1 Thessalonians 3 (BOLCB)
1 Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. 2 Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3 waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. 4 Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. 5 Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere. 6 Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. 7 Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. 8 Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. 9 Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe. 11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
In Other Versions
1 Thessalonians 3 in the ANGEFD
1 Thessalonians 3 in the ANTPNG2D
1 Thessalonians 3 in the BBPNG
1 Thessalonians 3 in the BBT1E
1 Thessalonians 3 in the BNTABOOT
1 Thessalonians 3 in the BNTLV
1 Thessalonians 3 in the BOATCB
1 Thessalonians 3 in the BOATCB2
1 Thessalonians 3 in the BOBCV
1 Thessalonians 3 in the BOCNT
1 Thessalonians 3 in the BOECS
1 Thessalonians 3 in the BOGWICC
1 Thessalonians 3 in the BOHCB
1 Thessalonians 3 in the BOHCV
1 Thessalonians 3 in the BOHLNT
1 Thessalonians 3 in the BOHNTLTAL
1 Thessalonians 3 in the BOICB
1 Thessalonians 3 in the BOILNTAP
1 Thessalonians 3 in the BOITCV
1 Thessalonians 3 in the BOKCV
1 Thessalonians 3 in the BOKCV2
1 Thessalonians 3 in the BOKHWOG
1 Thessalonians 3 in the BOKSSV
1 Thessalonians 3 in the BOLCB2
1 Thessalonians 3 in the BOMCV
1 Thessalonians 3 in the BONAV
1 Thessalonians 3 in the BONCB
1 Thessalonians 3 in the BONLT
1 Thessalonians 3 in the BONUT2
1 Thessalonians 3 in the BOPLNT
1 Thessalonians 3 in the BOSCB
1 Thessalonians 3 in the BOSNC
1 Thessalonians 3 in the BOTLNT
1 Thessalonians 3 in the BOVCB
1 Thessalonians 3 in the BOYCB
1 Thessalonians 3 in the DGDNT
1 Thessalonians 3 in the GGMNT
1 Thessalonians 3 in the IRVM2
1 Thessalonians 3 in the IRVT2
1 Thessalonians 3 in the KBT1ETNIK
1 Thessalonians 3 in the MKNFD
1 Thessalonians 3 in the MRS1T
1 Thessalonians 3 in the NBVTP
1 Thessalonians 3 in the NIV11
1 Thessalonians 3 in the PDDPT
1 Thessalonians 3 in the SBIAS
1 Thessalonians 3 in the SBIBS
1 Thessalonians 3 in the SBIBS2
1 Thessalonians 3 in the SBICS
1 Thessalonians 3 in the SBIDS
1 Thessalonians 3 in the SBIGS
1 Thessalonians 3 in the SBIHS
1 Thessalonians 3 in the SBIIS
1 Thessalonians 3 in the SBIIS2
1 Thessalonians 3 in the SBIIS3
1 Thessalonians 3 in the SBIKS
1 Thessalonians 3 in the SBIKS2
1 Thessalonians 3 in the SBIMS
1 Thessalonians 3 in the SBIOS
1 Thessalonians 3 in the SBIPS
1 Thessalonians 3 in the SBISS
1 Thessalonians 3 in the SBITS
1 Thessalonians 3 in the SBITS2
1 Thessalonians 3 in the SBITS3
1 Thessalonians 3 in the SBITS4
1 Thessalonians 3 in the SBIUS
1 Thessalonians 3 in the SBIVS
1 Thessalonians 3 in the SBT1E
1 Thessalonians 3 in the SUSU2
1 Thessalonians 3 in the TBIAOTANT
1 Thessalonians 3 in the TBT1E
1 Thessalonians 3 in the TBT1E2
1 Thessalonians 3 in the TFTIP
1 Thessalonians 3 in the TGNTATF3T
1 Thessalonians 3 in the TNTIK
1 Thessalonians 3 in the TNTIL
1 Thessalonians 3 in the TNTIN
1 Thessalonians 3 in the TNTIP
1 Thessalonians 3 in the TNTIZ
1 Thessalonians 3 in the TTENT