1 Corinthians 15 (BOLCB)

1 Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. 2 Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. 3 Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, 4 era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, 5 era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. 6 Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. 7 Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. 8 Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole. 9 Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza. 12 Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna. 20 Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 21 Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 22 Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 23 Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 24 olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 25 Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 27 Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 28 Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna. 29 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe? 30 Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 31 Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 32 Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,“Kale tulye tunywekubanga enkya tuli ba kufa.” 33 Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34 Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi. 35 Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39 Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40 Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41 Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka. 42 Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 45 kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46 Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 47 Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48 Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 49 Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu. 50 Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 51 Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.” 55 “Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?” 56 Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. 58 Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

In Other Versions

1 Corinthians 15 in the ANGEFD

1 Corinthians 15 in the ANTPNG2D

1 Corinthians 15 in the AS21

1 Corinthians 15 in the BAGH

1 Corinthians 15 in the BBPNG

1 Corinthians 15 in the BBT1E

1 Corinthians 15 in the BDS

1 Corinthians 15 in the BEV

1 Corinthians 15 in the BHAD

1 Corinthians 15 in the BIB

1 Corinthians 15 in the BLPT

1 Corinthians 15 in the BNT

1 Corinthians 15 in the BNTABOOT

1 Corinthians 15 in the BNTLV

1 Corinthians 15 in the BOATCB

1 Corinthians 15 in the BOATCB2

1 Corinthians 15 in the BOBCV

1 Corinthians 15 in the BOCNT

1 Corinthians 15 in the BOECS

1 Corinthians 15 in the BOGWICC

1 Corinthians 15 in the BOHCB

1 Corinthians 15 in the BOHCV

1 Corinthians 15 in the BOHLNT

1 Corinthians 15 in the BOHNTLTAL

1 Corinthians 15 in the BOICB

1 Corinthians 15 in the BOILNTAP

1 Corinthians 15 in the BOITCV

1 Corinthians 15 in the BOKCV

1 Corinthians 15 in the BOKCV2

1 Corinthians 15 in the BOKHWOG

1 Corinthians 15 in the BOKSSV

1 Corinthians 15 in the BOLCB2

1 Corinthians 15 in the BOMCV

1 Corinthians 15 in the BONAV

1 Corinthians 15 in the BONCB

1 Corinthians 15 in the BONLT

1 Corinthians 15 in the BONUT2

1 Corinthians 15 in the BOPLNT

1 Corinthians 15 in the BOSCB

1 Corinthians 15 in the BOSNC

1 Corinthians 15 in the BOTLNT

1 Corinthians 15 in the BOVCB

