Ruth 1 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 2 Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo. 3 Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4 Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi. 5 Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba. 6 Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti MUKAMA Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. 7 Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda. 8 Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina, era MUKAMA Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 9 MUKAMA Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10 nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” 11 Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe. 12 Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 13 mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa MUKAMA Katonda tegubadde nange.” 14 Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala. 15 Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16 Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17 Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. MUKAMA Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 18 Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala. 19 Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?” 20 Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 Nagenda nnina ebintu bingi, naye MUKAMA Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? MUKAMA ambonerezza. Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.” 22 Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri nga kyakatandika.
In Other Versions
Ruth 1 in the ANGEFD
Ruth 1 in the ANTPNG2D
Ruth 1 in the AS21
Ruth 1 in the BAGH
Ruth 1 in the BBPNG
Ruth 1 in the BBT1E
Ruth 1 in the BDS
Ruth 1 in the BEV
Ruth 1 in the BHAD
Ruth 1 in the BIB
Ruth 1 in the BLPT
Ruth 1 in the BNT
Ruth 1 in the BNTABOOT
Ruth 1 in the BNTLV
Ruth 1 in the BOATCB
Ruth 1 in the BOATCB2
Ruth 1 in the BOBCV
Ruth 1 in the BOCNT
Ruth 1 in the BOECS
Ruth 1 in the BOGWICC
Ruth 1 in the BOHCB
Ruth 1 in the BOHCV
Ruth 1 in the BOHLNT
Ruth 1 in the BOHNTLTAL
Ruth 1 in the BOICB
Ruth 1 in the BOILNTAP
Ruth 1 in the BOITCV
Ruth 1 in the BOKCV
Ruth 1 in the BOKCV2
Ruth 1 in the BOKHWOG
Ruth 1 in the BOKSSV
Ruth 1 in the BOLCB2
Ruth 1 in the BOMCV
Ruth 1 in the BONAV
Ruth 1 in the BONCB
Ruth 1 in the BONLT
Ruth 1 in the BONUT2
Ruth 1 in the BOPLNT
Ruth 1 in the BOSCB
Ruth 1 in the BOSNC
Ruth 1 in the BOTLNT
Ruth 1 in the BOVCB
Ruth 1 in the BOYCB
Ruth 1 in the BPBB
Ruth 1 in the BPH
Ruth 1 in the BSB
Ruth 1 in the CCB
Ruth 1 in the CUV
Ruth 1 in the CUVS
Ruth 1 in the DBT
Ruth 1 in the DGDNT
Ruth 1 in the DHNT
Ruth 1 in the DNT
Ruth 1 in the ELBE
Ruth 1 in the EMTV
Ruth 1 in the ESV
Ruth 1 in the FBV
Ruth 1 in the FEB
Ruth 1 in the GGMNT
Ruth 1 in the GNT
Ruth 1 in the HARY
Ruth 1 in the HNT
Ruth 1 in the IRVA
Ruth 1 in the IRVB
Ruth 1 in the IRVG
Ruth 1 in the IRVH
Ruth 1 in the IRVK
Ruth 1 in the IRVM
Ruth 1 in the IRVM2
Ruth 1 in the IRVO
Ruth 1 in the IRVP
Ruth 1 in the IRVT
Ruth 1 in the IRVT2
Ruth 1 in the IRVU
Ruth 1 in the ISVN
Ruth 1 in the JSNT
Ruth 1 in the KAPI
Ruth 1 in the KBT1ETNIK
Ruth 1 in the KBV
Ruth 1 in the KJV
Ruth 1 in the KNFD
Ruth 1 in the LBA
Ruth 1 in the LBLA
Ruth 1 in the LNT
Ruth 1 in the LSV
Ruth 1 in the MAAL
Ruth 1 in the MBV
Ruth 1 in the MBV2
Ruth 1 in the MHNT
Ruth 1 in the MKNFD
Ruth 1 in the MNG
Ruth 1 in the MNT
Ruth 1 in the MNT2
Ruth 1 in the MRS1T
Ruth 1 in the NAA
Ruth 1 in the NASB
Ruth 1 in the NBLA
Ruth 1 in the NBS
Ruth 1 in the NBVTP
Ruth 1 in the NET2
Ruth 1 in the NIV11
Ruth 1 in the NNT
Ruth 1 in the NNT2
Ruth 1 in the NNT3
Ruth 1 in the PDDPT
Ruth 1 in the PFNT
Ruth 1 in the RMNT
Ruth 1 in the SBIAS
Ruth 1 in the SBIBS
Ruth 1 in the SBIBS2
Ruth 1 in the SBICS
Ruth 1 in the SBIDS
Ruth 1 in the SBIGS
Ruth 1 in the SBIHS
Ruth 1 in the SBIIS
Ruth 1 in the SBIIS2
Ruth 1 in the SBIIS3
Ruth 1 in the SBIKS
Ruth 1 in the SBIKS2
Ruth 1 in the SBIMS
Ruth 1 in the SBIOS
Ruth 1 in the SBIPS
Ruth 1 in the SBISS
Ruth 1 in the SBITS
Ruth 1 in the SBITS2
Ruth 1 in the SBITS3
Ruth 1 in the SBITS4
Ruth 1 in the SBIUS
Ruth 1 in the SBIVS
Ruth 1 in the SBT
Ruth 1 in the SBT1E
Ruth 1 in the SCHL
Ruth 1 in the SNT
Ruth 1 in the SUSU
Ruth 1 in the SUSU2
Ruth 1 in the SYNO
Ruth 1 in the TBIAOTANT
Ruth 1 in the TBT1E
Ruth 1 in the TBT1E2
Ruth 1 in the TFTIP
Ruth 1 in the TFTU
Ruth 1 in the TGNTATF3T
Ruth 1 in the THAI
Ruth 1 in the TNFD
Ruth 1 in the TNT
Ruth 1 in the TNTIK
Ruth 1 in the TNTIL
Ruth 1 in the TNTIN
Ruth 1 in the TNTIP
Ruth 1 in the TNTIZ
Ruth 1 in the TOMA
Ruth 1 in the TTENT
Ruth 1 in the UBG
Ruth 1 in the UGV
Ruth 1 in the UGV2
Ruth 1 in the UGV3
Ruth 1 in the VBL
Ruth 1 in the VDCC
Ruth 1 in the YALU
Ruth 1 in the YAPE
Ruth 1 in the YBVTP
Ruth 1 in the ZBP