Psalms 87 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. 1 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu. 2 MUKAMA ayagala emiryango gya Sayuuniokusinga ennyumba zonna eza Yakobo. 3 Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,ggwe ekibuga kya Katonda. 4 “Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,ne Babulooni;era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulone ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ” 5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza. 6 MUKAMA aliwandiika mu kitabo bw’ati,omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.” 7 Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”