Revelation 19 (BOLCB)
1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,“Aleruuya!Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe. 2 Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.Yabonereza malaaya omukulueyayonoona ensi n’obwenzi bwe.Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.” 3 Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,“Aleruuya!Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!” 4 Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,“Amiina. Aleruuya.” 5 Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:“Mumutendereze Katonda waffe,mmwe abaddu be mwennaabamutyaabeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.” 6 Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,“Aleruuya,kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga. 7 Ka tusanyuke, tujaguze,era tumugulumize,kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,era n’omugole we yeeteeseteese. 8 Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,olunekaaneka era olusingayo okutukula.”(Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.) 9 Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.” 10 Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.” 11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 12 Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 13 Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 14 Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 15 Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 16 Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.” 17 Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 18 mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.” 19 Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 20 Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 21 Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
In Other Versions
Revelation 19 in the ANGEFD
Revelation 19 in the ANTPNG2D
Revelation 19 in the AS21
Revelation 19 in the BAGH
Revelation 19 in the BBPNG
Revelation 19 in the BBT1E
Revelation 19 in the BDS
Revelation 19 in the BEV
Revelation 19 in the BHAD
Revelation 19 in the BIB
Revelation 19 in the BLPT
Revelation 19 in the BNT
Revelation 19 in the BNTABOOT
Revelation 19 in the BNTLV
Revelation 19 in the BOATCB
Revelation 19 in the BOATCB2
Revelation 19 in the BOBCV
Revelation 19 in the BOCNT
Revelation 19 in the BOECS
Revelation 19 in the BOGWICC
Revelation 19 in the BOHCB
Revelation 19 in the BOHCV
Revelation 19 in the BOHLNT
Revelation 19 in the BOHNTLTAL
Revelation 19 in the BOICB
Revelation 19 in the BOILNTAP
Revelation 19 in the BOITCV
Revelation 19 in the BOKCV
Revelation 19 in the BOKCV2
Revelation 19 in the BOKHWOG
Revelation 19 in the BOKSSV
Revelation 19 in the BOLCB2
Revelation 19 in the BOMCV
Revelation 19 in the BONAV
Revelation 19 in the BONCB
Revelation 19 in the BONLT
Revelation 19 in the BONUT2
Revelation 19 in the BOPLNT
Revelation 19 in the BOSCB
Revelation 19 in the BOSNC
Revelation 19 in the BOTLNT
Revelation 19 in the BOVCB
Revelation 19 in the BOYCB
Revelation 19 in the BPBB
Revelation 19 in the BPH
Revelation 19 in the BSB
Revelation 19 in the CCB
Revelation 19 in the CUV
Revelation 19 in the CUVS
Revelation 19 in the DBT
Revelation 19 in the DGDNT
Revelation 19 in the DHNT
Revelation 19 in the DNT
Revelation 19 in the ELBE
Revelation 19 in the EMTV
Revelation 19 in the ESV
Revelation 19 in the FBV
Revelation 19 in the FEB
Revelation 19 in the GGMNT
Revelation 19 in the GNT
Revelation 19 in the HARY
Revelation 19 in the HNT
Revelation 19 in the IRVA
Revelation 19 in the IRVB
Revelation 19 in the IRVG
Revelation 19 in the IRVH
Revelation 19 in the IRVK
Revelation 19 in the IRVM
Revelation 19 in the IRVM2
Revelation 19 in the IRVO
Revelation 19 in the IRVP
Revelation 19 in the IRVT
Revelation 19 in the IRVT2
Revelation 19 in the IRVU
Revelation 19 in the ISVN
Revelation 19 in the JSNT
Revelation 19 in the KAPI
Revelation 19 in the KBT1ETNIK
Revelation 19 in the KBV
Revelation 19 in the KJV
Revelation 19 in the KNFD
Revelation 19 in the LBA
Revelation 19 in the LBLA
Revelation 19 in the LNT
Revelation 19 in the LSV
Revelation 19 in the MAAL
Revelation 19 in the MBV
Revelation 19 in the MBV2
Revelation 19 in the MHNT
Revelation 19 in the MKNFD
Revelation 19 in the MNG
Revelation 19 in the MNT
Revelation 19 in the MNT2
Revelation 19 in the MRS1T
Revelation 19 in the NAA
Revelation 19 in the NASB
Revelation 19 in the NBLA
Revelation 19 in the NBS
Revelation 19 in the NBVTP
Revelation 19 in the NET2
Revelation 19 in the NIV11
Revelation 19 in the NNT
Revelation 19 in the NNT2
Revelation 19 in the NNT3
Revelation 19 in the PDDPT
Revelation 19 in the PFNT
Revelation 19 in the RMNT
Revelation 19 in the SBIAS
Revelation 19 in the SBIBS
Revelation 19 in the SBIBS2
Revelation 19 in the SBICS
Revelation 19 in the SBIDS
Revelation 19 in the SBIGS
Revelation 19 in the SBIHS
Revelation 19 in the SBIIS
Revelation 19 in the SBIIS2
Revelation 19 in the SBIIS3
Revelation 19 in the SBIKS
Revelation 19 in the SBIKS2
Revelation 19 in the SBIMS
Revelation 19 in the SBIOS
Revelation 19 in the SBIPS
Revelation 19 in the SBISS
Revelation 19 in the SBITS
Revelation 19 in the SBITS2
Revelation 19 in the SBITS3
Revelation 19 in the SBITS4
Revelation 19 in the SBIUS
Revelation 19 in the SBIVS
Revelation 19 in the SBT
Revelation 19 in the SBT1E
Revelation 19 in the SCHL
Revelation 19 in the SNT
Revelation 19 in the SUSU
Revelation 19 in the SUSU2
Revelation 19 in the SYNO
Revelation 19 in the TBIAOTANT
Revelation 19 in the TBT1E
Revelation 19 in the TBT1E2
Revelation 19 in the TFTIP
Revelation 19 in the TFTU
Revelation 19 in the TGNTATF3T
Revelation 19 in the THAI
Revelation 19 in the TNFD
Revelation 19 in the TNT
Revelation 19 in the TNTIK
Revelation 19 in the TNTIL
Revelation 19 in the TNTIN
Revelation 19 in the TNTIP
Revelation 19 in the TNTIZ
Revelation 19 in the TOMA
Revelation 19 in the TTENT
Revelation 19 in the UBG
Revelation 19 in the UGV
Revelation 19 in the UGV2
Revelation 19 in the UGV3
Revelation 19 in the VBL
Revelation 19 in the VDCC
Revelation 19 in the YALU
Revelation 19 in the YAPE
Revelation 19 in the YBVTP
Revelation 19 in the ZBP