1 Corinthians 12 (BOLCB)

1 Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 2 Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 3 Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 4 Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5 Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 6 Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu. 7 Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 8 Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 9 Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala. 12 Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu. 14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu. 21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo. 27 Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

In Other Versions

1 Corinthians 12 in the ANGEFD

1 Corinthians 12 in the ANTPNG2D

1 Corinthians 12 in the AS21

1 Corinthians 12 in the BAGH

1 Corinthians 12 in the BBPNG

1 Corinthians 12 in the BBT1E

1 Corinthians 12 in the BDS

1 Corinthians 12 in the BEV

1 Corinthians 12 in the BHAD

1 Corinthians 12 in the BIB

1 Corinthians 12 in the BLPT

1 Corinthians 12 in the BNT

1 Corinthians 12 in the BNTABOOT

1 Corinthians 12 in the BNTLV

1 Corinthians 12 in the BOATCB

1 Corinthians 12 in the BOATCB2

1 Corinthians 12 in the BOBCV

1 Corinthians 12 in the BOCNT

1 Corinthians 12 in the BOECS

1 Corinthians 12 in the BOGWICC

1 Corinthians 12 in the BOHCB

1 Corinthians 12 in the BOHCV

1 Corinthians 12 in the BOHLNT

1 Corinthians 12 in the BOHNTLTAL

1 Corinthians 12 in the BOICB

1 Corinthians 12 in the BOILNTAP

1 Corinthians 12 in the BOITCV

1 Corinthians 12 in the BOKCV

1 Corinthians 12 in the BOKCV2

1 Corinthians 12 in the BOKHWOG

1 Corinthians 12 in the BOKSSV

1 Corinthians 12 in the BOLCB2

1 Corinthians 12 in the BOMCV

1 Corinthians 12 in the BONAV

1 Corinthians 12 in the BONCB

1 Corinthians 12 in the BONLT

1 Corinthians 12 in the BONUT2

1 Corinthians 12 in the BOPLNT

1 Corinthians 12 in the BOSCB

1 Corinthians 12 in the BOSNC

1 Corinthians 12 in the BOTLNT

1 Corinthians 12 in the BOVCB

1 Corinthians 12 in the BOYCB

1 Corinthians 12 in the BPBB

1 Corinthians 12 in the BPH

1 Corinthians 12 in the BSB

1 Corinthians 12 in the CCB

1 Corinthians 12 in the CUV

1 Corinthians 12 in the CUVS

1 Corinthians 12 in the DBT

1 Corinthians 12 in the DGDNT

1 Corinthians 12 in the DHNT

1 Corinthians 12 in the DNT

1 Corinthians 12 in the ELBE

1 Corinthians 12 in the EMTV

1 Corinthians 12 in the ESV

1 Corinthians 12 in the FBV

1 Corinthians 12 in the FEB

1 Corinthians 12 in the GGMNT

1 Corinthians 12 in the GNT

1 Corinthians 12 in the HARY

1 Corinthians 12 in the HNT

1 Corinthians 12 in the IRVA

1 Corinthians 12 in the IRVB

1 Corinthians 12 in the IRVG

1 Corinthians 12 in the IRVH

1 Corinthians 12 in the IRVK

1 Corinthians 12 in the IRVM

1 Corinthians 12 in the IRVM2

1 Corinthians 12 in the IRVO

1 Corinthians 12 in the IRVP

1 Corinthians 12 in the IRVT

1 Corinthians 12 in the IRVT2

1 Corinthians 12 in the IRVU

1 Corinthians 12 in the ISVN

1 Corinthians 12 in the JSNT

1 Corinthians 12 in the KAPI

1 Corinthians 12 in the KBT1ETNIK

1 Corinthians 12 in the KBV

1 Corinthians 12 in the KJV

1 Corinthians 12 in the KNFD

1 Corinthians 12 in the LBA

1 Corinthians 12 in the LBLA

1 Corinthians 12 in the LNT

1 Corinthians 12 in the LSV

1 Corinthians 12 in the MAAL

1 Corinthians 12 in the MBV

1 Corinthians 12 in the MBV2

1 Corinthians 12 in the MHNT

1 Corinthians 12 in the MKNFD

1 Corinthians 12 in the MNG

1 Corinthians 12 in the MNT

1 Corinthians 12 in the MNT2

1 Corinthians 12 in the MRS1T

1 Corinthians 12 in the NAA

1 Corinthians 12 in the NASB

1 Corinthians 12 in the NBLA

1 Corinthians 12 in the NBS

1 Corinthians 12 in the NBVTP

1 Corinthians 12 in the NET2

1 Corinthians 12 in the NIV11

1 Corinthians 12 in the NNT

1 Corinthians 12 in the NNT2

1 Corinthians 12 in the NNT3

1 Corinthians 12 in the PDDPT

1 Corinthians 12 in the PFNT

1 Corinthians 12 in the RMNT

1 Corinthians 12 in the SBIAS

1 Corinthians 12 in the SBIBS

1 Corinthians 12 in the SBIBS2

1 Corinthians 12 in the SBICS

1 Corinthians 12 in the SBIDS

1 Corinthians 12 in the SBIGS

1 Corinthians 12 in the SBIHS

1 Corinthians 12 in the SBIIS

1 Corinthians 12 in the SBIIS2

1 Corinthians 12 in the SBIIS3

1 Corinthians 12 in the SBIKS

1 Corinthians 12 in the SBIKS2

1 Corinthians 12 in the SBIMS

1 Corinthians 12 in the SBIOS

1 Corinthians 12 in the SBIPS

1 Corinthians 12 in the SBISS

1 Corinthians 12 in the SBITS

1 Corinthians 12 in the SBITS2

1 Corinthians 12 in the SBITS3

1 Corinthians 12 in the SBITS4

1 Corinthians 12 in the SBIUS

1 Corinthians 12 in the SBIVS

1 Corinthians 12 in the SBT

1 Corinthians 12 in the SBT1E

1 Corinthians 12 in the SCHL

1 Corinthians 12 in the SNT

1 Corinthians 12 in the SUSU

1 Corinthians 12 in the SUSU2

1 Corinthians 12 in the SYNO

1 Corinthians 12 in the TBIAOTANT

1 Corinthians 12 in the TBT1E

1 Corinthians 12 in the TBT1E2

1 Corinthians 12 in the TFTIP

1 Corinthians 12 in the TFTU

1 Corinthians 12 in the TGNTATF3T

1 Corinthians 12 in the THAI

1 Corinthians 12 in the TNFD

1 Corinthians 12 in the TNT

1 Corinthians 12 in the TNTIK

1 Corinthians 12 in the TNTIL

1 Corinthians 12 in the TNTIN

1 Corinthians 12 in the TNTIP

1 Corinthians 12 in the TNTIZ

1 Corinthians 12 in the TOMA

1 Corinthians 12 in the TTENT

1 Corinthians 12 in the UBG

1 Corinthians 12 in the UGV

1 Corinthians 12 in the UGV2

1 Corinthians 12 in the UGV3

1 Corinthians 12 in the VBL

1 Corinthians 12 in the VDCC

1 Corinthians 12 in the YALU

1 Corinthians 12 in the YAPE

1 Corinthians 12 in the YBVTP

1 Corinthians 12 in the ZBP