1 Chronicles 23 (BOLCB)
1 Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri. 2 Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi. 3 Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana. 4 Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya MUKAMA, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi. 5 Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga MUKAMA n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.” 6 Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali. 7 Abaana ba Gerusoni baaliLadani ne Simeeyi. 8 Batabani ba Ladani baaliYekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu. 9 Batabani ba Simeeyi baaliSeromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani. 10 Batabani ba Simeeyi omulalaYakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,be bana bonna awamu. 11 Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu. 12 Batabani ba Kokasi baaliAmulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana. 13 Batabani ba Amulaamu baaliAlooni ne Musa.Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri MUKAMA, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna. 14 Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi. 15 Batabani ba Musa baaliGerusomu ne Eryeza. 16 Mu bazzukulu ba Gerusomu,Sebweri ye yali omukulu. 17 Mu bazzukulu ba Eryeza,Lekabiya ye yali omukulu.Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala. 18 Mu batabani ba Izukali,Seromisi ye yali omukulu. 19 Mu batabani ba Kebbulooni,Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna. 20 Mu batabani ba Wuziyeeri,Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri. 21 Batabani ba Merali baaliMakuli ne Musi.Batabani ba Makuli baaliEriyazaali ne Kiisi. 22 Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa. 23 Batabani ba Musi baaliMakuli, Ederi ne Yeremosi be basatu. 24 Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya MUKAMA. 25 Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba MUKAMA Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna, 26 Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.” 27 Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo. 28 Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya MUKAMA, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 29 Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 30 Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga MUKAMA buli nkya na buli akawungeezi, 31 ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga MUKAMA obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa. 32 Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya MUKAMA.
In Other Versions
1 Chronicles 23 in the ANGEFD
1 Chronicles 23 in the ANTPNG2D
1 Chronicles 23 in the AS21
1 Chronicles 23 in the BAGH
1 Chronicles 23 in the BBPNG
1 Chronicles 23 in the BBT1E
1 Chronicles 23 in the BDS
1 Chronicles 23 in the BEV
1 Chronicles 23 in the BHAD
1 Chronicles 23 in the BIB
1 Chronicles 23 in the BLPT
1 Chronicles 23 in the BNT
1 Chronicles 23 in the BNTABOOT
1 Chronicles 23 in the BNTLV
1 Chronicles 23 in the BOATCB
1 Chronicles 23 in the BOATCB2
1 Chronicles 23 in the BOBCV
1 Chronicles 23 in the BOCNT
1 Chronicles 23 in the BOECS
1 Chronicles 23 in the BOGWICC
1 Chronicles 23 in the BOHCB
1 Chronicles 23 in the BOHCV
1 Chronicles 23 in the BOHLNT
1 Chronicles 23 in the BOHNTLTAL
1 Chronicles 23 in the BOICB
1 Chronicles 23 in the BOILNTAP
1 Chronicles 23 in the BOITCV
1 Chronicles 23 in the BOKCV
1 Chronicles 23 in the BOKCV2
1 Chronicles 23 in the BOKHWOG
1 Chronicles 23 in the BOKSSV
1 Chronicles 23 in the BOLCB2
1 Chronicles 23 in the BOMCV
1 Chronicles 23 in the BONAV
