Revelation 13 (BOLCB)

1 Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. 2 Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi. 3 Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. 4 Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?” 5 Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 6 Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu. 7 Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. 8 Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo. 9 Alina amatu awulire. 10 Buli ow’okutwalibwa mu busibewa kusiba.Era buli ow’okuttibwa n’ekitala,wa kuttibwa na kitala.Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa. 11 Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota. 12 Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. 13 Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ng’okuwandula ennimi ez’omuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. 14 Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona. 15 Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. 16 Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, 17 nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo. 18 Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.

In Other Versions

Revelation 13 in the ANGEFD

Revelation 13 in the ANTPNG2D

Revelation 13 in the AS21

Revelation 13 in the BAGH

Revelation 13 in the BBPNG

Revelation 13 in the BBT1E

Revelation 13 in the BDS

Revelation 13 in the BEV

Revelation 13 in the BHAD

Revelation 13 in the BIB

Revelation 13 in the BLPT

Revelation 13 in the BNT

Revelation 13 in the BNTABOOT

Revelation 13 in the BNTLV

Revelation 13 in the BOATCB

Revelation 13 in the BOATCB2

Revelation 13 in the BOBCV

Revelation 13 in the BOCNT

Revelation 13 in the BOECS

Revelation 13 in the BOGWICC

Revelation 13 in the BOHCB

Revelation 13 in the BOHCV

Revelation 13 in the BOHLNT

Revelation 13 in the BOHNTLTAL

Revelation 13 in the BOICB

Revelation 13 in the BOILNTAP

Revelation 13 in the BOITCV

Revelation 13 in the BOKCV

Revelation 13 in the BOKCV2

Revelation 13 in the BOKHWOG

Revelation 13 in the BOKSSV

Revelation 13 in the BOLCB2

Revelation 13 in the BOMCV

Revelation 13 in the BONAV

Revelation 13 in the BONCB

Revelation 13 in the BONLT

Revelation 13 in the BONUT2

Revelation 13 in the BOPLNT

Revelation 13 in the BOSCB

Revelation 13 in the BOSNC

Revelation 13 in the BOTLNT

Revelation 13 in the BOVCB

Revelation 13 in the BOYCB

Revelation 13 in the BPBB

Revelation 13 in the BPH

Revelation 13 in the BSB

Revelation 13 in the CCB

Revelation 13 in the CUV

Revelation 13 in the CUVS

Revelation 13 in the DBT

Revelation 13 in the DGDNT

Revelation 13 in the DHNT

Revelation 13 in the DNT

Revelation 13 in the ELBE

Revelation 13 in the EMTV

Revelation 13 in the ESV

Revelation 13 in the FBV

Revelation 13 in the FEB

Revelation 13 in the GGMNT

Revelation 13 in the GNT

Revelation 13 in the HARY

Revelation 13 in the HNT

Revelation 13 in the IRVA

Revelation 13 in the IRVB

Revelation 13 in the IRVG

Revelation 13 in the IRVH

Revelation 13 in the IRVK

Revelation 13 in the IRVM

Revelation 13 in the IRVM2

Revelation 13 in the IRVO

Revelation 13 in the IRVP

Revelation 13 in the IRVT

Revelation 13 in the IRVT2

Revelation 13 in the IRVU

Revelation 13 in the ISVN

Revelation 13 in the JSNT

Revelation 13 in the KAPI

Revelation 13 in the KBT1ETNIK

Revelation 13 in the KBV

Revelation 13 in the KJV

Revelation 13 in the KNFD

Revelation 13 in the LBA

Revelation 13 in the LBLA

Revelation 13 in the LNT

Revelation 13 in the LSV

Revelation 13 in the MAAL

Revelation 13 in the MBV

Revelation 13 in the MBV2

Revelation 13 in the MHNT

Revelation 13 in the MKNFD

Revelation 13 in the MNG

Revelation 13 in the MNT

Revelation 13 in the MNT2

Revelation 13 in the MRS1T

Revelation 13 in the NAA

Revelation 13 in the NASB

Revelation 13 in the NBLA

Revelation 13 in the NBS

Revelation 13 in the NBVTP

Revelation 13 in the NET2

Revelation 13 in the NIV11

Revelation 13 in the NNT

Revelation 13 in the NNT2

Revelation 13 in the NNT3

Revelation 13 in the PDDPT

Revelation 13 in the PFNT

Revelation 13 in the RMNT

Revelation 13 in the SBIAS

Revelation 13 in the SBIBS

Revelation 13 in the SBIBS2

Revelation 13 in the SBICS

Revelation 13 in the SBIDS

Revelation 13 in the SBIGS

Revelation 13 in the SBIHS

Revelation 13 in the SBIIS

Revelation 13 in the SBIIS2

Revelation 13 in the SBIIS3

Revelation 13 in the SBIKS

Revelation 13 in the SBIKS2

Revelation 13 in the SBIMS

Revelation 13 in the SBIOS

Revelation 13 in the SBIPS

Revelation 13 in the SBISS

Revelation 13 in the SBITS

Revelation 13 in the SBITS2

Revelation 13 in the SBITS3

Revelation 13 in the SBITS4

Revelation 13 in the SBIUS

Revelation 13 in the SBIVS

Revelation 13 in the SBT

Revelation 13 in the SBT1E

Revelation 13 in the SCHL

Revelation 13 in the SNT

Revelation 13 in the SUSU

Revelation 13 in the SUSU2

Revelation 13 in the SYNO

Revelation 13 in the TBIAOTANT

Revelation 13 in the TBT1E

Revelation 13 in the TBT1E2

Revelation 13 in the TFTIP

Revelation 13 in the TFTU

Revelation 13 in the TGNTATF3T

Revelation 13 in the THAI

Revelation 13 in the TNFD

Revelation 13 in the TNT

Revelation 13 in the TNTIK

Revelation 13 in the TNTIL

Revelation 13 in the TNTIN

Revelation 13 in the TNTIP

Revelation 13 in the TNTIZ

Revelation 13 in the TOMA

Revelation 13 in the TTENT

Revelation 13 in the UBG

Revelation 13 in the UGV

Revelation 13 in the UGV2

Revelation 13 in the UGV3

Revelation 13 in the VBL

Revelation 13 in the VDCC

Revelation 13 in the YALU

Revelation 13 in the YAPE

Revelation 13 in the YBVTP

Revelation 13 in the ZBP