2 Chronicles 18 (BOLCB)

1 Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu. 2 Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi. 3 Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” 4 Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku MUKAMA.” 5 Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga MUKAMA anaakigabula mu mukono gwa kabaka.” 6 Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa MUKAMA gwe tuyinza okwebuuzaako?” 7 Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku MUKAMA, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.” 8 Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.” 9 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. 10 Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ” 11 Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga MUKAMA anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.” 12 Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.” 13 Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga MUKAMA bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.” 14 Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.” 15 Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya MUKAMA?” 16 Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, MUKAMA n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ” 17 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?” 18 Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya MUKAMA: Nalaba MUKAMA ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. 19 Awo MUKAMA n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’“Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri. 20 Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga MUKAMA ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’“MUKAMA n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’ 21 “Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’“MUKAMA n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’ 22 “Kale nno MUKAMA atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era MUKAMA akwogeddeko kabi keereere.” 23 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa MUKAMA yampiseeko wa okwogera naawe?” 24 Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.” 25 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira, 26 mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ” 27 Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, MUKAMA nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.” 28 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 29 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo. 30 Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.” 31 Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, MUKAMA n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo. 32 Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba. 33 Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” 34 Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.

In Other Versions

2 Chronicles 18 in the ANGEFD

2 Chronicles 18 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 18 in the AS21

2 Chronicles 18 in the BAGH

2 Chronicles 18 in the BBPNG

2 Chronicles 18 in the BBT1E

2 Chronicles 18 in the BDS

2 Chronicles 18 in the BEV

2 Chronicles 18 in the BHAD

2 Chronicles 18 in the BIB

2 Chronicles 18 in the BLPT

2 Chronicles 18 in the BNT

2 Chronicles 18 in the BNTABOOT

2 Chronicles 18 in the BNTLV

2 Chronicles 18 in the BOATCB

2 Chronicles 18 in the BOATCB2

2 Chronicles 18 in the BOBCV

2 Chronicles 18 in the BOCNT

2 Chronicles 18 in the BOECS

2 Chronicles 18 in the BOGWICC

2 Chronicles 18 in the BOHCB

2 Chronicles 18 in the BOHCV

2 Chronicles 18 in the BOHLNT

2 Chronicles 18 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 18 in the BOICB

2 Chronicles 18 in the BOILNTAP

2 Chronicles 18 in the BOITCV

2 Chronicles 18 in the BOKCV

2 Chronicles 18 in the BOKCV2

2 Chronicles 18 in the BOKHWOG

2 Chronicles 18 in the BOKSSV