1 Chronicles 23 in the BONCB
1 Chronicles 23 in the BONLT
1 Chronicles 23 in the BONUT2
1 Chronicles 23 in the BOPLNT
1 Chronicles 23 in the BOSCB
1 Chronicles 23 in the BOSNC
1 Chronicles 23 in the BOTLNT
1 Chronicles 23 in the BOVCB
1 Chronicles 23 in the BOYCB
1 Chronicles 23 in the BPBB
1 Chronicles 23 in the BPH
1 Chronicles 23 in the BSB
1 Chronicles 23 in the CCB
1 Chronicles 23 in the CUV
1 Chronicles 23 in the CUVS
1 Chronicles 23 in the DBT
1 Chronicles 23 in the DGDNT
1 Chronicles 23 in the DHNT
1 Chronicles 23 in the DNT
1 Chronicles 23 in the ELBE
1 Chronicles 23 in the EMTV
1 Chronicles 23 in the ESV
1 Chronicles 23 in the FBV
1 Chronicles 23 in the FEB
1 Chronicles 23 in the GGMNT
1 Chronicles 23 in the GNT
1 Chronicles 23 in the HARY
1 Chronicles 23 in the HNT
1 Chronicles 23 in the IRVA
1 Chronicles 23 in the IRVB
1 Chronicles 23 in the IRVG
1 Chronicles 23 in the IRVH
1 Chronicles 23 in the IRVK
1 Chronicles 23 in the IRVM
1 Chronicles 23 in the IRVM2
1 Chronicles 23 in the IRVO
1 Chronicles 23 in the IRVP
1 Chronicles 23 in the IRVT
1 Chronicles 23 in the IRVT2
1 Chronicles 23 in the IRVU
1 Chronicles 23 in the ISVN
1 Chronicles 23 in the JSNT
1 Chronicles 23 in the KAPI
1 Chronicles 23 in the KBT1ETNIK
1 Chronicles 23 in the KBV
1 Chronicles 23 in the KJV
1 Chronicles 23 in the KNFD
1 Chronicles 23 in the LBA
1 Chronicles 23 in the LBLA
1 Chronicles 23 in the LNT
1 Chronicles 23 in the LSV
1 Chronicles 23 in the MAAL
1 Chronicles 23 in the MBV
1 Chronicles 23 in the MBV2
1 Chronicles 23 in the MHNT
1 Chronicles 23 in the MKNFD
1 Chronicles 23 in the MNG
1 Chronicles 23 in the MNT
1 Chronicles 23 in the MNT2
1 Chronicles 23 in the MRS1T
1 Chronicles 23 in the NAA
1 Chronicles 23 in the NASB
1 Chronicles 23 in the NBLA
1 Chronicles 23 in the NBS
1 Chronicles 23 in the NBVTP
1 Chronicles 23 in the NET2
1 Chronicles 23 in the NIV11
1 Chronicles 23 in the NNT
1 Chronicles 23 in the NNT2
1 Chronicles 23 in the NNT3
1 Chronicles 23 in the PDDPT
1 Chronicles 23 in the PFNT
1 Chronicles 23 in the RMNT
1 Chronicles 23 in the SBIAS
1 Chronicles 23 in the SBIBS
1 Chronicles 23 in the SBIBS2
1 Chronicles 23 in the SBICS
1 Chronicles 23 in the SBIDS
1 Chronicles 23 in the SBIGS
1 Chronicles 23 in the SBIHS
1 Chronicles 23 in the SBIIS
1 Chronicles 23 in the SBIIS2
1 Chronicles 23 in the SBIIS3
1 Chronicles 23 in the SBIKS
1 Chronicles 23 in the SBIKS2
1 Chronicles 23 in the SBIMS
1 Chronicles 23 in the SBIOS
1 Chronicles 23 in the SBIPS
1 Chronicles 23 in the SBISS
1 Chronicles 23 in the SBITS
1 Chronicles 23 in the SBITS2
1 Chronicles 23 in the SBITS3
1 Chronicles 23 in the SBITS4
1 Chronicles 23 in the SBIUS
1 Chronicles 23 in the SBIVS
1 Chronicles 23 in the SBT
1 Chronicles 23 in the SBT1E
1 Chronicles 23 in the SCHL
1 Chronicles 23 in the SNT
1 Chronicles 23 in the SUSU
1 Chronicles 23 in the SUSU2
1 Chronicles 23 in the SYNO
1 Chronicles 23 in the TBIAOTANT
1 Chronicles 23 in the TBT1E
1 Chronicles 23 in the TBT1E2
1 Chronicles 23 in the TFTIP
1 Chronicles 23 in the TFTU
1 Chronicles 23 in the TGNTATF3T
1 Chronicles 23 in the THAI
1 Chronicles 23 in the TNFD
1 Chronicles 23 in the TNT
1 Chronicles 23 in the TNTIK
1 Chronicles 23 in the TNTIL
1 Chronicles 23 in the TNTIN
1 Chronicles 23 in the TNTIP
1 Chronicles 23 in the TNTIZ
1 Chronicles 23 in the TOMA
1 Chronicles 23 in the TTENT
1 Chronicles 23 in the UBG
1 Chronicles 23 in the UGV
1 Chronicles 23 in the UGV2
1 Chronicles 23 in the UGV3
1 Chronicles 23 in the VBL
1 Chronicles 23 in the VDCC
1 Chronicles 23 in the YALU
1 Chronicles 23 in the YAPE
1 Chronicles 23 in the YBVTP
1 Chronicles 23 in the ZBP