Zechariah 8 (BOLCB)
1 Ekigambo kya MUKAMA ow’Eggye ne kinzijira nate nti: 2 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.” 3 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa MUKAMA ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.” 4 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. 5 N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.” 6 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 7 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: 8 Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.” 9 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya MUKAMA ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 10 Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 11 Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 12 “Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 13 Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.” 14 Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 15 bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 16 Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 17 tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera MUKAMA. 18 Ekigambo kya MUKAMA ow’Eggye ne kinzijira nate nti: 19 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.” 20 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 21 era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre MUKAMA, tunoonye amaaso ga MUKAMA ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 22 Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya MUKAMA ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira MUKAMA.” 23 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”
In Other Versions
Zechariah 8 in the ANGEFD
Zechariah 8 in the ANTPNG2D
Zechariah 8 in the AS21
Zechariah 8 in the BAGH
Zechariah 8 in the BBPNG
Zechariah 8 in the BBT1E
Zechariah 8 in the BDS
Zechariah 8 in the BEV
Zechariah 8 in the BHAD
Zechariah 8 in the BIB
Zechariah 8 in the BLPT
Zechariah 8 in the BNT
Zechariah 8 in the BNTABOOT
Zechariah 8 in the BNTLV
Zechariah 8 in the BOATCB
Zechariah 8 in the BOATCB2
Zechariah 8 in the BOBCV
Zechariah 8 in the BOCNT
Zechariah 8 in the BOECS
Zechariah 8 in the BOGWICC
Zechariah 8 in the BOHCB
Zechariah 8 in the BOHCV
Zechariah 8 in the BOHLNT
Zechariah 8 in the BOHNTLTAL
Zechariah 8 in the BOICB
Zechariah 8 in the BOILNTAP
Zechariah 8 in the BOITCV
Zechariah 8 in the BOKCV
Zechariah 8 in the BOKCV2
Zechariah 8 in the BOKHWOG
Zechariah 8 in the BOKSSV
Zechariah 8 in the BOLCB2
Zechariah 8 in the BOMCV
Zechariah 8 in the BONAV
Zechariah 8 in the BONCB
Zechariah 8 in the BONLT
Zechariah 8 in the BONUT2
Zechariah 8 in the BOPLNT
Zechariah 8 in the BOSCB
Zechariah 8 in the BOSNC
Zechariah 8 in the BOTLNT
Zechariah 8 in the BOVCB
Zechariah 8 in the BOYCB
Zechariah 8 in the BPBB
Zechariah 8 in the BPH
Zechariah 8 in the BSB
Zechariah 8 in the CCB
Zechariah 8 in the CUV
Zechariah 8 in the CUVS
Zechariah 8 in the DBT
Zechariah 8 in the DGDNT
Zechariah 8 in the DHNT
Zechariah 8 in the DNT
Zechariah 8 in the ELBE
Zechariah 8 in the EMTV
Zechariah 8 in the ESV
Zechariah 8 in the FBV
Zechariah 8 in the FEB
Zechariah 8 in the GGMNT
Zechariah 8 in the GNT
Zechariah 8 in the HARY
Zechariah 8 in the HNT
Zechariah 8 in the IRVA
Zechariah 8 in the IRVB
Zechariah 8 in the IRVG
Zechariah 8 in the IRVH
Zechariah 8 in the IRVK
Zechariah 8 in the IRVM
Zechariah 8 in the IRVM2
Zechariah 8 in the IRVO
Zechariah 8 in the IRVP
Zechariah 8 in the IRVT
Zechariah 8 in the IRVT2
Zechariah 8 in the IRVU
Zechariah 8 in the ISVN
Zechariah 8 in the JSNT
Zechariah 8 in the KAPI
Zechariah 8 in the KBT1ETNIK
Zechariah 8 in the KBV
Zechariah 8 in the KJV
Zechariah 8 in the KNFD
Zechariah 8 in the LBA
Zechariah 8 in the LBLA
Zechariah 8 in the LNT
Zechariah 8 in the LSV
Zechariah 8 in the MAAL
Zechariah 8 in the MBV
Zechariah 8 in the MBV2
Zechariah 8 in the MHNT
Zechariah 8 in the MKNFD
Zechariah 8 in the MNG
Zechariah 8 in the MNT
Zechariah 8 in the MNT2
Zechariah 8 in the MRS1T
Zechariah 8 in the NAA
Zechariah 8 in the NASB
Zechariah 8 in the NBLA
Zechariah 8 in the NBS
Zechariah 8 in the NBVTP
Zechariah 8 in the NET2
Zechariah 8 in the NIV11
Zechariah 8 in the NNT
Zechariah 8 in the NNT2
Zechariah 8 in the NNT3
Zechariah 8 in the PDDPT
Zechariah 8 in the PFNT
Zechariah 8 in the RMNT
Zechariah 8 in the SBIAS
Zechariah 8 in the SBIBS
Zechariah 8 in the SBIBS2
Zechariah 8 in the SBICS
Zechariah 8 in the SBIDS
Zechariah 8 in the SBIGS
Zechariah 8 in the SBIHS
Zechariah 8 in the SBIIS
Zechariah 8 in the SBIIS2
Zechariah 8 in the SBIIS3
Zechariah 8 in the SBIKS
Zechariah 8 in the SBIKS2
Zechariah 8 in the SBIMS
Zechariah 8 in the SBIOS
Zechariah 8 in the SBIPS
Zechariah 8 in the SBISS
Zechariah 8 in the SBITS
Zechariah 8 in the SBITS2
Zechariah 8 in the SBITS3
Zechariah 8 in the SBITS4
Zechariah 8 in the SBIUS
Zechariah 8 in the SBIVS
Zechariah 8 in the SBT
Zechariah 8 in the SBT1E
Zechariah 8 in the SCHL
Zechariah 8 in the SNT
Zechariah 8 in the SUSU
Zechariah 8 in the SUSU2
Zechariah 8 in the SYNO
Zechariah 8 in the TBIAOTANT
Zechariah 8 in the TBT1E
Zechariah 8 in the TBT1E2
Zechariah 8 in the TFTIP
Zechariah 8 in the TFTU
Zechariah 8 in the TGNTATF3T
Zechariah 8 in the THAI
Zechariah 8 in the TNFD
Zechariah 8 in the TNT
Zechariah 8 in the TNTIK
Zechariah 8 in the TNTIL
Zechariah 8 in the TNTIN
Zechariah 8 in the TNTIP
Zechariah 8 in the TNTIZ
Zechariah 8 in the TOMA
Zechariah 8 in the TTENT
Zechariah 8 in the UBG
Zechariah 8 in the UGV
Zechariah 8 in the UGV2
Zechariah 8 in the UGV3
Zechariah 8 in the VBL
Zechariah 8 in the VDCC
Zechariah 8 in the YALU
Zechariah 8 in the YAPE
Zechariah 8 in the YBVTP
Zechariah 8 in the ZBP