2 Chronicles 18 in the BOLCB2

2 Chronicles 18 in the BOMCV

2 Chronicles 18 in the BONAV

2 Chronicles 18 in the BONCB

2 Chronicles 18 in the BONLT

2 Chronicles 18 in the BONUT2

2 Chronicles 18 in the BOPLNT

2 Chronicles 18 in the BOSCB

2 Chronicles 18 in the BOSNC

2 Chronicles 18 in the BOTLNT

2 Chronicles 18 in the BOVCB

2 Chronicles 18 in the BOYCB

2 Chronicles 18 in the BPBB

2 Chronicles 18 in the BPH

2 Chronicles 18 in the BSB

2 Chronicles 18 in the CCB

2 Chronicles 18 in the CUV

2 Chronicles 18 in the CUVS

2 Chronicles 18 in the DBT

2 Chronicles 18 in the DGDNT

2 Chronicles 18 in the DHNT

2 Chronicles 18 in the DNT

2 Chronicles 18 in the ELBE

2 Chronicles 18 in the EMTV

2 Chronicles 18 in the ESV

2 Chronicles 18 in the FBV

2 Chronicles 18 in the FEB

2 Chronicles 18 in the GGMNT

2 Chronicles 18 in the GNT

2 Chronicles 18 in the HARY

2 Chronicles 18 in the HNT

2 Chronicles 18 in the IRVA

2 Chronicles 18 in the IRVB

2 Chronicles 18 in the IRVG

2 Chronicles 18 in the IRVH

2 Chronicles 18 in the IRVK

2 Chronicles 18 in the IRVM

2 Chronicles 18 in the IRVM2

2 Chronicles 18 in the IRVO

2 Chronicles 18 in the IRVP

2 Chronicles 18 in the IRVT

2 Chronicles 18 in the IRVT2

2 Chronicles 18 in the IRVU

2 Chronicles 18 in the ISVN

2 Chronicles 18 in the JSNT

2 Chronicles 18 in the KAPI

2 Chronicles 18 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 18 in the KBV

2 Chronicles 18 in the KJV

2 Chronicles 18 in the KNFD

2 Chronicles 18 in the LBA

2 Chronicles 18 in the LBLA

2 Chronicles 18 in the LNT

2 Chronicles 18 in the LSV

2 Chronicles 18 in the MAAL

2 Chronicles 18 in the MBV

2 Chronicles 18 in the MBV2

2 Chronicles 18 in the MHNT

2 Chronicles 18 in the MKNFD

2 Chronicles 18 in the MNG

2 Chronicles 18 in the MNT

2 Chronicles 18 in the MNT2

2 Chronicles 18 in the MRS1T

2 Chronicles 18 in the NAA

2 Chronicles 18 in the NASB

2 Chronicles 18 in the NBLA

2 Chronicles 18 in the NBS

2 Chronicles 18 in the NBVTP

2 Chronicles 18 in the NET2

2 Chronicles 18 in the NIV11

2 Chronicles 18 in the NNT

2 Chronicles 18 in the NNT2

2 Chronicles 18 in the NNT3

2 Chronicles 18 in the PDDPT

2 Chronicles 18 in the PFNT

2 Chronicles 18 in the RMNT

2 Chronicles 18 in the SBIAS

2 Chronicles 18 in the SBIBS

2 Chronicles 18 in the SBIBS2

2 Chronicles 18 in the SBICS

2 Chronicles 18 in the SBIDS

2 Chronicles 18 in the SBIGS

2 Chronicles 18 in the SBIHS

2 Chronicles 18 in the SBIIS

2 Chronicles 18 in the SBIIS2

2 Chronicles 18 in the SBIIS3

2 Chronicles 18 in the SBIKS

2 Chronicles 18 in the SBIKS2

2 Chronicles 18 in the SBIMS

2 Chronicles 18 in the SBIOS

2 Chronicles 18 in the SBIPS

2 Chronicles 18 in the SBISS

2 Chronicles 18 in the SBITS

2 Chronicles 18 in the SBITS2

2 Chronicles 18 in the SBITS3

2 Chronicles 18 in the SBITS4

2 Chronicles 18 in the SBIUS

2 Chronicles 18 in the SBIVS

2 Chronicles 18 in the SBT

2 Chronicles 18 in the SBT1E

2 Chronicles 18 in the SCHL

2 Chronicles 18 in the SNT

2 Chronicles 18 in the SUSU

2 Chronicles 18 in the SUSU2

2 Chronicles 18 in the SYNO

2 Chronicles 18 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 18 in the TBT1E

2 Chronicles 18 in the TBT1E2

2 Chronicles 18 in the TFTIP

2 Chronicles 18 in the TFTU

2 Chronicles 18 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 18 in the THAI

2 Chronicles 18 in the TNFD

2 Chronicles 18 in the TNT

2 Chronicles 18 in the TNTIK

2 Chronicles 18 in the TNTIL

2 Chronicles 18 in the TNTIN

2 Chronicles 18 in the TNTIP

2 Chronicles 18 in the TNTIZ

2 Chronicles 18 in the TOMA

2 Chronicles 18 in the TTENT

2 Chronicles 18 in the UBG

2 Chronicles 18 in the UGV

2 Chronicles 18 in the UGV2

2 Chronicles 18 in the UGV3

2 Chronicles 18 in the VBL

2 Chronicles 18 in the VDCC

2 Chronicles 18 in the YALU

2 Chronicles 18 in the YAPE

2 Chronicles 18 in the YBVTP

2 Chronicles 18 in the ZBP