1 Corinthians 15 in the BOYCB

1 Corinthians 15 in the BPBB

1 Corinthians 15 in the BPH

1 Corinthians 15 in the BSB

1 Corinthians 15 in the CCB

1 Corinthians 15 in the CUV

1 Corinthians 15 in the CUVS

1 Corinthians 15 in the DBT

1 Corinthians 15 in the DGDNT

1 Corinthians 15 in the DHNT

1 Corinthians 15 in the DNT

1 Corinthians 15 in the ELBE

1 Corinthians 15 in the EMTV

1 Corinthians 15 in the ESV

1 Corinthians 15 in the FBV

1 Corinthians 15 in the FEB

1 Corinthians 15 in the GGMNT

1 Corinthians 15 in the GNT

1 Corinthians 15 in the HARY

1 Corinthians 15 in the HNT

1 Corinthians 15 in the IRVA

1 Corinthians 15 in the IRVB

1 Corinthians 15 in the IRVG

1 Corinthians 15 in the IRVH

1 Corinthians 15 in the IRVK

1 Corinthians 15 in the IRVM

1 Corinthians 15 in the IRVM2

1 Corinthians 15 in the IRVO

1 Corinthians 15 in the IRVP

1 Corinthians 15 in the IRVT

1 Corinthians 15 in the IRVT2

1 Corinthians 15 in the IRVU

1 Corinthians 15 in the ISVN

1 Corinthians 15 in the JSNT

1 Corinthians 15 in the KAPI

1 Corinthians 15 in the KBT1ETNIK

1 Corinthians 15 in the KBV

1 Corinthians 15 in the KJV

1 Corinthians 15 in the KNFD

1 Corinthians 15 in the LBA

1 Corinthians 15 in the LBLA

1 Corinthians 15 in the LNT

1 Corinthians 15 in the LSV

1 Corinthians 15 in the MAAL

1 Corinthians 15 in the MBV

1 Corinthians 15 in the MBV2

1 Corinthians 15 in the MHNT

1 Corinthians 15 in the MKNFD

1 Corinthians 15 in the MNG

1 Corinthians 15 in the MNT

1 Corinthians 15 in the MNT2

1 Corinthians 15 in the MRS1T

1 Corinthians 15 in the NAA

1 Corinthians 15 in the NASB

1 Corinthians 15 in the NBLA

1 Corinthians 15 in the NBS

1 Corinthians 15 in the NBVTP

1 Corinthians 15 in the NET2

1 Corinthians 15 in the NIV11

1 Corinthians 15 in the NNT

1 Corinthians 15 in the NNT2

1 Corinthians 15 in the NNT3

1 Corinthians 15 in the PDDPT

1 Corinthians 15 in the PFNT

1 Corinthians 15 in the RMNT

1 Corinthians 15 in the SBIAS

1 Corinthians 15 in the SBIBS

1 Corinthians 15 in the SBIBS2

1 Corinthians 15 in the SBICS

1 Corinthians 15 in the SBIDS

1 Corinthians 15 in the SBIGS

1 Corinthians 15 in the SBIHS

1 Corinthians 15 in the SBIIS

1 Corinthians 15 in the SBIIS2

1 Corinthians 15 in the SBIIS3

1 Corinthians 15 in the SBIKS

1 Corinthians 15 in the SBIKS2

1 Corinthians 15 in the SBIMS

1 Corinthians 15 in the SBIOS

1 Corinthians 15 in the SBIPS

1 Corinthians 15 in the SBISS

1 Corinthians 15 in the SBITS

1 Corinthians 15 in the SBITS2

1 Corinthians 15 in the SBITS3

1 Corinthians 15 in the SBITS4

1 Corinthians 15 in the SBIUS

1 Corinthians 15 in the SBIVS

1 Corinthians 15 in the SBT

1 Corinthians 15 in the SBT1E

1 Corinthians 15 in the SCHL

1 Corinthians 15 in the SNT

1 Corinthians 15 in the SUSU

1 Corinthians 15 in the SUSU2

1 Corinthians 15 in the SYNO

1 Corinthians 15 in the TBIAOTANT

1 Corinthians 15 in the TBT1E

1 Corinthians 15 in the TBT1E2

1 Corinthians 15 in the TFTIP

1 Corinthians 15 in the TFTU

1 Corinthians 15 in the TGNTATF3T

1 Corinthians 15 in the THAI

1 Corinthians 15 in the TNFD

1 Corinthians 15 in the TNT

1 Corinthians 15 in the TNTIK

1 Corinthians 15 in the TNTIL

1 Corinthians 15 in the TNTIN

1 Corinthians 15 in the TNTIP

1 Corinthians 15 in the TNTIZ

1 Corinthians 15 in the TOMA

1 Corinthians 15 in the TTENT

1 Corinthians 15 in the UBG

1 Corinthians 15 in the UGV

1 Corinthians 15 in the UGV2

1 Corinthians 15 in the UGV3

1 Corinthians 15 in the VBL

1 Corinthians 15 in the VDCC

1 Corinthians 15 in the YALU

1 Corinthians 15 in the YAPE

1 Corinthians 15 in the YBVTP

1 Corinthians 15 in the ZBP