Amos 5 (BOLCB)
1 Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako. 2 “Isirayiri embeerera aguddeobutayimuka nate.Bamwabuliddeera tewali amuyimusa.” 3 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalokirisigazaawo kikumi bokka,n’ekyo ekiweereza ekikumi,kirizza kkumi bokka!” 4 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA eri ennyumba ya Isirayiri nti,“Munnoonye kale munaabanga balamu. 5 Temunnoonyeza Beseriso temulaga Girugaaliwadde okulaga e Beeruseba.Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguseera ne Beseri kiriggwaawo.” 6 Munoonye MUKAMA munaabanga balamualeme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;guligyokyanga tewali wa kuguzikiza mu Beseri. 7 Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwamutulugunya obutuukirivu. 8 Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungiriziera afuula ekisiikirize okubeera enkyaera akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,ayita amazzi g’omu nnyanjane gafukirira ensi ng’enkuba, MUKAMA lye linnya lye. 9 Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyiera n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo. 10 Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanyaera munyooma n’abo aboogera amazima. 11 Olinnyirira omwavu,n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,temuligabeeramu;era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,temulinywa ku wayini waamu. 12 Ebibi byammwe mbimanyi,nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,abaavu temubasalira musango mu bwenkanya. 13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyokubanga ennaku mbi. 14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubimunaabeeranga balamu!Bw’atyo MUKAMA Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwenga bulijjo bwe mumuyita. 15 Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungiera embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.Oboolyawo MUKAMA Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisaabantu abo abaasigalawo ku Yusufu. 16 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Walibeerawo okwaziirana mu nguudon’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,n’abakungubazi bakube ebiwoobe. 17 Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibukubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.” 18 Zibasanze mmwe abasuubiraolunaku lwa MUKAMA.Lwaki mwesunga olunaku lwa MUKAMA?Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala. 19 Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoman’asisinkana eddubu,bw’aba ng’ayingira mu nnyumbane yeekwata ku kisenge,ate n’abojjebwa omusota. 20 Olunaku lwa MUKAMA, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,ng’ekizikiza ekikutte ennyo? 21 Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiiniso sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe. 22 Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,sijja kubikkiriza.Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,siribikkiriza. 23 Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe. 24 Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi. 25 “Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddunguemyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri? 26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,amaanyi ga bakatonda bammwe,n’emmunyeenye ya katonda wammwe,bye mwekolera mmwe. 27 Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”bw’ayogera MUKAMA, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.