalms 18 in the SBIMS

Psalms 18 in the SBIOS

Psalms 18 in the SBIPS

Psalms 18 in the SBISS

Psalms 18 in the SBITS

Psalms 18 in the SBITS2

Psalms 18 in the SBITS3

Psalms 18 in the SBITS4

Psalms 18 in the SBIUS

Psalms 18 in the SBIVS

Psalms 18 in the SBT

Psalms 18 in the SBT1E

Psalms 18 in the SCHL

Psalms 18 in the SNT

Psalms 18 in the SUSU

Psalms 18 in the SUSU2

Psalms 18 in the SYNO

Psalms 18 in the TBIAOTANT

Psalms 18 in the TBT1E

Psalms 18 in the TBT1E2

Psalms 18 in the TFTIP

Psalms 18 in the TFTU

Psalms 18 in the TGNTATF3T

Psalms 18 in the THAI

Psalms 18 in the TNFD

Psalms 18 in the TNT

Psalms 18 in the TNTIK

Psalms 18 in the TNTIL

Psalms 18 in the TNTIN

Psalms 18 in the TNTIP

Psalms 18 in the TNTIZ

Psalms 18 in the TOMA

Psalms 18 in the TTENT

Psalms 18 in the UBG

Psalms 18 in the UGV

Psalms 18 in the UGV2

Psalms 18 in the UGV3

Psalms 18 in the VBL

Psalms 18 in the VDCC

Psalms 18 in the YALU

Psalms 18 in the YAPE

Psalms 18 in the YBVTP

Psalms 18 in the ZBP