2 Chronicles 21 (BOLCB)
1 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. 2 Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. 3 Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda. 4 Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri. 5 Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 6 N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga MUKAMA. 7 Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, MUKAMA teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna. 8 Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. 9 Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. 10 Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku MUKAMA Katonda wa bajjajjaabe. 11 Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye. 12 Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti,“Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, 13 naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, 14 MUKAMA kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, 15 ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ” 16 Awo MUKAMA n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, 17 ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda. 18 Oluvannyuma lw’ebyo byonna, MUKAMA n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. 19 Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe. 20 Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.
In Other Versions
2 Chronicles 21 in the ANGEFD
2 Chronicles 21 in the ANTPNG2D
2 Chronicles 21 in the AS21
2 Chronicles 21 in the BAGH
2 Chronicles 21 in the BBPNG
2 Chronicles 21 in the BBT1E
2 Chronicles 21 in the BDS
2 Chronicles 21 in the BEV
2 Chronicles 21 in the BHAD
2 Chronicles 21 in the BIB
2 Chronicles 21 in the BLPT
2 Chronicles 21 in the BNT
2 Chronicles 21 in the BNTABOOT
2 Chronicles 21 in the BNTLV
2 Chronicles 21 in the BOATCB
2 Chronicles 21 in the BOATCB2
2 Chronicles 21 in the BOBCV
2 Chronicles 21 in the BOCNT
2 Chronicles 21 in the BOECS
2 Chronicles 21 in the BOGWICC
2 Chronicles 21 in the BOHCB
2 Chronicles 21 in the BOHCV
2 Chronicles 21 in the BOHLNT
2 Chronicles 21 in the BOHNTLTAL
2 Chronicles 21 in the BOICB
2 Chronicles 21 in the BOILNTAP
2 Chronicles 21 in the BOITCV
2 Chronicles 21 in the BOKCV
2 Chronicles 21 in the BOKCV2
2 Chronicles 21 in the BOKHWOG
2 Chronicles 21 in the BOKSSV
2 Chronicles 21 in the BOLCB2
2 Chronicles 21 in the BOMCV
2 Chronicles 21 in the BONAV
2 Chronicles 21 in the BONCB
2 Chronicles 21 in the BONLT
2 Chronicles 21 in the BONUT2
2 Chronicles 21 in the BOPLNT
2 Chronicles 21 in the BOSCB
2 Chronicles 21 in the BOSNC
2 Chronicles 21 in the BOTLNT
2 Chronicles 21 in the BOVCB
2 Chronicles 21 in the BOYCB
2 Chronicles 21 in the BPBB
2 Chronicles 21 in the BPH
2 Chronicles 21 in the BSB
2 Chronicles 21 in the CCB
2 Chronicles 21 in the CUV
2 Chronicles 21 in the CUVS
2 Chronicles 21 in the DBT
2 Chronicles 21 in the DGDNT
2 Chronicles 21 in the DHNT
2 Chronicles 21 in the DNT
2 Chronicles 21 in the ELBE
2 Chronicles 21 in the EMTV
2 Chronicles 21 in the ESV
2 Chronicles 21 in the FBV
2 Chronicles 21 in the FEB
2 Chronicles 21 in the GGMNT
2 Chronicles 21 in the GNT
2 Chronicles 21 in the HARY
2 Chronicles 21 in the HNT
2 Chronicles 21 in the IRVA
2 Chronicles 21 in the IRVB
2 Chronicles 21 in the IRVG
2 Chronicles 21 in the IRVH
2 Chronicles 21 in the IRVK
2 Chronicles 21 in the IRVM
2 Chronicles 21 in the IRVM2
2 Chronicles 21 in the IRVO
2 Chronicles 21 in the IRVP
2 Chronicles 21 in the IRVT
2 Chronicles 21 in the IRVT2
2 Chronicles 21 in the IRVU
2 Chronicles 21 in the ISVN
2 Chronicles 21 in the JSNT
2 Chronicles 21 in the KAPI
2 Chronicles 21 in the KBT1ETNIK
2 Chronicles 21 in the KBV
2 Chronicles 21 in the KJV
2 Chronicles 21 in the KNFD
2 Chronicles 21 in the LBA
2 Chronicles 21 in the LBLA
2 Chronicles 21 in the LNT
2 Chronicles 21 in the LSV
2 Chronicles 21 in the MAAL
2 Chronicles 21 in the MBV
2 Chronicles 21 in the MBV2
2 Chronicles 21 in the MHNT
2 Chronicles 21 in the MKNFD
2 Chronicles 21 in the MNG
2 Chronicles 21 in the MNT
2 Chronicles 21 in the MNT2
2 Chronicles 21 in the MRS1T
2 Chronicles 21 in the NAA
2 Chronicles 21 in the NASB
2 Chronicles 21 in the NBLA
2 Chronicles 21 in the NBS
2 Chronicles 21 in the NBVTP
2 Chronicles 21 in the NET2
2 Chronicles 21 in the NIV11
2 Chronicles 21 in the NNT
2 Chronicles 21 in the NNT2
2 Chronicles 21 in the NNT3
2 Chronicles 21 in the PDDPT
2 Chronicles 21 in the PFNT
2 Chronicles 21 in the RMNT
2 Chronicles 21 in the SBIAS
2 Chronicles 21 in the SBIBS
2 Chronicles 21 in the SBIBS2
2 Chronicles 21 in the SBICS
2 Chronicles 21 in the SBIDS
2 Chronicles 21 in the SBIGS
2 Chronicles 21 in the SBIHS
2 Chronicles 21 in the SBIIS
2 Chronicles 21 in the SBIIS2
2 Chronicles 21 in the SBIIS3
2 Chronicles 21 in the SBIKS
2 Chronicles 21 in the SBIKS2
2 Chronicles 21 in the SBIMS
2 Chronicles 21 in the SBIOS
2 Chronicles 21 in the SBIPS
2 Chronicles 21 in the SBISS
2 Chronicles 21 in the SBITS
2 Chronicles 21 in the SBITS2
2 Chronicles 21 in the SBITS3
2 Chronicles 21 in the SBITS4
2 Chronicles 21 in the SBIUS
2 Chronicles 21 in the SBIVS
2 Chronicles 21 in the SBT
2 Chronicles 21 in the SBT1E
2 Chronicles 21 in the SCHL
2 Chronicles 21 in the SNT
2 Chronicles 21 in the SUSU
2 Chronicles 21 in the SUSU2
2 Chronicles 21 in the SYNO
2 Chronicles 21 in the TBIAOTANT
2 Chronicles 21 in the TBT1E
2 Chronicles 21 in the TBT1E2
2 Chronicles 21 in the TFTIP
2 Chronicles 21 in the TFTU
2 Chronicles 21 in the TGNTATF3T
2 Chronicles 21 in the THAI
2 Chronicles 21 in the TNFD
2 Chronicles 21 in the TNT
2 Chronicles 21 in the TNTIK
2 Chronicles 21 in the TNTIL
2 Chronicles 21 in the TNTIN
2 Chronicles 21 in the TNTIP
2 Chronicles 21 in the TNTIZ
2 Chronicles 21 in the TOMA
2 Chronicles 21 in the TTENT
2 Chronicles 21 in the UBG
2 Chronicles 21 in the UGV
2 Chronicles 21 in the UGV2
2 Chronicles 21 in the UGV3
2 Chronicles 21 in the VBL
2 Chronicles 21 in the VDCC
2 Chronicles 21 in the YALU
2 Chronicles 21 in the YAPE
2 Chronicles 21 in the YBVTP
2 Chronicles 21 in the ZBP