Colossians 3 (BOLCB)
1 Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa. 5 Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6 Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7 ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8 Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9 Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna. 12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. 15 N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga. 16 Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe. 18 Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe. 19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe. 20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda. 21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo. 22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
In Other Versions
Colossians 3 in the ANGEFD
Colossians 3 in the ANTPNG2D
Colossians 3 in the AS21
Colossians 3 in the BAGH
Colossians 3 in the BBPNG
Colossians 3 in the BBT1E
Colossians 3 in the BDS
Colossians 3 in the BEV
Colossians 3 in the BHAD
Colossians 3 in the BIB
Colossians 3 in the BLPT
Colossians 3 in the BNT
Colossians 3 in the BNTABOOT
Colossians 3 in the BNTLV
Colossians 3 in the BOATCB
Colossians 3 in the BOATCB2
Colossians 3 in the BOBCV
Colossians 3 in the BOCNT
Colossians 3 in the BOECS
Colossians 3 in the BOGWICC
Colossians 3 in the BOHCB
Colossians 3 in the BOHCV
Colossians 3 in the BOHLNT
Colossians 3 in the BOHNTLTAL
Colossians 3 in the BOICB
Colossians 3 in the BOILNTAP
Colossians 3 in the BOITCV
Colossians 3 in the BOKCV
Colossians 3 in the BOKCV2
Colossians 3 in the BOKHWOG
Colossians 3 in the BOKSSV
Colossians 3 in the BOLCB2
Colossians 3 in the BOMCV
Colossians 3 in the BONAV
Colossians 3 in the BONCB
Colossians 3 in the BONLT
Colossians 3 in the BONUT2
Colossians 3 in the BOPLNT
Colossians 3 in the BOSCB
Colossians 3 in the BOSNC
Colossians 3 in the BOTLNT
Colossians 3 in the BOVCB
Colossians 3 in the BOYCB
Colossians 3 in the BPBB
Colossians 3 in the BPH
Colossians 3 in the BSB
Colossians 3 in the CCB
Colossians 3 in the CUV
Colossians 3 in the CUVS
Colossians 3 in the DBT
Colossians 3 in the DGDNT
Colossians 3 in the DHNT
Colossians 3 in the DNT
Colossians 3 in the ELBE
Colossians 3 in the EMTV
Colossians 3 in the ESV
Colossians 3 in the FBV
Colossians 3 in the FEB
Colossians 3 in the GGMNT
Colossians 3 in the GNT
Colossians 3 in the HARY
Colossians 3 in the HNT
Colossians 3 in the IRVA
Colossians 3 in the IRVB
Colossians 3 in the IRVG
Colossians 3 in the IRVH
Colossians 3 in the IRVK
Colossians 3 in the IRVM
Colossians 3 in the IRVM2
Colossians 3 in the IRVO
Colossians 3 in the IRVP
Colossians 3 in the IRVT
Colossians 3 in the IRVT2
Colossians 3 in the IRVU
Colossians 3 in the ISVN
Colossians 3 in the JSNT
Colossians 3 in the KAPI
Colossians 3 in the KBT1ETNIK
Colossians 3 in the KBV
Colossians 3 in the KJV
Colossians 3 in the KNFD
Colossians 3 in the LBA
Colossians 3 in the LBLA
Colossians 3 in the LNT
Colossians 3 in the LSV
Colossians 3 in the MAAL
Colossians 3 in the MBV
Colossians 3 in the MBV2
Colossians 3 in the MHNT
Colossians 3 in the MKNFD
Colossians 3 in the MNG
Colossians 3 in the MNT
Colossians 3 in the MNT2
Colossians 3 in the MRS1T
Colossians 3 in the NAA
Colossians 3 in the NASB
Colossians 3 in the NBLA
Colossians 3 in the NBS
Colossians 3 in the NBVTP
Colossians 3 in the NET2
Colossians 3 in the NIV11
Colossians 3 in the NNT
Colossians 3 in the NNT2
Colossians 3 in the NNT3
Colossians 3 in the PDDPT
Colossians 3 in the PFNT
Colossians 3 in the RMNT
Colossians 3 in the SBIAS
Colossians 3 in the SBIBS
Colossians 3 in the SBIBS2
Colossians 3 in the SBICS
Colossians 3 in the SBIDS
Colossians 3 in the SBIGS
Colossians 3 in the SBIHS
Colossians 3 in the SBIIS
Colossians 3 in the SBIIS2
Colossians 3 in the SBIIS3
Colossians 3 in the SBIKS
Colossians 3 in the SBIKS2
Colossians 3 in the SBIMS
Colossians 3 in the SBIOS
Colossians 3 in the SBIPS
Colossians 3 in the SBISS
Colossians 3 in the SBITS
Colossians 3 in the SBITS2
Colossians 3 in the SBITS3
Colossians 3 in the SBITS4
Colossians 3 in the SBIUS
Colossians 3 in the SBIVS
Colossians 3 in the SBT
Colossians 3 in the SBT1E
Colossians 3 in the SCHL
Colossians 3 in the SNT
Colossians 3 in the SUSU
Colossians 3 in the SUSU2
Colossians 3 in the SYNO
Colossians 3 in the TBIAOTANT
Colossians 3 in the TBT1E
Colossians 3 in the TBT1E2
Colossians 3 in the TFTIP
Colossians 3 in the TFTU
Colossians 3 in the TGNTATF3T
Colossians 3 in the THAI
Colossians 3 in the TNFD
Colossians 3 in the TNT
Colossians 3 in the TNTIK
Colossians 3 in the TNTIL
Colossians 3 in the TNTIN
Colossians 3 in the TNTIP
Colossians 3 in the TNTIZ
Colossians 3 in the TOMA
Colossians 3 in the TTENT
Colossians 3 in the UBG
Colossians 3 in the UGV
Colossians 3 in the UGV2
Colossians 3 in the UGV3
Colossians 3 in the VBL
Colossians 3 in the VDCC
Colossians 3 in the YALU
Colossians 3 in the YAPE
Colossians 3 in the YBVTP
Colossians 3 in the ZBP