Deuteronomy 25 (BOLCB)
        
        
          1 Abantu babiri bwe banaabanga n’enkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga z’amateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze n’oyo gwe gusinze. 2 Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza, 3 naye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.  4 Ente  temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.  5 Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. 6 Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. 7 Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” 8 Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” 9 kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” 10 Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.  11 Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi w’omu bw’anajjanga okutaasa bba ku mulabe we n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12 omutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.  13 Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa. 16 Kubanga MUKAMA Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.  17 Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 Bw’olimala okutuuka mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.
        
        
          In Other Versions
        
        
  
    Deuteronomy 25 in the ANGEFD
  
  
    Deuteronomy 25 in the ANTPNG2D
  
  
    Deuteronomy 25 in the AS21
  
  
    Deuteronomy 25 in the BAGH
  
  
    Deuteronomy 25 in the BBPNG
  
  
    Deuteronomy 25 in the BBT1E
  
  
    Deuteronomy 25 in the BDS
  
  
    Deuteronomy 25 in the BEV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BHAD
  
  
    Deuteronomy 25 in the BIB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BLPT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BNTABOOT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BNTLV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOATCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOATCB2
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOBCV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOCNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOECS
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOGWICC
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOHCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOHCV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOHLNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOHNTLTAL
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOICB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOILNTAP
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOITCV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOKCV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOKCV2
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOKHWOG
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOKSSV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOLCB2
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOMCV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BONAV
  
  
    Deuteronomy 25 in the BONCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BONLT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BONUT2
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOPLNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOSCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOSNC
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOTLNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOVCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BOYCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BPBB
  
  
    Deuteronomy 25 in the BPH
  
  
    Deuteronomy 25 in the BSB
  
  
    Deuteronomy 25 in the CCB
  
  
    Deuteronomy 25 in the CUV
  
  
    Deuteronomy 25 in the CUVS
  
  
    Deuteronomy 25 in the DBT
  
  
    Deuteronomy 25 in the DGDNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the DHNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the DNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the ELBE
  
  
    Deuteronomy 25 in the EMTV
  
  
    Deuteronomy 25 in the ESV
  
  
    Deuteronomy 25 in the FBV
  
  
    Deuteronomy 25 in the FEB
  
  
    Deuteronomy 25 in the GGMNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the GNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the HARY
  
  
    Deuteronomy 25 in the HNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVA
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVB
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVG
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVH
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVK
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVM
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVM2
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVO
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVP
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVT
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVT2
  
  
    Deuteronomy 25 in the IRVU
  
  
    Deuteronomy 25 in the ISVN
  
  
    Deuteronomy 25 in the JSNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the KAPI
  
  
    Deuteronomy 25 in the KBT1ETNIK
  
  
    Deuteronomy 25 in the KBV
  
  
    Deuteronomy 25 in the KJV
  
  
    Deuteronomy 25 in the KNFD
  
  
    Deuteronomy 25 in the LBA
  
  
    Deuteronomy 25 in the LBLA
  
  
    Deuteronomy 25 in the LNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the LSV
  
  
    Deuteronomy 25 in the MAAL
  
  
    Deuteronomy 25 in the MBV
  
  
    Deuteronomy 25 in the MBV2
  
  
    Deuteronomy 25 in the MHNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the MKNFD
  
  
    Deuteronomy 25 in the MNG
  
  
    Deuteronomy 25 in the MNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the MNT2
  
  
    Deuteronomy 25 in the MRS1T
  
  
    Deuteronomy 25 in the NAA
  
  
    Deuteronomy 25 in the NASB
  
  
    Deuteronomy 25 in the NBLA
  
  
    Deuteronomy 25 in the NBS
  
  
    Deuteronomy 25 in the NBVTP
  
  
    Deuteronomy 25 in the NET2
  
  
    Deuteronomy 25 in the NIV11
  
  
    Deuteronomy 25 in the NNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the NNT2
  
  
    Deuteronomy 25 in the NNT3
  
  
    Deuteronomy 25 in the PDDPT
  
  
    Deuteronomy 25 in the PFNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the RMNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIAS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIBS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIBS2
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBICS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIDS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIGS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIHS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIIS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIIS2
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIIS3
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIKS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIKS2
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIMS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIOS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIPS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBISS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBITS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBITS2
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBITS3
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBITS4
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIUS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBIVS
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBT
  
  
    Deuteronomy 25 in the SBT1E
  
  
    Deuteronomy 25 in the SCHL
  
  
    Deuteronomy 25 in the SNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the SUSU
  
  
    Deuteronomy 25 in the SUSU2
  
  
    Deuteronomy 25 in the SYNO
  
  
    Deuteronomy 25 in the TBIAOTANT
  
  
    Deuteronomy 25 in the TBT1E
  
  
    Deuteronomy 25 in the TBT1E2
  
  
    Deuteronomy 25 in the TFTIP
  
  
    Deuteronomy 25 in the TFTU
  
  
    Deuteronomy 25 in the TGNTATF3T
  
  
    Deuteronomy 25 in the THAI
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNFD
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNT
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNTIK
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNTIL
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNTIN
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNTIP
  
  
    Deuteronomy 25 in the TNTIZ
  
  
    Deuteronomy 25 in the TOMA
  
  
    Deuteronomy 25 in the TTENT
  
  
    Deuteronomy 25 in the UBG
  
  
    Deuteronomy 25 in the UGV
  
  
    Deuteronomy 25 in the UGV2
  
  
    Deuteronomy 25 in the UGV3
  
  
    Deuteronomy 25 in the VBL
  
  
    Deuteronomy 25 in the VDCC
  
  
    Deuteronomy 25 in the YALU
  
  
    Deuteronomy 25 in the YAPE
  
  
    Deuteronomy 25 in the YBVTP
  
  
    Deuteronomy 25 in the ZBP