Deuteronomy 24 (BOLCB)
        
        
          1 Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, 2 omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. 3 Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; 4 bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga MUKAMA. Totwalanga kibi mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.  5 Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.  6 Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.  7 Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.  8 Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde. 9 Ojjukiranga MUKAMA Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.  10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga MUKAMA Katonda wo.  14 Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira MUKAMA Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.  16 Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.  17 Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. 18 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye MUKAMA Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.  19 Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo MUKAMA alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga. 20 Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu. 21 Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu. 22 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
        
        
          In Other Versions
        
        
  
    Deuteronomy 24 in the ANGEFD
  
  
    Deuteronomy 24 in the ANTPNG2D
  
  
    Deuteronomy 24 in the AS21
  
  
    Deuteronomy 24 in the BAGH
  
  
    Deuteronomy 24 in the BBPNG
  
  
    Deuteronomy 24 in the BBT1E
  
  
    Deuteronomy 24 in the BDS
  
  
    Deuteronomy 24 in the BEV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BHAD
  
  
    Deuteronomy 24 in the BIB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BLPT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BNTABOOT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BNTLV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOATCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOATCB2
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOBCV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOCNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOECS
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOGWICC
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOHCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOHCV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOHLNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOHNTLTAL
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOICB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOILNTAP
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOITCV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOKCV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOKCV2
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOKHWOG
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOKSSV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOLCB2
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOMCV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BONAV
  
  
    Deuteronomy 24 in the BONCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BONLT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BONUT2
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOPLNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOSCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOSNC
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOTLNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOVCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BOYCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BPBB
  
  
    Deuteronomy 24 in the BPH
  
  
    Deuteronomy 24 in the BSB
  
  
    Deuteronomy 24 in the CCB
  
  
    Deuteronomy 24 in the CUV
  
  
    Deuteronomy 24 in the CUVS
  
  
    Deuteronomy 24 in the DBT
  
  
    Deuteronomy 24 in the DGDNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the DHNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the DNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the ELBE
  
  
    Deuteronomy 24 in the EMTV
  
  
    Deuteronomy 24 in the ESV
  
  
    Deuteronomy 24 in the FBV
  
  
    Deuteronomy 24 in the FEB
  
  
    Deuteronomy 24 in the GGMNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the GNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the HARY
  
  
    Deuteronomy 24 in the HNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVA
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVB
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVG
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVH
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVK
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVM
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVM2
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVO
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVP
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVT
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVT2
  
  
    Deuteronomy 24 in the IRVU
  
  
    Deuteronomy 24 in the ISVN
  
  
    Deuteronomy 24 in the JSNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the KAPI
  
  
    Deuteronomy 24 in the KBT1ETNIK
  
  
    Deuteronomy 24 in the KBV
  
  
    Deuteronomy 24 in the KJV
  
  
    Deuteronomy 24 in the KNFD
  
  
    Deuteronomy 24 in the LBA
  
  
    Deuteronomy 24 in the LBLA
  
  
    Deuteronomy 24 in the LNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the LSV
  
  
    Deuteronomy 24 in the MAAL
  
  
    Deuteronomy 24 in the MBV
  
  
    Deuteronomy 24 in the MBV2
  
  
    Deuteronomy 24 in the MHNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the MKNFD
  
  
    Deuteronomy 24 in the MNG
  
  
    Deuteronomy 24 in the MNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the MNT2
  
  
    Deuteronomy 24 in the MRS1T
  
  
    Deuteronomy 24 in the NAA
  
  
    Deuteronomy 24 in the NASB
  
  
    Deuteronomy 24 in the NBLA
  
  
    Deuteronomy 24 in the NBS
  
  
    Deuteronomy 24 in the NBVTP
  
  
    Deuteronomy 24 in the NET2
  
  
    Deuteronomy 24 in the NIV11
  
  
    Deuteronomy 24 in the NNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the NNT2
  
  
    Deuteronomy 24 in the NNT3
  
  
    Deuteronomy 24 in the PDDPT
  
  
    Deuteronomy 24 in the PFNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the RMNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIAS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIBS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIBS2
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBICS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIDS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIGS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIHS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIIS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIIS2
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIIS3
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIKS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIKS2
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIMS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIOS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIPS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBISS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBITS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBITS2
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBITS3
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBITS4
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIUS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBIVS
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBT
  
  
    Deuteronomy 24 in the SBT1E
  
  
    Deuteronomy 24 in the SCHL
  
  
    Deuteronomy 24 in the SNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the SUSU
  
  
    Deuteronomy 24 in the SUSU2
  
  
    Deuteronomy 24 in the SYNO
  
  
    Deuteronomy 24 in the TBIAOTANT
  
  
    Deuteronomy 24 in the TBT1E
  
  
    Deuteronomy 24 in the TBT1E2
  
  
    Deuteronomy 24 in the TFTIP
  
  
    Deuteronomy 24 in the TFTU
  
  
    Deuteronomy 24 in the TGNTATF3T
  
  
    Deuteronomy 24 in the THAI
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNFD
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNT
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNTIK
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNTIL
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNTIN
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNTIP
  
  
    Deuteronomy 24 in the TNTIZ
  
  
    Deuteronomy 24 in the TOMA
  
  
    Deuteronomy 24 in the TTENT
  
  
    Deuteronomy 24 in the UBG
  
  
    Deuteronomy 24 in the UGV
  
  
    Deuteronomy 24 in the UGV2
  
  
    Deuteronomy 24 in the UGV3
  
  
    Deuteronomy 24 in the VBL
  
  
    Deuteronomy 24 in the VDCC
  
  
    Deuteronomy 24 in the YALU
  
  
    Deuteronomy 24 in the YAPE
  
  
    Deuteronomy 24 in the YBVTP
  
  
    Deuteronomy 24 in the ZBP