Deuteronomy 3 (BOLCB)

1 Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei. 2 Naye MUKAMA n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.” 3 Bw’atyo MUKAMA Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu. 4 Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani. 5 Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge. 6 Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna. 7 Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba. 8 Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni. 9 Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri. 10 Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani. 11 Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni. 12 Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu. 13 Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa. 14 Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri. 15 Gireyaadi nagigabira Makiri. 16 Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni. 17 Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba. 18 Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “MUKAMA Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani. 19 Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi, 20 okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, MUKAMA Katonda wammwe gy’abawa; MUKAMA alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.” 21 Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna MUKAMA Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo MUKAMA bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda. 22 Temubatyanga; kubanga MUKAMA Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.” 23 Mu kiseera ekyo ne neegayirira MUKAMA nga njogera nti, 24 “Ayi MUKAMA Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola? 25 Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.” 26 Naye MUKAMA n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo. 27 Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani. 28 Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.” 29 Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.

In Other Versions

Deuteronomy 3 in the ANGEFD

Deuteronomy 3 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 3 in the AS21

Deuteronomy 3 in the BAGH

Deuteronomy 3 in the BBPNG

Deuteronomy 3 in the BBT1E

Deuteronomy 3 in the BDS

Deuteronomy 3 in the BEV

Deuteronomy 3 in the BHAD

Deuteronomy 3 in the BIB

Deuteronomy 3 in the BLPT

Deuteronomy 3 in the BNT

Deuteronomy 3 in the BNTABOOT

Deuteronomy 3 in the BNTLV

Deuteronomy 3 in the BOATCB

Deuteronomy 3 in the BOATCB2

Deuteronomy 3 in the BOBCV

Deuteronomy 3 in the BOCNT

Deuteronomy 3 in the BOECS

Deuteronomy 3 in the BOGWICC

Deuteronomy 3 in the BOHCB

Deuteronomy 3 in the BOHCV

Deuteronomy 3 in the BOHLNT

Deuteronomy 3 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 3 in the BOICB

