Psalms 47 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. 1 Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu; 2 MUKAMA Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.Ye Kabaka afuga ensi yonna. 3 Yatujeemululira abantu,n’atujeemululira amawanga ne tugafuga. 4 Yatulondera omugabo gwaffe,Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza. 5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. MUKAMA alinnye nga n’amakondeere gamuvugira. 6 Mutendereze Katonda, mumutendereze.Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze. 7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo. 8 Katonda afuga amawanga gonna;afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu. 9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanyeng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.Katonda agulumizibwenga nnyo.