Revelation 14 (BOLCB)
1 Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo. 2 Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe. 3 Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. 4 Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga. 5 Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa. 6 Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. 7 N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.” 8 Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.” 9 Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, 10 oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga. 11 Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. 12 Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.” 13 Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”“Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.” 14 Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. 15 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.” 16 Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi. 17 Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi. 18 Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.” 19 Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda. 20 Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).
In Other Versions
Revelation 14 in the ANGEFD
Revelation 14 in the ANTPNG2D
Revelation 14 in the AS21
Revelation 14 in the BAGH
Revelation 14 in the BBPNG
Revelation 14 in the BBT1E
Revelation 14 in the BDS
Revelation 14 in the BEV
Revelation 14 in the BHAD
Revelation 14 in the BIB
Revelation 14 in the BLPT
Revelation 14 in the BNT
Revelation 14 in the BNTABOOT
Revelation 14 in the BNTLV
Revelation 14 in the BOATCB
Revelation 14 in the BOATCB2
Revelation 14 in the BOBCV
Revelation 14 in the BOCNT
Revelation 14 in the BOECS
Revelation 14 in the BOGWICC
Revelation 14 in the BOHCB
Revelation 14 in the BOHCV
Revelation 14 in the BOHLNT
Revelation 14 in the BOHNTLTAL
Revelation 14 in the BOICB
Revelation 14 in the BOILNTAP
Revelation 14 in the BOITCV
Revelation 14 in the BOKCV
Revelation 14 in the BOKCV2
Revelation 14 in the BOKHWOG
Revelation 14 in the BOKSSV
Revelation 14 in the BOLCB2
Revelation 14 in the BOMCV
Revelation 14 in the BONAV
Revelation 14 in the BONCB
Revelation 14 in the BONLT
Revelation 14 in the BONUT2
Revelation 14 in the BOPLNT
Revelation 14 in the BOSCB
Revelation 14 in the BOSNC
Revelation 14 in the BOTLNT
Revelation 14 in the BOVCB
Revelation 14 in the BOYCB
Revelation 14 in the BPBB
Revelation 14 in the BPH
Revelation 14 in the BSB
Revelation 14 in the CCB
Revelation 14 in the CUV
Revelation 14 in the CUVS
Revelation 14 in the DBT
Revelation 14 in the DGDNT
Revelation 14 in the DHNT
Revelation 14 in the DNT
Revelation 14 in the ELBE
Revelation 14 in the EMTV
Revelation 14 in the ESV
Revelation 14 in the FBV
Revelation 14 in the FEB
Revelation 14 in the GGMNT
Revelation 14 in the GNT
Revelation 14 in the HARY
Revelation 14 in the HNT
Revelation 14 in the IRVA
Revelation 14 in the IRVB
Revelation 14 in the IRVG
Revelation 14 in the IRVH
Revelation 14 in the IRVK
Revelation 14 in the IRVM
Revelation 14 in the IRVM2
Revelation 14 in the IRVO
Revelation 14 in the IRVP
Revelation 14 in the IRVT
Revelation 14 in the IRVT2
Revelation 14 in the IRVU
Revelation 14 in the ISVN
Revelation 14 in the JSNT
Revelation 14 in the KAPI
Revelation 14 in the KBT1ETNIK
Revelation 14 in the KBV
Revelation 14 in the KJV
Revelation 14 in the KNFD
Revelation 14 in the LBA
Revelation 14 in the LBLA
Revelation 14 in the LNT
Revelation 14 in the LSV
Revelation 14 in the MAAL
Revelation 14 in the MBV
Revelation 14 in the MBV2
Revelation 14 in the MHNT
Revelation 14 in the MKNFD
Revelation 14 in the MNG
Revelation 14 in the MNT
Revelation 14 in the MNT2
Revelation 14 in the MRS1T
Revelation 14 in the NAA
Revelation 14 in the NASB
Revelation 14 in the NBLA
Revelation 14 in the NBS
Revelation 14 in the NBVTP
Revelation 14 in the NET2
Revelation 14 in the NIV11
Revelation 14 in the NNT
Revelation 14 in the NNT2
Revelation 14 in the NNT3
Revelation 14 in the PDDPT
Revelation 14 in the PFNT
Revelation 14 in the RMNT
Revelation 14 in the SBIAS
Revelation 14 in the SBIBS
Revelation 14 in the SBIBS2
Revelation 14 in the SBICS
Revelation 14 in the SBIDS
Revelation 14 in the SBIGS
Revelation 14 in the SBIHS
Revelation 14 in the SBIIS
Revelation 14 in the SBIIS2
Revelation 14 in the SBIIS3
Revelation 14 in the SBIKS
Revelation 14 in the SBIKS2
Revelation 14 in the SBIMS
Revelation 14 in the SBIOS
Revelation 14 in the SBIPS
Revelation 14 in the SBISS
Revelation 14 in the SBITS
Revelation 14 in the SBITS2
Revelation 14 in the SBITS3
Revelation 14 in the SBITS4
Revelation 14 in the SBIUS
Revelation 14 in the SBIVS
Revelation 14 in the SBT
Revelation 14 in the SBT1E
Revelation 14 in the SCHL
Revelation 14 in the SNT
Revelation 14 in the SUSU
Revelation 14 in the SUSU2
Revelation 14 in the SYNO
Revelation 14 in the TBIAOTANT
Revelation 14 in the TBT1E
Revelation 14 in the TBT1E2
Revelation 14 in the TFTIP
Revelation 14 in the TFTU
Revelation 14 in the TGNTATF3T
Revelation 14 in the THAI
Revelation 14 in the TNFD
Revelation 14 in the TNT
Revelation 14 in the TNTIK
Revelation 14 in the TNTIL
Revelation 14 in the TNTIN
Revelation 14 in the TNTIP
Revelation 14 in the TNTIZ
Revelation 14 in the TOMA
Revelation 14 in the TTENT
Revelation 14 in the UBG
Revelation 14 in the UGV
Revelation 14 in the UGV2
Revelation 14 in the UGV3
Revelation 14 in the VBL
Revelation 14 in the VDCC
Revelation 14 in the YALU
Revelation 14 in the YAPE
Revelation 14 in the YBVTP
Revelation 14 in the ZBP