Deuteronomy 3 in the BOILNTAP

Deuteronomy 3 in the BOITCV

Deuteronomy 3 in the BOKCV

Deuteronomy 3 in the BOKCV2

Deuteronomy 3 in the BOKHWOG

Deuteronomy 3 in the BOKSSV

Deuteronomy 3 in the BOLCB2

Deuteronomy 3 in the BOMCV

Deuteronomy 3 in the BONAV

Deuteronomy 3 in the BONCB

Deuteronomy 3 in the BONLT

Deuteronomy 3 in the BONUT2

Deuteronomy 3 in the BOPLNT

Deuteronomy 3 in the BOSCB

Deuteronomy 3 in the BOSNC

Deuteronomy 3 in the BOTLNT

Deuteronomy 3 in the BOVCB

Deuteronomy 3 in the BOYCB

Deuteronomy 3 in the BPBB

Deuteronomy 3 in the BPH

Deuteronomy 3 in the BSB

Deuteronomy 3 in the CCB

Deuteronomy 3 in the CUV

Deuteronomy 3 in the CUVS

Deuteronomy 3 in the DBT

Deuteronomy 3 in the DGDNT

Deuteronomy 3 in the DHNT

Deuteronomy 3 in the DNT

Deuteronomy 3 in the ELBE

Deuteronomy 3 in the EMTV

Deuteronomy 3 in the ESV

Deuteronomy 3 in the FBV

Deuteronomy 3 in the FEB

Deuteronomy 3 in the GGMNT

Deuteronomy 3 in the GNT

Deuteronomy 3 in the HARY

Deuteronomy 3 in the HNT

Deuteronomy 3 in the IRVA

Deuteronomy 3 in the IRVB

Deuteronomy 3 in the IRVG

Deuteronomy 3 in the IRVH

Deuteronomy 3 in the IRVK

Deuteronomy 3 in the IRVM

Deuteronomy 3 in the IRVM2

Deuteronomy 3 in the IRVO

Deuteronomy 3 in the IRVP

Deuteronomy 3 in the IRVT

Deuteronomy 3 in the IRVT2

Deuteronomy 3 in the IRVU

Deuteronomy 3 in the ISVN

Deuteronomy 3 in the JSNT

Deuteronomy 3 in the KAPI

Deuteronomy 3 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 3 in the KBV

Deuteronomy 3 in the KJV

Deuteronomy 3 in the KNFD

Deuteronomy 3 in the LBA

Deuteronomy 3 in the LBLA

Deuteronomy 3 in the LNT

Deuteronomy 3 in the LSV

Deuteronomy 3 in the MAAL

Deuteronomy 3 in the MBV

Deuteronomy 3 in the MBV2

Deuteronomy 3 in the MHNT

Deuteronomy 3 in the MKNFD

Deuteronomy 3 in the MNG

Deuteronomy 3 in the MNT

Deuteronomy 3 in the MNT2

Deuteronomy 3 in the MRS1T

Deuteronomy 3 in the NAA

Deuteronomy 3 in the NASB

Deuteronomy 3 in the NBLA

Deuteronomy 3 in the NBS

Deuteronomy 3 in the NBVTP

Deuteronomy 3 in the NET2

Deuteronomy 3 in the NIV11

Deuteronomy 3 in the NNT

Deuteronomy 3 in the NNT2

Deuteronomy 3 in the NNT3

Deuteronomy 3 in the PDDPT

Deuteronomy 3 in the PFNT

Deuteronomy 3 in the RMNT

Deuteronomy 3 in the SBIAS

Deuteronomy 3 in the SBIBS

Deuteronomy 3 in the SBIBS2

Deuteronomy 3 in the SBICS

Deuteronomy 3 in the SBIDS

Deuteronomy 3 in the SBIGS

Deuteronomy 3 in the SBIHS

Deuteronomy 3 in the SBIIS

Deuteronomy 3 in the SBIIS2

Deuteronomy 3 in the SBIIS3

Deuteronomy 3 in the SBIKS

Deuteronomy 3 in the SBIKS2

Deuteronomy 3 in the SBIMS

Deuteronomy 3 in the SBIOS

Deuteronomy 3 in the SBIPS

Deuteronomy 3 in the SBISS

Deuteronomy 3 in the SBITS

Deuteronomy 3 in the SBITS2

Deuteronomy 3 in the SBITS3

Deuteronomy 3 in the SBITS4

Deuteronomy 3 in the SBIUS

Deuteronomy 3 in the SBIVS

Deuteronomy 3 in the SBT

Deuteronomy 3 in the SBT1E

Deuteronomy 3 in the SCHL

Deuteronomy 3 in the SNT

Deuteronomy 3 in the SUSU

Deuteronomy 3 in the SUSU2

Deuteronomy 3 in the SYNO

Deuteronomy 3 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 3 in the TBT1E

Deuteronomy 3 in the TBT1E2

Deuteronomy 3 in the TFTIP

Deuteronomy 3 in the TFTU

Deuteronomy 3 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 3 in the THAI

Deuteronomy 3 in the TNFD

Deuteronomy 3 in the TNT

Deuteronomy 3 in the TNTIK

Deuteronomy 3 in the TNTIL

Deuteronomy 3 in the TNTIN

Deuteronomy 3 in the TNTIP

Deuteronomy 3 in the TNTIZ

Deuteronomy 3 in the TOMA

Deuteronomy 3 in the TTENT

Deuteronomy 3 in the UBG

Deuteronomy 3 in the UGV

Deuteronomy 3 in the UGV2

Deuteronomy 3 in the UGV3

Deuteronomy 3 in the VBL

Deuteronomy 3 in the VDCC

Deuteronomy 3 in the YALU

Deuteronomy 3 in the YAPE

Deuteronomy 3 in the YBVTP

Deuteronomy 3 in the ZBP