2 Kings 1 (BOLCB)
1 Awo Akabu ng’amaze okufa, ab’omu nsi ya Mowaabu ne bajeemera Abayisirayiri. 2 Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona. 3 Malayika wa MUKAMA n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’ 4 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda. 5 Oluvannyuma lw’ebyo, ababaka kabaka be yatuma ne baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakomezaawo amangu?” 6 Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’ ” 7 N’ababuuza nti, “Omusajja oyo gwe musisinkanye abadde afaanana atya?” 8 Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.”Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.” 9 Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.” 10 Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye. 11 Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p 12 Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye. 13 Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa. 14 Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.” 15 Awo malayika wa MUKAMA n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka. 16 Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 17 N’afa, ng’ekigambo kya MUKAMA kye yatuma Eriya bwe kyali.Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda. 18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
In Other Versions
2 Kings 1 in the ANGEFD
2 Kings 1 in the ANTPNG2D
2 Kings 1 in the AS21
2 Kings 1 in the BAGH
2 Kings 1 in the BBPNG
2 Kings 1 in the BBT1E
2 Kings 1 in the BDS
2 Kings 1 in the BEV
2 Kings 1 in the BHAD
2 Kings 1 in the BIB
2 Kings 1 in the BLPT
2 Kings 1 in the BNT
2 Kings 1 in the BNTABOOT
2 Kings 1 in the BNTLV
2 Kings 1 in the BOATCB
2 Kings 1 in the BOATCB2
2 Kings 1 in the BOBCV
2 Kings 1 in the BOCNT
2 Kings 1 in the BOECS
2 Kings 1 in the BOGWICC
2 Kings 1 in the BOHCB
2 Kings 1 in the BOHCV
2 Kings 1 in the BOHLNT
2 Kings 1 in the BOHNTLTAL
2 Kings 1 in the BOICB
2 Kings 1 in the BOILNTAP
2 Kings 1 in the BOITCV
2 Kings 1 in the BOKCV
2 Kings 1 in the BOKCV2
2 Kings 1 in the BOKHWOG
2 Kings 1 in the BOKSSV
2 Kings 1 in the BOLCB2
2 Kings 1 in the BOMCV
2 Kings 1 in the BONAV
2 Kings 1 in the BONCB
2 Kings 1 in the BONLT
2 Kings 1 in the BONUT2
2 Kings 1 in the BOPLNT
2 Kings 1 in the BOSCB
2 Kings 1 in the BOSNC
2 Kings 1 in the BOTLNT
2 Kings 1 in the BOVCB
2 Kings 1 in the BOYCB
2 Kings 1 in the BPBB
2 Kings 1 in the BPH
2 Kings 1 in the BSB
2 Kings 1 in the CCB
2 Kings 1 in the CUV
2 Kings 1 in the CUVS
2 Kings 1 in the DBT
2 Kings 1 in the DGDNT
2 Kings 1 in the DHNT
2 Kings 1 in the DNT
2 Kings 1 in the ELBE
2 Kings 1 in the EMTV
2 Kings 1 in the ESV
2 Kings 1 in the FBV
2 Kings 1 in the FEB
2 Kings 1 in the GGMNT
2 Kings 1 in the GNT
2 Kings 1 in the HARY
2 Kings 1 in the HNT
2 Kings 1 in the IRVA
2 Kings 1 in the IRVB
2 Kings 1 in the IRVG
2 Kings 1 in the IRVH
2 Kings 1 in the IRVK
2 Kings 1 in the IRVM
2 Kings 1 in the IRVM2
2 Kings 1 in the IRVO
2 Kings 1 in the IRVP
2 Kings 1 in the IRVT
2 Kings 1 in the IRVT2
2 Kings 1 in the IRVU
2 Kings 1 in the ISVN
2 Kings 1 in the JSNT
2 Kings 1 in the KAPI
2 Kings 1 in the KBT1ETNIK
2 Kings 1 in the KBV
2 Kings 1 in the KJV
2 Kings 1 in the KNFD
2 Kings 1 in the LBA
2 Kings 1 in the LBLA
2 Kings 1 in the LNT
2 Kings 1 in the LSV
2 Kings 1 in the MAAL
2 Kings 1 in the MBV
2 Kings 1 in the MBV2
2 Kings 1 in the MHNT
2 Kings 1 in the MKNFD
2 Kings 1 in the MNG
2 Kings 1 in the MNT
2 Kings 1 in the MNT2
2 Kings 1 in the MRS1T
2 Kings 1 in the NAA
2 Kings 1 in the NASB
2 Kings 1 in the NBLA
2 Kings 1 in the NBS
2 Kings 1 in the NBVTP
2 Kings 1 in the NET2
2 Kings 1 in the NIV11
2 Kings 1 in the NNT
2 Kings 1 in the NNT2
2 Kings 1 in the NNT3
2 Kings 1 in the PDDPT
2 Kings 1 in the PFNT
2 Kings 1 in the RMNT
2 Kings 1 in the SBIAS
2 Kings 1 in the SBIBS
2 Kings 1 in the SBIBS2
2 Kings 1 in the SBICS
2 Kings 1 in the SBIDS
2 Kings 1 in the SBIGS
2 Kings 1 in the SBIHS
2 Kings 1 in the SBIIS
2 Kings 1 in the SBIIS2
2 Kings 1 in the SBIIS3
2 Kings 1 in the SBIKS
2 Kings 1 in the SBIKS2
2 Kings 1 in the SBIMS
2 Kings 1 in the SBIOS
2 Kings 1 in the SBIPS
2 Kings 1 in the SBISS
2 Kings 1 in the SBITS
2 Kings 1 in the SBITS2
2 Kings 1 in the SBITS3
2 Kings 1 in the SBITS4
2 Kings 1 in the SBIUS
2 Kings 1 in the SBIVS
2 Kings 1 in the SBT
2 Kings 1 in the SBT1E
2 Kings 1 in the SCHL
2 Kings 1 in the SNT
2 Kings 1 in the SUSU
2 Kings 1 in the SUSU2
2 Kings 1 in the SYNO
2 Kings 1 in the TBIAOTANT
2 Kings 1 in the TBT1E
2 Kings 1 in the TBT1E2
2 Kings 1 in the TFTIP
2 Kings 1 in the TFTU
2 Kings 1 in the TGNTATF3T
2 Kings 1 in the THAI
2 Kings 1 in the TNFD
2 Kings 1 in the TNT
2 Kings 1 in the TNTIK
2 Kings 1 in the TNTIL
2 Kings 1 in the TNTIN
2 Kings 1 in the TNTIP
2 Kings 1 in the TNTIZ
2 Kings 1 in the TOMA
2 Kings 1 in the TTENT
2 Kings 1 in the UBG
2 Kings 1 in the UGV
2 Kings 1 in the UGV2
2 Kings 1 in the UGV3
2 Kings 1 in the VBL
2 Kings 1 in the VDCC
2 Kings 1 in the YALU
2 Kings 1 in the YAPE
2 Kings 1 in the YBVTP
2 Kings 1 in the ZBP