2 Samuel 21 (BOLCB)

1 Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya MUKAMA. MUKAMA n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.” 2 Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) 3 Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa MUKAMA omukisa?” 4 Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” 5 Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, 6 tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga MUKAMA e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa MUKAMA.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.” 7 Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. 8 Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. 9 N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga MUKAMA. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri. 10 Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 12 n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa. 14 Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi. 15 Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 17 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.” 18 Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 19 Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye. 20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 21 Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta. 22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.

In Other Versions

2 Samuel 21 in the ANGEFD

2 Samuel 21 in the ANTPNG2D

2 Samuel 21 in the AS21

2 Samuel 21 in the BAGH

2 Samuel 21 in the BBPNG

2 Samuel 21 in the BBT1E

2 Samuel 21 in the BDS

2 Samuel 21 in the BEV

2 Samuel 21 in the BHAD

2 Samuel 21 in the BIB

2 Samuel 21 in the BLPT

2 Samuel 21 in the BNT

2 Samuel 21 in the BNTABOOT

2 Samuel 21 in the BNTLV

2 Samuel 21 in the BOATCB

2 Samuel 21 in the BOATCB2

2 Samuel 21 in the BOBCV

2 Samuel 21 in the BOCNT

2 Samuel 21 in the BOECS

2 Samuel 21 in the BOGWICC

2 Samuel 21 in the BOHCB

2 Samuel 21 in the BOHCV

2 Samuel 21 in the BOHLNT

2 Samuel 21 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 21 in the BOICB

2 Samuel 21 in the BOILNTAP

2 Samuel 21 in the BOITCV

2 Samuel 21 in the BOKCV

2 Samuel 21 in the BOKCV2

2 Samuel 21 in the BOKHWOG

2 Samuel 21 in the BOKSSV

2 Samuel 21 in the BOLCB2

2 Samuel 21 in the BOMCV

2 Samuel 21 in the BONAV

2 Samuel 21 in the BONCB

2 Samuel 21 in the BONLT

2 Samuel 21 in the BONUT2

2 Samuel 21 in the BOPLNT

2 Samuel 21 in the BOSCB

2 Samuel 21 in the BOSNC

2 Samuel 21 in the BOTLNT

2 Samuel 21 in the BOVCB

2 Samuel 21 in the BOYCB

2 Samuel 21 in the BPBB

2 Samuel 21 in the BPH

2 Samuel 21 in the BSB

2 Samuel 21 in the CCB

2 Samuel 21 in the CUV

2 Samuel 21 in the CUVS

2 Samuel 21 in the DBT

2 Samuel 21 in the DGDNT

2 Samuel 21 in the DHNT

2 Samuel 21 in the DNT

2 Samuel 21 in the ELBE

2 Samuel 21 in the EMTV

2 Samuel 21 in the ESV

2 Samuel 21 in the FBV

2 Samuel 21 in the FEB

2 Samuel 21 in the GGMNT

2 Samuel 21 in the GNT

2 Samuel 21 in the HARY

2 Samuel 21 in the HNT

2 Samuel 21 in the IRVA

2 Samuel 21 in the IRVB

2 Samuel 21 in the IRVG

2 Samuel 21 in the IRVH

2 Samuel 21 in the IRVK

2 Samuel 21 in the IRVM

2 Samuel 21 in the IRVM2

2 Samuel 21 in the IRVO

2 Samuel 21 in the IRVP

2 Samuel 21 in the IRVT

2 Samuel 21 in the IRVT2

2 Samuel 21 in the IRVU

2 Samuel 21 in the ISVN

2 Samuel 21 in the JSNT

2 Samuel 21 in the KAPI

2 Samuel 21 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 21 in the KBV

2 Samuel 21 in the KJV

2 Samuel 21 in the KNFD

2 Samuel 21 in the LBA

2 Samuel 21 in the LBLA

2 Samuel 21 in the LNT

2 Samuel 21 in the LSV

2 Samuel 21 in the MAAL

2 Samuel 21 in the MBV

2 Samuel 21 in the MBV2

2 Samuel 21 in the MHNT

2 Samuel 21 in the MKNFD

2 Samuel 21 in the MNG

2 Samuel 21 in the MNT

2 Samuel 21 in the MNT2

2 Samuel 21 in the MRS1T

2 Samuel 21 in the NAA

2 Samuel 21 in the NASB

2 Samuel 21 in the NBLA

2 Samuel 21 in the NBS

2 Samuel 21 in the NBVTP

2 Samuel 21 in the NET2

2 Samuel 21 in the NIV11

2 Samuel 21 in the NNT

2 Samuel 21 in the NNT2

2 Samuel 21 in the NNT3

2 Samuel 21 in the PDDPT

2 Samuel 21 in the PFNT

2 Samuel 21 in the RMNT

2 Samuel 21 in the SBIAS

2 Samuel 21 in the SBIBS

2 Samuel 21 in the SBIBS2

2 Samuel 21 in the SBICS

2 Samuel 21 in the SBIDS

2 Samuel 21 in the SBIGS

2 Samuel 21 in the SBIHS

2 Samuel 21 in the SBIIS

2 Samuel 21 in the SBIIS2

2 Samuel 21 in the SBIIS3

2 Samuel 21 in the SBIKS

2 Samuel 21 in the SBIKS2

2 Samuel 21 in the SBIMS

2 Samuel 21 in the SBIOS

2 Samuel 21 in the SBIPS

2 Samuel 21 in the SBISS

2 Samuel 21 in the SBITS

2 Samuel 21 in the SBITS2

2 Samuel 21 in the SBITS3

2 Samuel 21 in the SBITS4

2 Samuel 21 in the SBIUS

2 Samuel 21 in the SBIVS

2 Samuel 21 in the SBT

2 Samuel 21 in the SBT1E

2 Samuel 21 in the SCHL

2 Samuel 21 in the SNT

2 Samuel 21 in the SUSU

2 Samuel 21 in the SUSU2

2 Samuel 21 in the SYNO

2 Samuel 21 in the TBIAOTANT

2 Samuel 21 in the TBT1E

2 Samuel 21 in the TBT1E2

2 Samuel 21 in the TFTIP

2 Samuel 21 in the TFTU

2 Samuel 21 in the TGNTATF3T

2 Samuel 21 in the THAI

2 Samuel 21 in the TNFD

2 Samuel 21 in the TNT

2 Samuel 21 in the TNTIK

2 Samuel 21 in the TNTIL

2 Samuel 21 in the TNTIN

2 Samuel 21 in the TNTIP

2 Samuel 21 in the TNTIZ

2 Samuel 21 in the TOMA

2 Samuel 21 in the TTENT

2 Samuel 21 in the UBG

2 Samuel 21 in the UGV

2 Samuel 21 in the UGV2

2 Samuel 21 in the UGV3

2 Samuel 21 in the VBL

2 Samuel 21 in the VDCC

2 Samuel 21 in the YALU

2 Samuel 21 in the YAPE

2 Samuel 21 in the YBVTP

2 Samuel 21 in the ZBP