Acts 23 (BOLCB)

1 Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” 2 Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. 3 Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?” 4 Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?” 5 Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ” 6 Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” 7 Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, 8 kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza. 9 Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe. 11 Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.” 12 Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13 Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 14 Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 15 Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.” 16 Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo. 17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.” 19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?” 20 Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.” 22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.” 23 Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.” 25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti: 26 Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi. 27 Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli. 31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

In Other Versions

Acts 23 in the ANGEFD

Acts 23 in the ANTPNG2D

Acts 23 in the AS21

Acts 23 in the BAGH

Acts 23 in the BBPNG

Acts 23 in the BBT1E

Acts 23 in the BDS

Acts 23 in the BEV

Acts 23 in the BHAD

Acts 23 in the BIB

Acts 23 in the BLPT

Acts 23 in the BNT

Acts 23 in the BNTABOOT

Acts 23 in the BNTLV

Acts 23 in the BOATCB

Acts 23 in the BOATCB2

Acts 23 in the BOBCV

Acts 23 in the BOCNT

Acts 23 in the BOECS

Acts 23 in the BOGWICC

Acts 23 in the BOHCB

Acts 23 in the BOHCV

Acts 23 in the BOHLNT

Acts 23 in the BOHNTLTAL

Acts 23 in the BOICB

Acts 23 in the BOILNTAP

Acts 23 in the BOITCV

Acts 23 in the BOKCV

Acts 23 in the BOKCV2

Acts 23 in the BOKHWOG

Acts 23 in the BOKSSV

Acts 23 in the BOLCB2

Acts 23 in the BOMCV

Acts 23 in the BONAV

Acts 23 in the BONCB

Acts 23 in the BONLT

Acts 23 in the BONUT2

Acts 23 in the BOPLNT

Acts 23 in the BOSCB

Acts 23 in the BOSNC

Acts 23 in the BOTLNT

Acts 23 in the BOVCB

Acts 23 in the BOYCB

Acts 23 in the BPBB

Acts 23 in the BPH

Acts 23 in the BSB

Acts 23 in the CCB

Acts 23 in the CUV

Acts 23 in the CUVS

Acts 23 in the DBT

Acts 23 in the DGDNT

Acts 23 in the DHNT

Acts 23 in the DNT

Acts 23 in the ELBE

Acts 23 in the EMTV

Acts 23 in the ESV

Acts 23 in the FBV

Acts 23 in the FEB

Acts 23 in the GGMNT

Acts 23 in the GNT

Acts 23 in the HARY

Acts 23 in the HNT

Acts 23 in the IRVA

Acts 23 in the IRVB

Acts 23 in the IRVG

Acts 23 in the IRVH

Acts 23 in the IRVK

Acts 23 in the IRVM

Acts 23 in the IRVM2

Acts 23 in the IRVO

Acts 23 in the IRVP

Acts 23 in the IRVT

Acts 23 in the IRVT2

Acts 23 in the IRVU

Acts 23 in the ISVN

Acts 23 in the JSNT

Acts 23 in the KAPI

Acts 23 in the KBT1ETNIK

Acts 23 in the KBV

Acts 23 in the KJV

Acts 23 in the KNFD

Acts 23 in the LBA

Acts 23 in the LBLA

Acts 23 in the LNT

Acts 23 in the LSV

Acts 23 in the MAAL

Acts 23 in the MBV

Acts 23 in the MBV2

Acts 23 in the MHNT

Acts 23 in the MKNFD

Acts 23 in the MNG

Acts 23 in the MNT

Acts 23 in the MNT2

Acts 23 in the MRS1T

Acts 23 in the NAA

Acts 23 in the NASB

Acts 23 in the NBLA

Acts 23 in the NBS

Acts 23 in the NBVTP

Acts 23 in the NET2

Acts 23 in the NIV11

Acts 23 in the NNT

Acts 23 in the NNT2

Acts 23 in the NNT3

Acts 23 in the PDDPT

Acts 23 in the PFNT

Acts 23 in the RMNT

Acts 23 in the SBIAS

Acts 23 in the SBIBS

Acts 23 in the SBIBS2

Acts 23 in the SBICS

Acts 23 in the SBIDS

Acts 23 in the SBIGS

Acts 23 in the SBIHS

Acts 23 in the SBIIS

Acts 23 in the SBIIS2

Acts 23 in the SBIIS3

Acts 23 in the SBIKS

Acts 23 in the SBIKS2

Acts 23 in the SBIMS

Acts 23 in the SBIOS

Acts 23 in the SBIPS

Acts 23 in the SBISS

Acts 23 in the SBITS

Acts 23 in the SBITS2

Acts 23 in the SBITS3

Acts 23 in the SBITS4

Acts 23 in the SBIUS

Acts 23 in the SBIVS

Acts 23 in the SBT

Acts 23 in the SBT1E

Acts 23 in the SCHL

Acts 23 in the SNT

Acts 23 in the SUSU

Acts 23 in the SUSU2

Acts 23 in the SYNO

Acts 23 in the TBIAOTANT

Acts 23 in the TBT1E

Acts 23 in the TBT1E2

Acts 23 in the TFTIP

Acts 23 in the TFTU

Acts 23 in the TGNTATF3T

Acts 23 in the THAI

Acts 23 in the TNFD

Acts 23 in the TNT

Acts 23 in the TNTIK

Acts 23 in the TNTIL

Acts 23 in the TNTIN

Acts 23 in the TNTIP

Acts 23 in the TNTIZ

Acts 23 in the TOMA

Acts 23 in the TTENT

Acts 23 in the UBG

Acts 23 in the UGV

Acts 23 in the UGV2

Acts 23 in the UGV3

Acts 23 in the VBL

Acts 23 in the VDCC

Acts 23 in the YALU

Acts 23 in the YAPE

Acts 23 in the YBVTP

Acts 23 in the ZBP